LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abantu baagala okuddayo e Misiri (1-10)

        • Yoswa ne Kalebu boogera ekituufu (6-9)

      • Yakuwa asunguwala; Musa amwegayirira (11-19)

      • Ekibonerezo: ba kumala emyaka 40 mu ddungu (20-38)

      • Abayisirayiri bawangulwa Abamaleki (39-45)

Okubala 14:1

Marginal References

  • +Ma 1:32, 33

Okubala 14:2

Marginal References

  • +Ma 1:27; Zb 106:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2006, lup. 9

Okubala 14:3

Marginal References

  • +Zb 78:40
  • +Kbl 14:31; Ma 1:39
  • +Kbl 11:5

Okubala 14:4

Marginal References

  • +Nek 9:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 25-26

Okubala 14:6

Marginal References

  • +Kbl 13:8, 16
  • +Kbl 13:6, 16; 14:30

Okubala 14:7

Marginal References

  • +Kbl 13:26, 27; Ma 1:25; 8:7, 8

Okubala 14:8

Marginal References

  • +Kuv 3:8

Okubala 14:9

Footnotes

  • *

    Obut., “abantu abo mugaati gye tuli.”

Marginal References

  • +Ma 7:17, 18; 20:3
  • +Kuv 33:16; Ma 20:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2006, lup. 16

Okubala 14:10

Marginal References

  • +Kuv 17:4
  • +Kuv 16:10

Okubala 14:11

Marginal References

  • +Kuv 16:28; Kbl 14:22, 23
  • +Ma 9:23; Beb 3:19

Okubala 14:12

Marginal References

  • +Kuv 32:10

Okubala 14:13

Marginal References

  • +Kuv 32:12; Ezk 20:9

Okubala 14:14

Marginal References

  • +Kuv 15:13, 14; Yos 2:10; 5:1
  • +Ma 4:12; 5:4
  • +Kuv 13:21; Zb 78:14

Okubala 14:15

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’atta omuntu omu.”

Okubala 14:16

Marginal References

  • +Ma 9:28

Okubala 14:18

Marginal References

  • +Zb 103:8; Mi 7:18
  • +Kuv 34:6, 7

Okubala 14:19

Marginal References

  • +Kuv 34:9; Zb 78:38

Okubala 14:20

Marginal References

  • +Yak 5:16

Okubala 14:21

Marginal References

  • +Zb 72:19; Kab 2:14

Okubala 14:22

Marginal References

  • +Nek 9:17
  • +Kuv 17:2; Zb 95:9; 106:14; Beb 3:16
  • +Zb 81:11

Okubala 14:23

Marginal References

  • +Kbl 26:63, 64; 32:11; Ma 1:35; Zb 95:11; 106:26; Beb 3:18; 4:3

Okubala 14:24

Marginal References

  • +Kbl 13:30; 26:65
  • +Yos 14:9, 14

Okubala 14:25

Marginal References

  • +Kbl 13:29
  • +Ma 1:40

Okubala 14:27

Marginal References

  • +Kuv 16:28; Kbl 14:11
  • +1Ko 10:6, 10

Okubala 14:28

Marginal References

  • +Kbl 14:2; 26:64; 32:11; Ma 1:35

Okubala 14:29

Marginal References

  • +Zb 106:26; 1Ko 10:5; Beb 3:17
  • +Kbl 1:45, 46; Yud 5

Okubala 14:30

Footnotes

  • *

    Obut., “nnawanikira omukono gwange.”

Marginal References

  • +Kuv 6:8
  • +Kbl 26:65; 32:11, 12; Ma 1:34-38

Okubala 14:31

Marginal References

  • +Kbl 14:3; Ma 1:39
  • +Zb 106:24

Okubala 14:33

Footnotes

  • *

    Obut., “obwamalaaya.”

Marginal References

  • +Kbl 32:13; Yos 14:10
  • +Ma 1:3; 2:14

Okubala 14:34

Footnotes

  • *

    Oba, “kye kitegeeza nze okuba omulabe wammwe.”

