LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ensolo ennongoofu n’ezitali nnongoofu (1-47)

Eby’Abaleevi 11:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ensolo ez’oku lukalu.”

Marginal References

  • +Ma 14:4-6; Ezk 4:14

Eby’Abaleevi 11:4

Marginal References

  • +Ma 14:7, 8

Eby’Abaleevi 11:5

Marginal References

  • +Nge 30:26

Eby’Abaleevi 11:7

Marginal References

  • +Is 65:4; 66:3, 17

Eby’Abaleevi 11:8

Marginal References

  • +Bik 10:14

Eby’Abaleevi 11:9

Marginal References

  • +Ma 14:9, 10

Eby’Abaleevi 11:11

Marginal References

  • +Ma 14:3

Eby’Abaleevi 11:13

Marginal References

  • +Yob 39:27, 30
  • +Ma 14:12-19

Eby’Abaleevi 11:20

Footnotes

  • *

    Oba, “Buli kiwuka.”

Eby’Abaleevi 11:24

Marginal References

  • +Lev 14:46, 47; 15:8; 17:15; 22:4-6

Eby’Abaleevi 11:25

Marginal References

  • +Lev 14:2, 8; 15:2, 5; Kbl 19:10

Eby’Abaleevi 11:26

Marginal References

  • +Ma 14:7, 8

Eby’Abaleevi 11:28

Marginal References

  • +Lev 17:15, 16
  • +Lev 5:2

Eby’Abaleevi 11:29

Marginal References

  • +Is 66:17

Eby’Abaleevi 11:31

Marginal References

  • +Ma 14:19
  • +Lev 11:24; 22:4, 5

Eby’Abaleevi 11:33

Marginal References

  • +Lev 15:12

Eby’Abaleevi 11:39

Marginal References

  • +Lev 11:23, 24; Kbl 19:11, 16

Eby’Abaleevi 11:40

Marginal References

  • +Lev 17:15; 22:3, 8; Ma 14:21; Ezk 4:14; 44:31

Eby’Abaleevi 11:41

Marginal References

  • +Lev 11:21

Eby’Abaleevi 11:42

Marginal References

  • +Ma 14:3

Eby’Abaleevi 11:43

Marginal References

  • +Lev 20:25

Eby’Abaleevi 11:44

Marginal References

  • +Kuv 20:2
  • +Kuv 19:6; Lev 19:2; Ma 14:2; 1Se 4:7
  • +1Pe 1:15, 16; Kub 4:8

Eby’Abaleevi 11:45

Marginal References

  • +Kuv 6:7; 29:46; Kos 11:1
  • +Kuv 22:31; Kbl 15:40; Ma 7:6
  • +Lev 20:7, 26; Yos 24:19; 1Sa 2:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2004, lup. 21

Eby’Abaleevi 11:47

Marginal References

  • +Lev 20:25; Ezk 44:23

General

Leev. 11:2Ma 14:4-6; Ezk 4:14
Leev. 11:4Ma 14:7, 8
Leev. 11:5Nge 30:26
Leev. 11:7Is 65:4; 66:3, 17
Leev. 11:8Bik 10:14
Leev. 11:9Ma 14:9, 10
Leev. 11:11Ma 14:3
Leev. 11:13Yob 39:27, 30
Leev. 11:13Ma 14:12-19
Leev. 11:24Lev 14:46, 47; 15:8; 17:15; 22:4-6
Leev. 11:25Lev 14:2, 8; 15:2, 5; Kbl 19:10
Leev. 11:26Ma 14:7, 8
Leev. 11:28Lev 17:15, 16
Leev. 11:28Lev 5:2
Leev. 11:29Is 66:17
Leev. 11:31Ma 14:19
Leev. 11:31Lev 11:24; 22:4, 5
Leev. 11:33Lev 15:12
Leev. 11:39Lev 11:23, 24; Kbl 19:11, 16
Leev. 11:40Lev 17:15; 22:3, 8; Ma 14:21; Ezk 4:14; 44:31
Leev. 11:41Lev 11:21
Leev. 11:42Ma 14:3
Leev. 11:43Lev 20:25
Leev. 11:44Kuv 20:2
Leev. 11:44Kuv 19:6; Lev 19:2; Ma 14:2; 1Se 4:7
Leev. 11:441Pe 1:15, 16; Kub 4:8
Leev. 11:45Kuv 6:7; 29:46; Kos 11:1
Leev. 11:45Kuv 22:31; Kbl 15:40; Ma 7:6
Leev. 11:45Lev 20:7, 26; Yos 24:19; 1Sa 2:2
Leev. 11:47Lev 20:25; Ezk 44:23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
  • 47
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 11:1-47

