LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Uzziya, kabaka wa Yuda (1-5)

      • Obuwanguzi bw’eggye lya Uzziya (6-15)

      • Uzziya akubwa ebigenge olw’amalala (16-21)

      • Uzziya afa (22, 23)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:1

Marginal References

  • +Mat 1:8
  • +2Sk 14:21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:2

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, kitaawe Amaziya.

Marginal References

  • +1Sk 9:26; 2Sk 16:6
  • +2Sk 14:22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:3

Marginal References

  • +Is 1:1; 6:1
  • +2Sk 15:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:4

Marginal References

  • +2Sk 14:1, 3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:5

Marginal References

  • +2By 14:7; Zb 1:2, 3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:6

Marginal References

  • +2Sa 8:1; 2By 21:16; Is 14:29
  • +1By 18:1
  • +Yos 15:11, 12
  • +Yos 15:20, 46; 1Sa 5:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:7

Marginal References

  • +2By 17:11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:8

Marginal References

  • +Lub 19:36, 38; Bal 11:15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:9

Marginal References

  • +2By 14:2, 7
  • +2Sk 14:13; Yer 31:38; Zek 14:10
  • +Nek 3:13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:10

Marginal References

  • +2Sk 9:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:11

Marginal References

  • +2By 24:11
  • +Kbl 1:2, 3; 2Sa 24:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:13

Marginal References

  • +2By 11:1; 13:3; 14:8; 17:14; 25:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:14

Marginal References

  • +2By 11:5, 12
  • +1Sa 17:4, 5
  • +Bal 20:16; 1Sa 17:49; 1By 12:1, 2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:15

Marginal References

  • +2By 14:2, 7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:16

Marginal References

  • +Kbl 1:51

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:18

Marginal References

  • +Kbl 16:39, 40; 18:7
  • +Kuv 30:7; 1By 23:13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:19

Marginal References

  • +2By 16:10; 25:15, 16
  • +Kbl 12:10; 2Sk 5:27

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2019

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:20

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2015

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:21

Footnotes

  • *

    Oba, “eby’olubiri.”

Marginal References

  • +Lev 13:45, 46; Kbl 5:2; 12:14, 15
  • +2Sk 15:5-7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:22

Marginal References

  • +Is 1:1; 6:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:23

Marginal References

  • +2Sk 15:32

General

2 Byom. 26:1Mat 1:8
2 Byom. 26:12Sk 14:21
2 Byom. 26:21Sk 9:26; 2Sk 16:6
2 Byom. 26:22Sk 14:22
2 Byom. 26:3Is 1:1; 6:1
2 Byom. 26:32Sk 15:2
2 Byom. 26:42Sk 14:1, 3
2 Byom. 26:52By 14:7; Zb 1:2, 3
2 Byom. 26:62Sa 8:1; 2By 21:16; Is 14:29
2 Byom. 26:61By 18:1
2 Byom. 26:6Yos 15:11, 12
2 Byom. 26:6Yos 15:20, 46; 1Sa 5:1
2 Byom. 26:72By 17:11
2 Byom. 26:8Lub 19:36, 38; Bal 11:15
2 Byom. 26:92By 14:2, 7
2 Byom. 26:92Sk 14:13; Yer 31:38; Zek 14:10
2 Byom. 26:9Nek 3:13
2 Byom. 26:102Sk 9:17
2 Byom. 26:112By 24:11
2 Byom. 26:11Kbl 1:2, 3; 2Sa 24:9
2 Byom. 26:132By 11:1; 13:3; 14:8; 17:14; 25:5
2 Byom. 26:142By 11:5, 12
2 Byom. 26:141Sa 17:4, 5
2 Byom. 26:14Bal 20:16; 1Sa 17:49; 1By 12:1, 2
2 Byom. 26:152By 14:2, 7
2 Byom. 26:16Kbl 1:51
2 Byom. 26:18Kbl 16:39, 40; 18:7
2 Byom. 26:18Kuv 30:7; 1By 23:13
2 Byom. 26:192By 16:10; 25:15, 16
2 Byom. 26:19Kbl 12:10; 2Sk 5:27
2 Byom. 26:21Lev 13:45, 46; Kbl 5:2; 12:14, 15
2 Byom. 26:212Sk 15:5-7
2 Byom. 26:22Is 1:1; 6:1
2 Byom. 26:232Sk 15:32
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:1-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

26 Awo abantu ba Yuda bonna ne baddira Uzziya+ eyali ow’emyaka 16, ne bamufuula kabaka n’adda mu kifo kya kitaawe Amaziya.+ 2 Ye yaddamu okuzimba Erosi+ n’akiddiza Yuda nga kabaka* amaze okugalamizibwa wamu ne bajjajjaabe.+ 3 Uzziya+ yalina emyaka 16 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka 52 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya ow’e Yerusaalemi.+ 4 Yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, nga Amaziya kitaawe bwe yakola.+ 5 Uzziya yanoonya Katonda mu kiseera kya Zekkaliya eyamuyigiriza okutya Katonda ow’amazima, era Yakuwa Katonda ow’amazima yamuwa emikisa+ ekiseera kyonna kye yamala ng’amunoonya.