Marginal References

  • +Kbl 13:25
  • +Zb 95:10; Bik 7:36; 13:18

Okubala 14:35

Marginal References

  • +Kbl 14:29; Beb 3:17

Okubala 14:36

Marginal References

  • +Kbl 13:32

Okubala 14:37

Marginal References

  • +1Ko 10:6, 10; Yud 5

Okubala 14:38

Marginal References

  • +Kbl 14:30; 26:65; 32:11, 12; Ma 1:35, 36; Yos 14:6

Okubala 14:40

Marginal References

  • +Ma 1:41

Okubala 14:42

Marginal References

  • +Lev 26:14, 17; Ma 1:42

Okubala 14:43

Marginal References

  • +Kbl 13:29
  • +2By 15:2

Okubala 14:44

Marginal References

  • +Ma 1:43
  • +Kbl 10:33

Okubala 14:45

Marginal References

  • +Kbl 21:1, 3; Ma 1:44

General

Kubal. 14:1Ma 1:32, 33
Kubal. 14:2Ma 1:27; Zb 106:25
Kubal. 14:3Zb 78:40
Kubal. 14:3Kbl 14:31; Ma 1:39
Kubal. 14:3Kbl 11:5
Kubal. 14:4Nek 9:17
Kubal. 14:6Kbl 13:8, 16
Kubal. 14:6Kbl 13:6, 16; 14:30
Kubal. 14:7Kbl 13:26, 27; Ma 1:25; 8:7, 8
Kubal. 14:8Kuv 3:8
Kubal. 14:9Ma 7:17, 18; 20:3
Kubal. 14:9Kuv 33:16; Ma 20:1
Kubal. 14:10Kuv 17:4
Kubal. 14:10Kuv 16:10
Kubal. 14:11Kuv 16:28; Kbl 14:22, 23
Kubal. 14:11Ma 9:23; Beb 3:19
Kubal. 14:12Kuv 32:10
Kubal. 14:13Kuv 32:12; Ezk 20:9
Kubal. 14:14Kuv 15:13, 14; Yos 2:10; 5:1
Kubal. 14:14Ma 4:12; 5:4
Kubal. 14:14Kuv 13:21; Zb 78:14
Kubal. 14:16Ma 9:28
Kubal. 14:18Zb 103:8; Mi 7:18
Kubal. 14:18Kuv 34:6, 7
Kubal. 14:19Kuv 34:9; Zb 78:38
Kubal. 14:20Yak 5:16
Kubal. 14:21Zb 72:19; Kab 2:14
Kubal. 14:22Nek 9:17
Kubal. 14:22Kuv 17:2; Zb 95:9; 106:14; Beb 3:16
Kubal. 14:22Zb 81:11
Kubal. 14:23Kbl 26:63, 64; 32:11; Ma 1:35; Zb 95:11; 106:26; Beb 3:18; 4:3
Kubal. 14:24Kbl 13:30; 26:65
Kubal. 14:24Yos 14:9, 14
Kubal. 14:25Kbl 13:29
Kubal. 14:25Ma 1:40
Kubal. 14:27Kuv 16:28; Kbl 14:11
Kubal. 14:271Ko 10:6, 10
Kubal. 14:28Kbl 14:2; 26:64; 32:11; Ma 1:35
Kubal. 14:29Zb 106:26; 1Ko 10:5; Beb 3:17
Kubal. 14:29Kbl 1:45, 46; Yud 5
Kubal. 14:30Kuv 6:8
Kubal. 14:30Kbl 26:65; 32:11, 12; Ma 1:34-38
Kubal. 14:31Kbl 14:3; Ma 1:39
Kubal. 14:31Zb 106:24
Kubal. 14:33Kbl 32:13; Yos 14:10
Kubal. 14:33Ma 1:3; 2:14
Kubal. 14:34Kbl 13:25
Kubal. 14:34Zb 95:10; Bik 7:36; 13:18
Kubal. 14:35Kbl 14:29; Beb 3:17
Kubal. 14:36Kbl 13:32
Kubal. 14:371Ko 10:6, 10; Yud 5
Kubal. 14:38Kbl 14:30; 26:65; 32:11, 12; Ma 1:35, 36; Yos 14:6
Kubal. 14:40Ma 1:41
Kubal. 14:42Lev 26:14, 17; Ma 1:42
Kubal. 14:43Kbl 13:29
Kubal. 14:432By 15:2
Kubal. 14:44Ma 1:43
Kubal. 14:44Kbl 10:33
Kubal. 14:45Kbl 21:1, 3; Ma 1:44
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 14:1-45

