LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omugabo gwa bakabona n’Abaleevi (1-8)

      • Eby’obusamize tebikkirizibwa (9-14)

      • Nnabbi alinga Musa (15-19)

      • Kw’otegeerera bannabbi ab’obulimba (20-22)

Ekyamateeka 18:1

Marginal References

  • +Kbl 18:20, 24; Ma 10:9; Yos 13:14, 33; 1Ko 9:13

Ekyamateeka 18:4

Marginal References

  • +Kuv 23:19; Kbl 18:8, 12; 2By 31:4; Nek 12:44

Ekyamateeka 18:5

Marginal References

  • +Kuv 28:1; Kbl 3:10; Ma 10:8

Ekyamateeka 18:6

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, ekifo Yakuwa ky’anaalonda okuba aw’okumusinzizanga.

Marginal References

  • +Kbl 35:2
  • +Ma 12:5, 6; 16:2; Zb 26:8

Ekyamateeka 18:7

Marginal References

  • +2By 31:2

Ekyamateeka 18:8

Marginal References

  • +Lev 7:10

Ekyamateeka 18:9

Marginal References

  • +Lev 18:26; Ma 12:30

Ekyamateeka 18:10

Footnotes

  • *

    Obut., “ayisa.”

Marginal References

  • +Ma 12:31; 2Sk 16:1, 3; 2By 28:1, 3; Zb 106:35-37; Yer 32:35
  • +2Sk 17:17; Bik 16:16
  • +Lev 19:26; Bik 19:19
  • +Ezk 21:21
  • +Kuv 22:18

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 24

Ekyamateeka 18:11

Marginal References

  • +Lev 20:27; 1By 10:13
  • +Lev 19:31
  • +1Sa 28:7-11; Is 8:19; Bag 5:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 24

Ekyamateeka 18:12

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 24

Ekyamateeka 18:13

Marginal References

  • +Mat 5:48; 2Pe 3:14

Ekyamateeka 18:14

Marginal References

  • +Lev 19:26; 2Sk 21:1, 2, 6
  • +Yos 13:22

Ekyamateeka 18:15

Marginal References

  • +Lub 49:10; Kbl 24:17; Luk 7:16; Yok 1:45; 6:14; Bik 3:22; 7:37

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2009, lup. 24-28

Ekyamateeka 18:16

Marginal References

  • +Kuv 19:17
  • +Kuv 20:19

Ekyamateeka 18:18

Marginal References

  • +Kuv 34:28; Kbl 12:3; Mat 4:1, 2; 11:29; Yok 5:46
  • +Yok 17:8
  • +Yok 12:49; Beb 1:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2009, lup. 24-28

    3/1/2000, lup. 15-16

Ekyamateeka 18:19

Marginal References

  • +Bik 3:23

Ekyamateeka 18:20

Marginal References

  • +Ma 13:1-5; Yer 28:11-17

General

Ma. 18:1Kbl 18:20, 24; Ma 10:9; Yos 13:14, 33; 1Ko 9:13
Ma. 18:4Kuv 23:19; Kbl 18:8, 12; 2By 31:4; Nek 12:44
Ma. 18:5Kuv 28:1; Kbl 3:10; Ma 10:8
Ma. 18:6Kbl 35:2
Ma. 18:6Ma 12:5, 6; 16:2; Zb 26:8
Ma. 18:72By 31:2
Ma. 18:8Lev 7:10
Ma. 18:9Lev 18:26; Ma 12:30
Ma. 18:10Ma 12:31; 2Sk 16:1, 3; 2By 28:1, 3; Zb 106:35-37; Yer 32:35
Ma. 18:102Sk 17:17; Bik 16:16
Ma. 18:10Lev 19:26; Bik 19:19
Ma. 18:10Ezk 21:21
Ma. 18:10Kuv 22:18
Ma. 18:11Lev 20:27; 1By 10:13
Ma. 18:11Lev 19:31
Ma. 18:111Sa 28:7-11; Is 8:19; Bag 5:19, 20
Ma. 18:13Mat 5:48; 2Pe 3:14
Ma. 18:14Lev 19:26; 2Sk 21:1, 2, 6
Ma. 18:14Yos 13:22
Ma. 18:15Lub 49:10; Kbl 24:17; Luk 7:16; Yok 1:45; 6:14; Bik 3:22; 7:37
Ma. 18:16Kuv 19:17
Ma. 18:16Kuv 20:19
Ma. 18:18Kuv 34:28; Kbl 12:3; Mat 4:1, 2; 11:29; Yok 5:46
Ma. 18:18Yok 17:8
Ma. 18:18Yok 12:49; Beb 1:2
Ma. 18:19Bik 3:23
Ma. 18:20Ma 13:1-5; Yer 28:11-17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 18:1-22

