1 Ebyomumirembe Ekisooka
28 Awo Dawudi n’akuŋŋaanyiza e Yerusaalemi abaami bonna aba Isirayiri: abakulu b’ebika, abakulu b’ebibinja+ by’abo abaweereza kabaka, abakulira enkumi n’abakulira ebikumi,+ abalabirira ebintu bya kabaka byonna n’eby’abaana be n’ebisolo byabwe,+ abakungu b’omu lubiri n’abasajja bonna ab’amaanyi era abalina obusobozi.+ 2 Kabaka Dawudi n’ayimirira n’agamba nti:
“Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Omutima gwange gwali gwagala okuzimba ennyumba essanduuko y’endagaano ya Yakuwa mw’eneebeeranga, era eneebeera entebe y’ebigere bya Katonda waffe,+ era nnakola enteekateeka okuzimba.+ 3 Naye Katonda ow’amazima yaŋŋamba nti, ‘Tojja kuzimbira linnya lyange+ nnyumba, kubanga oli musajja wa ntalo era oyiye omusaayi.’+ 4 Kyokka Yakuwa Katonda wa Isirayiri yalonda nze mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna;+ kubanga Yuda gwe yalonda okuba omukulembeze,+ era mu nnyumba ya Yuda yalondamu nnyumba ya kitange,+ ne mu baana ba kitange nze gwe yasiima okufuula kabaka wa Isirayiri yonna;+ 5 era mu baana bange bonna—kubanga Yakuwa ampadde abaana bangi+—yalondamu Sulemaani+ omwana wange okutuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Yakuwa okufuga Isirayiri.+
6 “Ate era yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’ajja okuzimba ennyumba yange n’empya zange; kubanga mmulonze okuba omwana wange era nange nja kubeera kitaawe.+ 7 Nja kunyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna+ bw’anaaba omumalirivu okukwata ebiragiro byange n’amateeka gange+ nga bw’akola kaakano.’ 8 Kale, kino kye njogera mu maaso ga Isirayiri yonna, ekibiina kya Yakuwa, era nga ne Katonda waffe awulira: Mufubenga okukwata ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe byonna era mubinoonyenga, musobole okusigala mu nsi eno ennungi+ era mugirekere n’abaana bammwe abaliddawo, ng’eky’obusika emirembe gyonna.
9 “Naawe Sulemaani mwana wange, manya Katonda wa kitaawo omuweereze n’omutima gwo gwonna+ era ng’oli musanyufu; kubanga Yakuwa akebera emitima gyonna+ era ategeera ebirowoozo n’ebigendererwa byonna.+ Bw’onoomunoonya ajja kukkiriza omuzuule;+ naye bw’onoomuvaako ajja kukuleka emirembe gyonna.+ 10 Laba, Yakuwa alonze ggwe okuzimba ennyumba eneeba ekifo ekitukuvu. Beera muvumu era kola omulimu.”
11 Awo Dawudi n’awa Sulemaani mutabani we pulaani+ y’ekisasi kya yeekaalu+ n’ey’ebisenge byayo n’amaterekero gaayo n’ebisenge byayo ebya waggulu n’eby’omunda n’ennyumba ey’okutangiririramu ebibi.+ 12 Yamuwa pulaani ya buli kintu omwoyo gwa Katonda kye gwamubikkulira, ey’empya+ z’ennyumba ya Yakuwa, n’ey’ebisenge byonna omuliirwa ebigyetoolodde, n’ey’amawanika g’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, n’ey’amawanika g’ebintu ebyatukuzibwa.*+ 13 Era yamuwa obulagirizi obukwata ku bibinja bya bakabona+ n’Abaleevi ne ku mirimu gyonna egy’obuweereza bw’omu nnyumba ya Yakuwa, era n’obulagirizi obukwata ku bintu byonna ebikozesebwa mu buweereza bw’omu nnyumba ya Yakuwa; 14 era yamuwa obuzito bwa zzaabu, zzaabu ow’ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu egy’enjawulo, n’obuzito bw’ebintu byonna ebya ffeeza, n’obw’ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu egy’enjawulo; 15 n’obuzito bw’ebikondo by’ettaala ebya zzaabu+ n’ettaala zaakwo eza zzaabu, n’obuzito bw’ebikondo by’ettaala eby’enjawulo n’ettaala zaakwo, n’obw’ebikondo by’ettaala ebya ffeeza, obuzito bwa buli kikondo ky’ettaala n’ettaala zaakwo okusinziira ku ngeri gye kikozesebwamu; 16 era yamuwa n’obuzito bwa zzaabu ow’emmeeza ez’emigaati egipangibwa,*+ obwa buli mmeeza, ne ffeeza ow’emmeeza eza ffeeza, 17 n’obuzito bw’amakabi, n’ebbakuli, n’ensumbi eza zzaabu omulongoofu, n’obuzito obw’obubakuli obwa zzaabu,+ obwa buli kabakuli, n’obuzito bw’obubakuli obwa ffeeza, obwa buli kabakuli. 18 Era yamuwa n’obuzito bwa zzaabu alongooseddwa ow’ekyoto eky’okwotererezaako obubaani,+ n’ow’ekyo ekikiikirira eggaali,+ kwe kugamba, bakerubi+ aba zzaabu abanjuluzza ebiwaawaatiro byabwe ne basiikiriza essanduuko y’endagaano ya Yakuwa. 19 Dawudi yagamba nti: “Yakuwa yampa amagezi ne ntegeera engeri y’okukolamu byonna ebiri mu pulaani,+ bye nnawandiika nga y’ampa obulagirizi.”+
20 Awo Dawudi n’agamba Sulemaani mutabani we nti: “Beera muvumu era beera wa maanyi okole omulimu. Totya era totekemuka kubanga Yakuwa Katonda, Katonda wange, ali naawe.+ Tajja kukwabulira era tajja kukulekerera;+ naye ajja kuba naawe okutuusa ng’omulimu gwonna ogw’okuzimba ennyumba ya Yakuwa guwedde. 21 Era waliwo ebibinja bya bakabona+ n’eby’Abaleevi+ abajja okukola emirimu gyonna egy’ennyumba ya Katonda ow’amazima. Olina abakozi abakugu abeetegefu okukola emirimu egya buli ngeri,+ era olina n’abaami+ awamu n’abantu bonna abajja okukola buli kimu ky’onoobagamba.”