Engero
9 Amagezi gazimbye ennyumba yaago;
Gagikoledde empagi musanvu.
2 Gateeseteese bulungi ennyama yaago;
Gatabudde omwenge gwago,
Era gategese n’emmeeza yaago.
3 Gasindise abaweereza baago abakazi,
Bagende mu bifo by’ekibuga ebigulumivu balangirire nti:+
4 “Buli atalina bumanyirivu ajje eno.”
Amagezi gagamba oyo atalina magezi nti:
5 “Jjangu olye emmere gye nfumbye,
Era onywe n’omwenge gwe ntabudde.
7 Oyo awabula omunyoomi yeereetera okuswala,+
Na buli anenya omuntu omubi ajja kulumizibwa.
8 Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa.+
Nenya ow’amagezi, anaakwagalanga.+
9 Yigiriza omuntu ow’amagezi, aneeyongera okuba ow’amagezi.+
Yigiriza omutuukirivu, aneeyongera okuyiga.
11 Kubanga nja kusobozesa ennaku zo okuba ennyingi,+
Era ojja kuwangaala.
12 Bw’ofuna amagezi, ggwe aganyulwa mu magezi go,
Naye bw’oganyooma, ggwe wekka akosebwa.
13 Omukazi omusirusiru ayogerera waggulu.+
Tategeera era talina ky’amanyi.
14 Atuula ku mulyango gw’ennyumba ye,
Ku ntebe mu bifo ebigulumivu eby’omu kibuga,+
15 N’akoowoola abayitawo,
Abali ku ŋŋendo zaabwe ng’agamba nti:
16 “Buli atalina bumanyirivu, ajje eno.”
Era agamba abo abatalina magezi+ nti: