LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Bassekabaka 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abiyaamu, kabaka wa Yuda (1-8)

      • Asa, kabaka wa Yuda (9-24)

      • Nadabu, kabaka wa Isirayiri (25-32)

      • Baasa, kabaka wa Isirayiri (33, 34)

1 Bassekabaka 15:1

Marginal References

  • +1Sk 12:20
  • +2By 13:1, 2

1 Bassekabaka 15:2

Marginal References

  • +2By 11:20-22

1 Bassekabaka 15:4

Marginal References

  • +2Sa 7:8, 12; Zb 89:33-37; Is 37:35; Yer 33:20, 21
  • +1Sk 11:36; 2By 21:7; Zb 132:13, 17

1 Bassekabaka 15:5

Marginal References

  • +2Sa 11:4, 15; Zb 51:obugambo obuli waggulu

1 Bassekabaka 15:6

Marginal References

  • +1Sk 14:30; 2By 12:15

1 Bassekabaka 15:7

Marginal References

  • +2By 13:22
  • +2By 13:3

1 Bassekabaka 15:8

Marginal References

  • +2By 14:1
  • +1By 3:10; Mat 1:7

1 Bassekabaka 15:10

Marginal References

  • +2By 11:21, 22

1 Bassekabaka 15:11

Marginal References

  • +2By 14:2-5, 11; 15:17

1 Bassekabaka 15:12

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.

Marginal References

  • +Ma 23:17, 18; 1Sk 14:24; 22:45, 46
  • +1Sk 11:7; 14:22, 23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 8

1 Bassekabaka 15:13

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +2By 11:18, 20
  • +Ma 7:5; 2Sk 18:1, 4; 2By 34:1, 4
  • +2Sa 15:23; 2By 15:16-18; Yok 18:1

1 Bassekabaka 15:14

Footnotes

  • *

    Obut., “ennaku ze zonna.”

Marginal References

  • +Kbl 33:52; Ma 12:2; 1Sk 22:41, 43

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2017, lup. 19

1 Bassekabaka 15:15

Marginal References

  • +1By 26:26, 27

1 Bassekabaka 15:16

Marginal References

  • +1Sk 16:3, 12

1 Bassekabaka 15:17

Footnotes

  • *

    Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”

  • *

    Oba, “okuva mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda oba okukiyingira.”

Marginal References

  • +Yos 18:21, 25
  • +2By 16:1-6

1 Bassekabaka 15:18

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwa.”

Marginal References

  • +2By 16:7

1 Bassekabaka 15:20

Marginal References

  • +2Sk 15:29
  • +Bal 18:29; 1Sk 12:28, 29

1 Bassekabaka 15:21

Footnotes

  • *

    Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”

Marginal References

  • +1Sk 14:17; Luy 6:4

1 Bassekabaka 15:22

Footnotes

  • *

    Oba, “n’abikozesa okunyweza; n’abikozesa okuddamu okuzimba.”

Marginal References

  • +Yos 21:8, 17
  • +Yos 18:21, 26; Bal 20:1; 1Sa 7:5; Yer 40:6

1 Bassekabaka 15:23

Footnotes

  • *

    Oba, “yanyweza; yaddamu okuzimba.”