Eby’Abaleevi

11 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 2 “Mugambe Abayisirayiri nti, ‘Bino bye biramu ebiri ku nsi* bye muyinza okulya:+ 3 Buli nsolo erina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala era ezza obwenkulumu eyinza okuliibwa.

4 “‘Naye temulyanga nsolo zino ezizza obwenkulumu oba ezirina ebinuulo ebyeyawuddemu: eŋŋamira, ezza obwenkulumu naye terina binuulo byawulemu. Si nnongoofu gye muli.+ 5 N’akamyu ak’omu njazi,+ kubanga kazza obwenkulumu naye tekalina binuulo byeyawuddemu. Si kalongoofu gye muli. 6 N’akamyu ak’omu nsiko, kubanga kazza obwenkulumu naye tekalina binuulo byeyawuddemu. Si kalongoofu gye muli. 7 N’embizzi,+ kubanga erina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala, naye tezza bwenkulumu. Si nnongoofu gye muli. 8 Temulyanga nnyama yaabyo, era temubikwatangako nga bifudde. Si birongoofu gye muli.+

9 “‘Bino bye munaalyanga mu ebyo byonna ebibeera mu mazzi: Buli ekibeera mu mazzi ekirina amaggwa n’ebigalagamba munaakiryanga,+ ka kibe nga kibeera mu nnyanja oba mu migga. 10 Naye buli ekiri mu nnyanja ne mu migga ekitalina maggwa na bigalagamba, ku biramu byonna ebibeera mu bibinja ne ku biramu ebirala ebibeera mu mazzi, binaabanga bya muzizo gye muli. 11 Ebyo binaabanga bya muzizo gye muli era temubiryanga;+ ebifudde binaabanga bya muzizo gye muli. 12 Buli ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na bigalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.

13 “‘Bino bye biramu ebibuuka ebinaabanga eby’omuzizo gye muli; temubiryanga kubanga bya muzizo: empungu,+ makwanzi, ensega enzirugavu,+ 14 kamunye omumyufu n’ebika byonna ebya kamunye omuddugavu, 15 ebika bya nnamuŋŋoona byonna, 16 mmaaya, ekiwuugulu, enkunga, ebika bya magga byonna, 17 ekiwuugulu ekitono, sseddindi, ekiwuugulu eky’amatu amawanvu, 18 embaata ey’oku mazzi, kimbala, ensega, 19 enkoonamasonko, ebika byonna ebya ssekanyolya, dukipaasi, n’ekinyira. 20 Buli kiramu ekibeera mu bibinja ekirina ebiwaawaatiro* era ekitambuza amagulu ana, kinaabanga kya muzizo gye muli.

21 “‘Ku biramu byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana, munaalyanga ebyo byokka ebirina amagulu ag’okubuukisa agali waggulu w’ago ge bitambuza. 22 Ku ebyo, bino bye munaalyanga: ebika by’enzige ebitali bimu, amayenje, n’enseenene. 23 Ebiramu ebirala byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebirina amagulu ana bijja kuba bya muzizo gye muli. 24 Ebyo bijja kubafuulanga abatali balongoofu. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 25 Omuntu yenna anaabisitulanga nga bifudde, anaayozanga ebyambalo bye,+ era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26 “‘Ensolo zonna ezirina ebinuulo ebyeyawuliddemu ddala naye nga tezizza bwenkulumu, teziibenga nnongoofu gye muli. Buli anaazikwatangako taabenga mulongoofu.+ 27 Ebiramu byonna ebitambuza ebibatu byabyo ku biramu byonna ebitambuza amagulu ana, si birongoofu gye muli. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Buli anaabisitulanga nga bifudde anaayozanga ebyambalo bye,+ era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ Si birongoofu gye muli.

