Koseya
Yatukuba naye ajja kusiba ebiwundu byaffe.
2 Ajja kutulamya oluvannyuma lw’ennaku bbiri.
Ku lunaku olw’okusatu ajja kutuyimusa,
Era tujja kubeera balamu mu maaso ge.
3 Tujja kumanya, tujja kufuba okumanya Yakuwa.
Ng’obudde bwe butalema kukya, naye tayinza butajja.
Ajja kujja gye tuli ng’enkuba etonnya,
Ng’enkuba eya ttoggo ennyikiza ettaka.”
4 “Nnaakukolera ki ggwe Efulayimu?
Nnaakukolera ki ggwe Yuda?
Okwagala kwammwe okutajjulukuka kulinga ebire eby’oku makya,
Era kulinga omusulo ogukala amangu.
5 Eyo ye nsonga lwaki nja kubatema nga nkozesa bannabbi;+
Nja kubatta nga nkozesa ebigambo by’akamwa kange.+
Emisango egibasaliddwa gijja kweyoleka bulungi ng’ekitangaala.+
6 Kubanga nsanyukira okwagala okutajjulukuka* so si ssaddaaka,
Era nsanyukira okumanya okukwata ku Katonda mu kifo ky’ebiweebwayo ebyokebwa.+
7 Kyokka bo ng’abantu obuntu bamenye endagaano.+
Bandidemu olukwe mu nsi yaabwe.
9 Ebibinja bya bakabona biringa ebibinja by’abazigu abateeze omuntu.
Batemulira abantu ku mabbali g’ekkubo erigenda e Sekemu,+
Bye bakola biswaza.
10 Ndabye ekintu ekyesisiwaza mu nnyumba ya Isirayiri.
11 Ate ggwe Yuda oteereddwawo ekiseera eky’okukungulwa,
Lwe ndikomyawo abantu bange okuva mu buwambe.”+