6 Yagenda n’alwanyisa Abafirisuuti+ n’abomola bbugwe wa Gaasi+ n’owa Yabune+ n’owa Asudodi,+ era oluvannyuma n’azimba ebibuga mu kitundu ky’e Asudodi ne mu kitundu ky’Abafirisuuti. 7 Katonda ow’amazima yeeyongera okumuyamba n’awangula Abafirisuuti n’Abawalabu+ abaabeeranga mu Gulubbaali, era n’Abamewuni. 8 Awo Abaamoni+ ne batandika okuwa Uzziya omusolo. Ettutumu lye lyeyongera ne lituuka n’e Misiri, kubanga yafuuka wa maanyi nnyo. 9 Era Uzziya yazimba eminaala+ mu Yerusaalemi n’aginyweza; yagizimba okumpi n’Omulyango ogw’Oku Nsonda,+ n’Omulyango ogw’Omu Kiwonvu,+ n’okumpi n’Empagi. 10 Ate era yazimba eminaala+ mu ddungu, era n’asima n’enzizi nnyingi (kubanga yalina ebisolo bingi); yakola bw’atyo ne mu Sefera ne mu kitundu eky’omuseetwe. Yalina abalimi n’abakozi abaakolanga mu nnimiro z’emizabbibu mu nsozi ne mu Kalumeeri, kubanga yali ayagala nnyo eby’obulimi.

11 Uzziya era yalina eggye eryali litegekeddwa okulwana. Baagendanga okutabaala nga bali mu bibinja. Yeyeri omuwandiisi+ ne Maaseya be baababalanga era ne babawandiika.+ Abasajja abo ababiri baali bakulirwa Kananiya omu ku baami ba kabaka. 12 Abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, abaali bakulira abalwanyi bano ab’amaanyi baali 2,600. 13 Baakuliranga eggye ly’abasajja 307,500 abaali abeetegefu okulwana; eggye ery’amaanyi eryayambanga kabaka okulwanyisa abalabe.+ 14 Eggye lyonna Uzziya yaliwa engabo n’amafumu+ ne sseppeewo n’ebyambalo by’olutalo+ n’emitego gy’obusaale n’amayinja ag’envuumuulo.+ 15 Ate era yakola mu Yerusaalemi ebyuma eby’entalo ebyayiiyizibwa abasajja abakugu. Byateekebwa waggulu ku minaala+ ne ku nsonda za bbugwe, era byali bisobola okulasa obusaale n’okukanyuga amayinja amanene. Ettutumu lye lyatuuka wala, kubanga Katonda yamuyamba n’abeera wa maanyi.

16 Kyokka olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana. Yakola ekintu ekitaali kya bwesigwa mu maaso ga Yakuwa Katonda we bwe yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaani ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani.+ 17 Amangu ago Azaliya kabona ng’ali wamu ne bakabona ba Yakuwa abalala, abasajja abazira 80, ne bayingira nga bamuvaako emabega. 18 Ne baŋŋanga Kabaka Uzziya ne bamugamba nti: “Uzziya, tosaanidde kwoterereza Yakuwa bubaani!+ Bakabona bokka be basaanidde okwotereza obubaani, kubanga be bazzukulu ba Alooni+ abaatukuzibwa. Va mu kifo ekitukuvu, kubanga okoze ekikolwa ekitali kya bwesigwa era Yakuwa Katonda tajja kukugulumiza olw’ekikolwa kino.”

19 Kyokka Uzziya n’asunguwala,+ era yali akutte ekyoterezo eky’okwotereza obubaani. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona, ebigenge+ ne bimukuba mu kyenyi ng’ali mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Yakuwa, okumpi n’ekyoto eky’okwotererezaako obubaani. 20 Azaliya kabona omukulu ne bakabona abalala bonna bwe baamutunuulira, ne balaba nga yali akubiddwa ebigenge mu kyenyi! Awo ne banguwa okumufulumya, era naye n’ayanguwa okufuluma kubanga Yakuwa yali amukubye ebigenge.

21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa. Waaliwo ennyumba ey’enjawulo mwe yabeeranga olw’okuba yali mugenge,+ era yali takyakkirizibwa kugenda ku nnyumba ya Yakuwa. Yosamu mutabani we ye yali alabirira eby’ennyumba* ya kabaka, era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+

22 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Uzziya, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi. 23 Oluvannyuma Uzziya yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika ne bajjajjaabe. Naye baamuziika mu kibanja ekiziikibwamu ekiri ebweru w’ekifo bakabaka gye baaziikibwanga, kubanga baagamba nti: “Mugenge.” Yosamu+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share