LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amateeka agakwata ku biweebwayo (1-21)

        • Bannansi n’abagwira ba kuweebwa amateeka ge gamu (15, 16)

      • Ebiweebwayo abo abakola ebibi mu butanwa (22-29)

      • Ekibonerezo ky’abo abakola ebibi mu bugenderevu (30, 31)

      • Eyamenya etteeka lya Ssabbiiti attibwa (32-36)

      • Engoye zirina okuteekebwako ebijwenge (37-41)

Okubala 15:2

Marginal References

  • +Lub 15:18

Okubala 15:3

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Lev 1:2, 3
  • +Lev 7:16; 22:18, 19, 21
  • +Lev 23:4; Kbl 28:16; 29:1; Ma 16:13, 16
  • +Lev 1:9

Okubala 15:4

Footnotes

  • *

    Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.

  • *

    Yini yali yenkana lita 3.67. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 29:40; Lev 2:1, 11

Okubala 15:5

Marginal References

  • +Kbl 28:6, 7, 11, 14

Okubala 15:7

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Okubala 15:8

Marginal References

  • +Lev 1:3
  • +Lev 7:16
  • +Lev 3:1, 3; 7:11

Okubala 15:9

Marginal References

  • +Lev 6:14; Kbl 28:11, 12; 29:6

Okubala 15:10

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Kbl 28:11, 14

Okubala 15:13

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Okubala 15:14

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 9:14

Okubala 15:15

Marginal References

  • +Lev 19:34

Okubala 15:19

Marginal References

  • +Yos 5:11, 12

Okubala 15:20

Footnotes

  • *

    Obugaati buno bwabangamu ekituli.

Marginal References

  • +Kuv 23:19; Lev 2:14; Kbl 18:8, 12; Ma 26:1, 2; Nge 3:9

Okubala 15:24

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Kbl 15:8-10
  • +Kbl 28:15

Okubala 15:25

Marginal References

  • +Lev 4:20; Beb 2:17; 1Yo 2:1, 2

Okubala 15:27

Marginal References

  • +Lev 4:27, 28

Okubala 15:28

Marginal References

  • +Lev 4:32, 35

Okubala 15:29

Marginal References

  • +Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 9:14; 15:15

Okubala 15:30

Marginal References

  • +Kuv 21:14; Ma 17:12; Beb 10:26, 27

Okubala 15:31

Marginal References

  • +Beb 10:28
  • +Ezk 18:20

Okubala 15:32

Marginal References

  • +Kuv 20:9, 10; 35:2; Ma 5:13, 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2022, lup. 2-3

Okubala 15:34

Marginal References

  • +Lev 24:11, 12

Okubala 15:35

Marginal References

  • +Kuv 31:14
  • +Lev 24:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    2/2022, lup. 2-3

Okubala 15:38

Marginal References

  • +Ma 22:12; Mat 23:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 12

    8/1/2004, lup. 31

    8/1/2003, lup. 13

Okubala 15:39

Marginal References

  • +Ma 11:18
  • +Kuv 34:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 12-13

    8/1/2003, lup. 13

Okubala 15:40

Marginal References

  • +Lev 11:44; Bar 12:1; 1Pe 1:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2003, lup. 13

Okubala 15:41

Marginal References

  • +Lub 17:8; Kuv 29:45; Lev 25:38
  • +Kuv 3:15; 6:2, 3

General

Kubal. 15:2Lub 15:18
Kubal. 15:3Lev 1:2, 3
Kubal. 15:3Lev 7:16; 22:18, 19, 21
Kubal. 15:3Lev 23:4; Kbl 28:16; 29:1; Ma 16:13, 16
Kubal. 15:3Lev 1:9
Kubal. 15:4Kuv 29:40; Lev 2:1, 11
Kubal. 15:5Kbl 28:6, 7, 11, 14
Kubal. 15:8Lev 1:3
Kubal. 15:8Lev 7:16
Kubal. 15:8Lev 3:1, 3; 7:11
Kubal. 15:9Lev 6:14; Kbl 28:11, 12; 29:6
Kubal. 15:10Kbl 28:11, 14
Kubal. 15:14Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 9:14
Kubal. 15:15Lev 19:34
Kubal. 15:19Yos 5:11, 12
Kubal. 15:20Kuv 23:19; Lev 2:14; Kbl 18:8, 12; Ma 26:1, 2; Nge 3:9
Kubal. 15:24Kbl 15:8-10
Kubal. 15:24Kbl 28:15
Kubal. 15:25Lev 4:20; Beb 2:17; 1Yo 2:1, 2
Kubal. 15:27Lev 4:27, 28
Kubal. 15:28Lev 4:32, 35
Kubal. 15:29Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 9:14; 15:15
Kubal. 15:30Kuv 21:14; Ma 17:12; Beb 10:26, 27
Kubal. 15:31Beb 10:28
Kubal. 15:31Ezk 18:20
Kubal. 15:32Kuv 20:9, 10; 35:2; Ma 5:13, 14
Kubal. 15:34Lev 24:11, 12
Kubal. 15:35Kuv 31:14
Kubal. 15:35Lev 24:14
Kubal. 15:38Ma 22:12; Mat 23:5
Kubal. 15:39Ma 11:18
Kubal. 15:39Kuv 34:15
Kubal. 15:40Lev 11:44; Bar 12:1; 1Pe 1:15
Kubal. 15:41Lub 17:8; Kuv 29:45; Lev 25:38
Kubal. 15:41Kuv 3:15; 6:2, 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 15:1-41