29 “‘Bino bye biramu eby’oku nsi ebibeera mu bibinja ebitali birongoofu gye muli: effukuzi, emmese,+ ebika byonna eby’eminya, 30 ekkonkome, enswaswa, omunya, omunya ogw’omu musenyu, ne nnawolovu. 31 Ebiramu ebyo ebibeera mu bibinja si birongoofu gye muli.+ Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+

32 “‘Buli kintu kye binaagwangako nga bifudde tekiibenga kirongoofu, ka kibe ekibya eky’omuti, oba ekyambalo, oba eddiba, oba ekibukutu. Ekintu kyonna ekikozesebwa kinannyikibwanga mu mazzi, era tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi, olwo ne kiryoka kiba ekirongoofu nate. 33 Bwe bigwanga mu kintu eky’ebbumba, mukyasanga, era ekintu kyonna ekibaddemu tekiibenga kirongoofu.+ 34 Emmere yonna eneegendangako amazzi agavudde mu kibya ekyo, teebenga nnongoofu, era eky’okunywa kyonna ekinaabanga mu kibya ekyo tekiibenga kirongoofu. 35 Ekintu kyonna kye binaagwangako nga bifudde, tekiibenga kirongoofu. Ka kabe kabiga oba ssigiri, kinaayasibwanga. Si birongoofu, era tebiibenga birongoofu gye muli. 36 Kyokka, singa bigwa mu luzzi oba mu kinnya omuterekebwa amazzi, ebyo bisigala birongoofu, naye buli anaakwatanga ku biramu ebyo nga bifudde taabenga mulongoofu. 37 Ebifudde bwe bigwanga ku nsigo y’ekimera egenda okusigibwa, ensigo eyo eneebanga nnongoofu. 38 Naye singa amazzi gafukibwa ku nsigo era ekimu ku bitundu by’ekyo ekifudde ne kigigwaako, teebenga nnongoofu gye muli.

39 “‘Singa ensolo yonna gye mukkirizibwa okulya efa, anaagikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ 40 Omuntu yenna anaagiryangako anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+ Omuntu yenna anaagisitulanga anaayozanga ebyambalo bye, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 41 Buli kiramu eky’oku nsi ekibeera mu bibinja kinaabanga kya muzizo+ gye muli. Tekiiriibwenga. 42 Temulyanga kiramu kyonna ekyewalula, oba obusolo obutono obutambuza amagulu ana, oba ebiramu byonna eby’oku nsi ebibeera mu bibinja ebirina amagulu amangi, kubanga bya muzizo.+ 43 Temwefuulanga eky’omuzizo olw’ekiramu kyonna ekibeera mu bibinja, era temweyonoonanga ne mufuuka abatali balongoofu olw’ebintu ebyo.+ 44 Nze Yakuwa Katonda wammwe;+ mwetukuzenga era mubenga batukuvu,+ kubanga nze ndi mutukuvu.+ N’olwekyo temwefuulanga abatali balongoofu olw’ebiramu ebibeera mu bibinja ebitambula ku nsi. 45 Kubanga nze Yakuwa eyabaggya mu nsi ya Misiri, ndyoke nkyoleke nti ndi Katonda wammwe;+ mubenga batukuvu+ kubanga ndi mutukuvu.+

46 “‘Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo, ne ku biramu ebibuuka, ne ku buli kiramu ekibeera mu mazzi, ne ku buli kiramu ekibeera mu bibinja ekitambula ku nsi, 47 musobole okwawula ebitali birongoofu n’ebirongoofu, ebiramu ebirina okuliibwa n’ebyo ebitalina kuliibwa.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share