Okubala

14 Awo ekibiina kyonna ne kireekaana, abantu ne bakuba ebiwoobe era ne bakaaba ekiro ekyo kyonna.+ 2 Abayisirayiri bonna ne batandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni,+ era ekibiina kyonna ne kibagamba nti: “Kale singa twafiira mu nsi ya Misiri, oba singa twafiira mu ddungu lino! 3 Lwaki Yakuwa atutwala mu nsi eyo okuttibwa n’ekitala?+ Bakazi baffe n’abaana baffe bagenda kufuuka munyago.+ Okuddayo e Misiri si kye kisinga obulungi?”+ 4 Era baagambagana nti: “Tulonde omukulembeze tuddeyo e Misiri!”+

5 Awo Musa ne Alooni ne bavunnama mu maaso g’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ekyali kikuŋŋaanye. 6 Awo Yoswa+ mutabani wa Nuuni ne Kalebu+ mutabani wa Yefune, abaali ku abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuza ebyambalo byabwe, 7 ne bagamba ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta nnungi nnyo ddala.+ 8 Yakuwa bw’aba ng’atusanyukira, ajja kututwala mu nsi eyo agituwe; ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 9 Naye temujeemera Yakuwa era temutya bantu ba mu nsi+ kubanga tujja kubasaanyaawo.* Tebakyalina bukuumi, naye ffe Yakuwa ali naffe.+ Temubatya.”

10 Kyokka ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja.+ Naye ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabikira Abayisirayiri bonna ku weema ey’okusisinkaniramu.+

11 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa obutanzisaamu kitiibwa,+ era balituusa wa obutanneesiga wadde nga nkoze obubonero bungi mu bo?+ 12 Ka mbaleetere endwadde mbasaanyeewo, ggwe nkufuule eggwanga eddene era ery’amaanyi okubasinga.”+

13 Naye Musa n’agamba Yakuwa nti: “Abamisiri mwe waggya abantu bano ng’okozesa amaanyi go bajja kuwulira ekintu kino,+ 14 bakibuulire abantu b’omu nsi eno abawulidde nti ggwe Yakuwa oli mu bantu bano+ era obalabikidde maaso ku maaso.+ Ggwe Yakuwa, era ekire kyo kiyimirira waggulu waabwe; emisana obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’ekire ate ekiro obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’omuliro.+ 15 Singa otta abantu bano bonna omulundi gumu,* amawanga agawulidde ku ttutumu lyo gajja kugamba nti: 16 ‘Yakuwa yattira abantu bano mu ddungu olw’okuba yali tasobola kubatwala mu nsi gye yabalayirira.’+ 17 Kale kaakano Ai Yakuwa, amaanyi go amangi ka geeyoleke nga bwe wasuubiza, bwe wagamba nti: 18 ‘Yakuwa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ asonyiwa ensobi n’okwonoona, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango, abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.’+ 19 Nkwegayiridde, abantu bano basonyiwe ensobi zaabwe ng’okwagala kwo okungi okutajjulukuka bwe kuli, era nga bw’obadde obasonyiwa okuviira ddala e Misiri okutuusa kati.”+