Marginal References

  • +2By 16:11-14

1 Bassekabaka 15:24

Marginal References

  • +1Sk 22:42; 2By 17:3, 4; 18:1; 19:4; Mat 1:8

1 Bassekabaka 15:25

Marginal References

  • +1Sk 14:20

1 Bassekabaka 15:26

Marginal References

  • +1Sk 14:7, 9
  • +1Sk 12:28-30; 13:33

1 Bassekabaka 15:27

Marginal References

  • +Yos 19:44, 48; 21:20, 23; 1Sk 16:15

1 Bassekabaka 15:29

Marginal References

  • +1Sk 14:9, 10

1 Bassekabaka 15:32

Marginal References

  • +2By 12:15

1 Bassekabaka 15:33

Marginal References

  • +1Sk 16:8

1 Bassekabaka 15:34

Marginal References

  • +1Sk 16:7
  • +1Sk 12:28-30; 13:33

General

1 Bassek. 15:11Sk 12:20
1 Bassek. 15:12By 13:1, 2
1 Bassek. 15:22By 11:20-22
1 Bassek. 15:42Sa 7:8, 12; Zb 89:33-37; Is 37:35; Yer 33:20, 21
1 Bassek. 15:41Sk 11:36; 2By 21:7; Zb 132:13, 17
1 Bassek. 15:52Sa 11:4, 15; Zb 51:obugambo obuli waggulu
1 Bassek. 15:61Sk 14:30; 2By 12:15
1 Bassek. 15:72By 13:22
1 Bassek. 15:72By 13:3
1 Bassek. 15:82By 14:1
1 Bassek. 15:81By 3:10; Mat 1:7
1 Bassek. 15:102By 11:21, 22
1 Bassek. 15:112By 14:2-5, 11; 15:17
1 Bassek. 15:12Ma 23:17, 18; 1Sk 14:24; 22:45, 46
1 Bassek. 15:121Sk 11:7; 14:22, 23
1 Bassek. 15:132By 11:18, 20
1 Bassek. 15:13Ma 7:5; 2Sk 18:1, 4; 2By 34:1, 4
1 Bassek. 15:132Sa 15:23; 2By 15:16-18; Yok 18:1
1 Bassek. 15:14Kbl 33:52; Ma 12:2; 1Sk 22:41, 43
1 Bassek. 15:151By 26:26, 27
1 Bassek. 15:161Sk 16:3, 12
1 Bassek. 15:17Yos 18:21, 25
1 Bassek. 15:172By 16:1-6
1 Bassek. 15:182By 16:7
1 Bassek. 15:202Sk 15:29
1 Bassek. 15:20Bal 18:29; 1Sk 12:28, 29
1 Bassek. 15:211Sk 14:17; Luy 6:4
1 Bassek. 15:22Yos 21:8, 17
1 Bassek. 15:22Yos 18:21, 26; Bal 20:1; 1Sa 7:5; Yer 40:6
1 Bassek. 15:232By 16:11-14
1 Bassek. 15:241Sk 22:42; 2By 17:3, 4; 18:1; 19:4; Mat 1:8
1 Bassek. 15:251Sk 14:20
1 Bassek. 15:261Sk 14:7, 9
1 Bassek. 15:261Sk 12:28-30; 13:33
1 Bassek. 15:27Yos 19:44, 48; 21:20, 23; 1Sk 16:15
1 Bassek. 15:291Sk 14:9, 10
1 Bassek. 15:322By 12:15
1 Bassek. 15:331Sk 16:8
1 Bassek. 15:341Sk 16:7
1 Bassek. 15:341Sk 12:28-30; 13:33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Bassekabaka 15:1-34

1 Bassekabaka

15 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati, Abiyaamu yafuuka kabaka wa Yuda.+ 2 Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi, era nnyina yali ayitibwa Maaka,+ muzzukulu wa Abisalomu. 3 Yakola ebibi bye bimu kitaawe bye yakola, era omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa Katonda we ng’omutima gwa Dawudi jjajjaawe. 4 Naye ku lwa Dawudi,+ Yakuwa Katonda we yamuwa ettaala mu Yerusaalemi+ n’alonda omwana we okumuddira mu bigere era n’aleka Yerusaalemi okusigalawo, 5 kubanga Dawudi yakola ebintu ebirungi mu maaso ga Yakuwa, era obulamu bwe bwonna teyawaba kuva ku kintu kyonna kye yali amulagidde, okuggyako mu nsonga ezikwata ku Uliya Omukiiti.+ 6 Ate era waabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu ekiseera kyonna eky’obulamu bwa Lekobowaamu.+

7 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Abiyaamu, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.+ Waaliwo olutalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.+ 8 Abiyaamu yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era baamuziika mu Kibuga kya Dawudi, Asa+ mutabani we+ n’amusikira ku bwakabaka.

