2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
14 Awo Abiya n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ Asa mutabani we n’amusikira ku bwakabaka. Mu nnaku ze ensi yalimu emirembe okumala emyaka kkumi.
2 Asa yakola ebirungi era ebituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda we. 3 Yaggyawo ebyoto bya bakatonda abalala+ n’ebifo ebigulumivu, n’abetenta empagi ezisinzibwa+ era n’atemaatema n’ebikondo ebisinzibwa.*+ 4 N’agamba ab’omu Yuda okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era n’okukwata Amateeka n’ebiragiro. 5 Yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto okwoterezebwa obubaani mu bibuga byonna ebya Yuda;+ obwakabaka ne buba mu mirembe mu kiseera ky’obufuzi bwe. 6 N’azimba ebibuga mu Yuda ebiriko bbugwe,+ kubanga ensi yalimu emirembe; era teyalina ntalo mu myaka egyo, kubanga Yakuwa yamuwa ekiwummulo.+ 7 Awo n’agamba Yuda nti: “Ka tuzimbe ebibuga bino tubiteekeko bbugwe n’eminaala+ n’emiryango* n’ebisiba. Ensi ekyali mu buyinza bwaffe kubanga tunoonyezza Yakuwa Katonda waffe. Tumunoonyezza era atuwadde ekiwummulo okwetooloola wonna.” Ne bazimba era ne bamaliriza byonna bye baali baagala okuzimba.+
8 Asa yalina eggye lya basajja 300,000 okuva mu Yuda abaalina engabo ennene n’amafumu. Ate okuva mu Benyamini baali 280,000, abalwanyi ab’amaanyi abaalina engabo entono* era abaali bamanyi okukozesa* omutego.+
9 Awo Zeera Omwesiyopiya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja 1,000,000 n’amagaali 300.+ Bwe yatuuka e Malesa,+ 10 Asa n’agenda okumwaŋŋanga, ne basimba ennyiriri okulwana mu Kiwonvu Zefasa e Malesa. 11 Awo Asa n’akoowoola Yakuwa Katonda we+ n’agamba nti: “Ai Yakuwa, eky’okuba nti b’oyamba bangi oba nti tebalina maanyi, si kikulu gy’oli.+ Tuyambe Ai Yakuwa Katonda waffe, kubanga twesiga* ggwe,+ era tuzze mu linnya lyo okulwanyisa ekibiina kino.+ Ai Yakuwa, ggwe Katonda waffe; omuntu obuntu tomukkiriza kukusinga maanyi.”+
12 Awo Yakuwa n’ayamba Asa ne Yuda okuwangula Abeesiyopiya, Abeesiyopiya ne badduka.+ 13 Asa n’abantu abaali naye ne babawondera okutuuka e Gerali,+ era Abeesiyopiya ne bagenda nga bagwa okutuusa lwe baasaanawo bonna, kubanga Yakuwa n’eggye lye baabawangulira ddala. Oluvannyuma abasajja ba Yuda ne batwala omunyago mungi nnyo. 14 Ate era baazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Yakuwa yabibuutikira, ne banyaga ebibuga byonna, kubanga byalimu ebintu bingi nnyo eby’okunyaga. 15 Baalumba ne weema z’abalunzi ne batwala ebisibo byabwe bingi nnyo n’eŋŋamira, oluvannyuma ne baddayo e Yerusaalemi.