Ekyamateeka

18 “Bakabona Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebajja kuweebwa na mugabo oba obusika mu Isirayiri. Banaalyanga ebiweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, banaalyanga omugabo gwe.+ 2 Tebalifuna busika mu baganda baabwe. Yakuwa bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.

3 “Guno gwe gunaabanga omugabo gwa bakabona okuva mu bantu: Buli anaawangayo ssaddaaka, k’ebe ya nte oba ya ndiga, anaawanga kabona omukono, emba zombi, n’ebyenda. 4 Onoomuwanga+ ebibereberye eby’emmere yo ey’empeke, n’eby’omwenge gwo omusu, n’eby’amafuta go, n’ebyoya ebinaasookanga okusalibwa ku ndiga zo. 5 Yakuwa Katonda wo amulonze ye ne batabani be mu bika byo byonna okuweereza bulijjo mu linnya lya Yakuwa.+

6 “Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo mu Isirayiri mw’abadde abeera,+ n’ayagala okugenda mu kifo Yakuwa ky’aneeroboza,*+ 7 naye anaaweererezanga eyo mu linnya lya Yakuwa Katonda we nga baganda be bonna Abaleevi abali eyo mu maaso ga Yakuwa bwe bakola.+ 8 Anaafunanga omugabo gw’emmere gwe gumu ng’ogwa banne,+ okugatta ku ssente z’anaabanga afunye mu kutunda ebintu bye yafuna ku bajjajjaabe.

9 “Bw’onootuuka mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, toyiganga okukola eby’omuzizo amawanga ago bye gakola.+ 10 Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna ayokya* mutabani we oba muwala we mu muliro,+ oba akola eby’obulaguzi,+ oba akola eby’obufumu,+ oba anoonya obubonero okulagulwa,+ oba omusamize,+ 11 oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale,+ oba alagula ebiribaawo mu maaso,+ oba eyeebuuza ku bafu.+ 12 Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa amukyayira ddala, era olw’eby’omuzizo ebyo Yakuwa Katonda wo kyava agoba amawanga ago mu maaso go. 13 Tobangako kya kunenyezebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+

14 “Amawanga ago ge mugenda okuwangula gaawulirizanga abakola eby’obufumu+ n’abalaguzi,+ naye ggwe Yakuwa Katonda wo takukkirizza kukola bintu ng’ebyo. 15 Yakuwa Katonda wo alikuwa nnabbi okuva mu baganda bo alinga nze. Omuwulirizanga.+ 16 Ekyo kiriba kityo olw’ebyo bye wasaba Yakuwa Katonda wo e Kolebu ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana,+ bwe wagamba nti, ‘Ka nneme kuwulira nate ddoboozi lya Yakuwa Katonda wange, era ka nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.’+ 17 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Kye bagambye kirungi. 18 Ndibawa nnabbi okuva mu baganda baabwe alinga ggwe,+ nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke,+ era alibategeeza byonna bye ndimulagira.+ 19 Omuntu ataliwuliriza bigambo byange by’alyogera mu linnya lyange, ndimuvunaana.+

20 “‘Nnabbi yenna bw’aneetulinkirizanga n’ayogera mu linnya lyange ekigambo kye simulagidde, oba n’ayogera mu linnya lya bakatonda abalala, nnabbi oyo attibwanga.+ 21 Naye oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti: “Tunaamanyanga tutya nti ekigambo ekyo Yakuwa si y’akyogedde?” 22 Nnabbi bw’ayogeranga mu linnya lya Yakuwa ekigambo ne kitabaawo oba ne kitatuukirira, ekigambo ekyo Yakuwa si y’aba yakyogera. Nnabbi oyo aba yeetulinkiriza okukyogera. Tomutyanga.’

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share