9 Mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa yatandika okufuga Yuda. 10 Yafugira emyaka 41 mu Yerusaalemi, era jjajjaawe omukazi yali ayitibwa Maaka,+ muzzukulu wa Abisalomu. 11 Asa yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa+ nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 Yagoba mu nsi bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu+ era n’aggyamu n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza,* bajjajjaabe bye baali bakoze.+ 13 Ate era yagoba Maaka+ jjajjaawe omukazi ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyesisiwaza ekyakozesebwanga mu kusinza ekikondo ekisinzibwa.* Asa yatemaatema ekifaananyi ekyo ekyesisiwaza+ n’akyokera mu Kiwonvu Kidulooni.+ 14 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo.+ Kyokka Asa yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, obulamu bwe bwonna.* 15 Ate era yaleeta mu nnyumba ya Yakuwa ebintu ye ne kitaawe bye baatukuza—ffeeza, zzaabu, n’ebintu ebikozesebwa ebitali bimu.+

16 Ekiseera kyonna waabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa+ kabaka wa Isirayiri. 17 Kabaka Baasa owa Isirayiri yalumba Yuda n’atandika okuzimba* Laama,+ aziyize omuntu yenna okuva eri Kabaka Asa owa Yuda oba okugenda gy’ali.*+ 18 Awo Asa n’aggya ffeeza ne zzaabu ebyali bisigadde mu mawanika g’omu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika g’omu nnyumba ya* kabaka n’abikwasa abaweereza be. Kabaka Asa n’abatuma eri Beni-kadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni, kabaka wa Busuuli,+ eyali abeera mu Ddamasiko, ng’agamba nti: 19 “Waliwo endagaano wakati wange naawe ne wakati wa kitange ne kitaawo. Nkuweerezza ekirabo kya ffeeza ne zzaabu. Genda omenye endagaano eri wakati wo ne Kabaka Baasa owa Isirayiri, anveeko.” 20 Beni-kadadi n’awuliriza Kabaka Asa, n’atuma abakulu b’amagye ge okulumba ebibuga bya Isirayiri, ne balwanyisa Yiyoni,+ Ddaani,+ Aberu-besumaaka, ekitundu kya Kinneresi kyonna, n’ekitundu kyonna ekya Nafutaali. 21 Baasa olwakiwulira, n’alekera awo okuzimba* Laama, ne yeeyongera okubeera e Tiruza.+ 22 Awo Kabaka Asa n’akunga abantu bonna ab’omu Yuda, ne baggyayo amayinja n’embaawo ebyali e Laama Baasa bye yali azimbisa, Kabaka Asa n’abizimbisa* Geba+ eky’omu Benyamini, ne Mizupa.+

23 Ebyafaayo ebirala byonna ebikwata ku Asa, ebikolwa bye byonna eby’obuzira n’ebyo byonna bye yakola, n’ebibuga bye yazimba,* biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. Naye mu kiseera eky’obukadde bwe, yalwala ebigere.+ 24 Asa yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekosafaati+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

25 Nadabu+ mutabani wa Yerobowaamu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, era yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 Yakolanga ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era yatambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kibi kitaawe+ kye yaleetera Isirayiri okukola.+ 27 Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali yakolera Nadabu olukwe n’amuttira e Gibbesoni+ ekyali eky’Abafirisuuti, nga Nadabu n’Abayisirayiri bonna bazingizza Gibbesoni. 28 Baasa yamutta mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, era Baasa n’atandika okufuga mu kifo kye. 29 Baasa olwamala okufuuka kabaka, n’atta ab’omu nnyumba ya Yerobowaamu bonna. Teyalekawo muntu wa Yerobowaamu yenna nga mulamu; yabazikiririza ddala nga Yakuwa bwe yali agambye okuyitira mu muweereza we Akiya Omusiiro.+ 30 Ekyo kyabaawo olw’ebibi Yerobowaamu bye yali akoze n’ebyo bye yaleetera Isirayiri okukola, era n’olw’okuba yanyiiza nnyo Yakuwa Katonda wa Isirayiri. 31 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Nadabu, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 32 Ekiseera kyonna waabangawo entalo wakati wa Asa ne Kabaka Baasa owa Isirayiri.+

33 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya yafuuka kabaka wa Isirayiri yonna mu Tiruza, era yafugira emyaka 24.+ 34 Naye yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ era yatambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi Yerobowaamu kye yaleetera Isirayiri okukola.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share