20 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Mbasonyiye nga bw’ogambye.+ 21 Kyokka, nga bwe ndi omulamu, ensi yonna ejja kujjula ekitiibwa kya Yakuwa.+ 22 Naye abantu bonna abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero+ bwe nnakola e Misiri ne mu ddungu kyokka ne bangezesa+ emirundi gino ekkumi, era ne batawuliriza ddoboozi lyange,+ 23 tebaliraba nsi gye nnalayirira bakitaabwe. Abo bonna abatanzisaamu kitiibwa tebaligiraba.+ 24 Naye olw’okuba omuweereza wange Kalebu+ abadde n’omwoyo ogw’enjawulo n’angoberera n’omutima gwe gwonna, nja kumutwala mu nsi gye yagendamu era ezzadde lye lirigitwala.+ 25 Okuva Abamaleki n’Abakanani+ bwe babeera mu kiwonvu, enkya mukyuse mugende mu ddungu nga muyita mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu.”+

26 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 27 “Ekibiina kino ekibi kirituusa wa okunneemulugunyaako?+ Mpulidde okwemulugunya Abayisirayiri kwe banneemulugunyaako.+ 28 Bagambe nti, ‘“Nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa bw’agamba, “nja kubakolera ddala nga bwe mpulidde mwogera!+ 29 Emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino,+ abo bonna mu mmwe abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, mmwe mmwenna abanneemulugunyizzaako.+ 30 Tewali n’omu ku mmwe ajja kuyingira mu nsi gye nnalayira* okubawa okubeeramu,+ okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.+

31 “‘“Abaana bammwe be mugambye nti bajja kufuuka munyago,+ abo be nja okuyingiza mu nsi, era bajja kumanya ensi gye munyoomye.+ 32 Naye mmwe, emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino. 33 Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40,+ era balisasulira ebikolwa byammwe eby’obutali bwesigwa,* okutuusa omulambo gwa buli omu ku mmwe lwe guligwa mu ddungu.+ 34 Ng’omuwendo gw’ennaku ze mwamala nga muketta ensi bwe guli, ze nnaku 40,+ nga buli lunaku lubalwamu mwaka, mujja kumala emyaka 40+ nga musasulira ensobi zammwe, mulyoke mutegeere kye kitegeeza okumpakanya.*

35 “‘“Nze Yakuwa nze njogedde, era bw’entyo bwe nja okukola ekibiina kino kyonna ekibi, abo abakuŋŋaanye okumpakanya: Bajja kuzikiririra mu ddungu lino era muno mwe bajja okufiira.+ 36 Abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta ensi, abaakomawo ne boogera obubi ku nsi ne baleetera ekibiina kyonna okumwemulugunyaako,+ 37 abasajja abo abaayogera obubi ku nsi, bajja kubonerezebwa bafiire mu maaso ga Yakuwa.+ 38 Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, be bokka abajja okusigalawo nga balamu ku abo abaagenda okuketta ensi.”’”+

39 Musa bwe yagamba Abayisirayiri bonna ebigambo ebyo, abantu ne banakuwala nnyo. 40 Awo ne bagolokoka ku makya ennyo ne bagezaako okwambuka ku ntikko y’olusozi nga bagamba nti: “Tuutuno twetegese okugenda mu kifo Yakuwa kye yayogerako, kubanga twonoonye.”+ 41 Naye Musa n’agamba nti: “Lwaki mujeemera ekiragiro kya Yakuwa? Temujja kuwangula. 42 Temwambuka kubanga Yakuwa tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula.+ 43 Abamaleki n’Abakanani abali eyo bajja kubalwanyisa;+ mujja kuttibwa n’ekitala. Olw’okuba mwalekera awo okugoberera Yakuwa, Yakuwa tajja kuba nammwe.”+

44 Kyokka beetulinkiriza ne bambuka ku ntikko y’olusozi,+ naye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa teyava wakati mu lusiisira era ne Musa naye bw’atyo.+ 45 Awo Abamaleki n’Abakanani abaali babeera ku lusozi olwo ne bakka ne babakuba ne babasaasaanya okutuukira ddala e Koluma.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share