Okubala

15 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mulituuka mu nsi gye mbawa okubeeramu,+ 3 ne mubaako ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye muwaayo eri Yakuwa, okuva mu ggana oba mu kisibo, ka kibe ekiweebwayo ekyokebwa+ nga kiramba oba ssaddaaka gye muwaayo nga muliko obweyamo obw’enjawulo bwe mukola, oba ekiweebwayo ekya kyeyagalire,+ oba ekiweebwayo kye muwaayo nga mukwata embaga zammwe,+ musobole okunyookerereza Yakuwa+ evvumbe eddungi,* 4 oyo anaaleetanga ekiweebwayo kye, era anaaleetanga eri Yakuwa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse+ obutabuddwamu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta g’ezzeyituuni. 5 Bw’onoowangayo ekiweebwayo ekyokebwa+ oba ssaddaaka ey’endiga ento ennume, onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kuna ekya yini. 6 Bw’onoowangayo endiga enkulu ennume, onoowangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, bibiri bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kusatu ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni. 7 Era onooleetanga omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kusatu ekya yini, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.

8 “‘Naye bw’onoowangayo ente ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ oba nga ssaddaaka ng’oliko obweyamo obw’enjawulo+ bw’okola, oba nga ssaddaaka ez’emirembe eri Yakuwa,+ 9 ente eyo ennume onoogiweerangayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ bisatu bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kubiri ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni. 10 Era onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ kimu kya kubiri ekya yini, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa. 11 Bw’otyo bw’onookolanga ng’owaayo buli nte ennume oba buli ndiga enkulu ennume oba buli ndiga ento ennume oba buli mbuzi. 12 Ng’omuwendo gw’ensolo ze munaawangayo bwe gunaabanga, n’ebigenderako bwe binaabanga. 13 Buli Muyisirayiri bw’atyo bw’anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.

14 “‘Era n’omugwira atuula mu mmwe oba oyo abadde mu mmwe okumala ekiseera ekiwanvu, bw’anaabanga awaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa, anaakoleranga ddala nga nammwe bwe mukola.+ 15 Mmwe ab’omu kibiina n’omugwira atuula mu mmwe mujja kuba n’etteeka limu. Lijja kuba tteeka lya lubeerera eri emirembe gyammwe gyonna. Mmwe n’omugwira mujja kuba mwenkanankana mu maaso ga Yakuwa.+ 16 Wanaabangawo etteeka limu n’ekiragiro kimu gye muli n’eri omugwira atuula mu mmwe.’”

17 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 18 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mutuukanga mu nsi gye mbatwala, 19 ne mulya ku mmere ey’omu nsi eyo,+ mubangako kye muwaayo eri Yakuwa. 20 Munaawangayo ku buwunga obulimu empulunguse bwe munaasookanga+ okusekula, nga mubukozeemu obugaati obwetooloovu.* Munaabuwangayo nga bwe muwaayo eby’omu gguuliro. 21 Mu mirembe gyammwe gyonna munaawangayo eri Yakuwa ku buwunga bwammwe obulimu empulunguse obw’emmere eneesookanga okukungulwa.

22 “‘Bwe munaakolanga ensobi ne mutakwata biragiro bino byonna Yakuwa by’agambye Musa, 23 ebyo byonna Yakuwa by’abalagidde ng’ayitira mu Musa, okuviira ddala ku lunaku Yakuwa lw’abibalagidde n’okweyongerayo mu mirembe gyammwe gyonna, 24 ensobi eyo bw’eneebanga ekoleddwa mu butali bugenderevu era ekibiina ne kitamanya, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu ento ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa eky’evvumbe eddungi* eri Yakuwa, n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri,+ era kinaawangayo n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi.+ 25 Kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era ensobi eyo eneebasonyiyibwanga,+ kubanga ensobi eyo yakolebwa mu butali bugenderevu, ate nga banaabanga bawaddeyo ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro n’ekiweebwayo olw’ekibi mu maaso ga Yakuwa olw’ensobi yaabwe. 26 Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era n’omugwira atuula mu bo banaasonyiyibwanga ensobi eyo, kubanga abantu bonna banaabanga bagikoze mu butali bugenderevu.

27 “‘Omuntu yenna bw’anaayonoonanga mu butali bugenderevu, anaaleetanga embuzi enkazi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi.+ 28 Kabona anaatangiriranga omuntu eyakola ensobi n’ayonoona mu butali bugenderevu mu maaso ga Yakuwa, ekibi kye kisobole okutangirirwa era kinaamusonyiyibwanga.+ 29 Eri Omuyisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo, wanaabangawo etteeka limu gye muli ku bikwata ku kwonoona mu butali bugenderevu.+

30 “‘Naye omuntu anaayonoonanga mu bugenderevu,+ k’abe Muyisirayiri oba mugwira, anaabanga avvodde Yakuwa, era anattibwanga n’aggibwa mu bantu be. 31 Olw’okuba anaabanga anyoomye ekigambo kya Yakuwa era ng’amenye ekiragiro kye, omuntu oyo anattibwanga.+ Ensobi ye eneebanga ku ye.’”+

32 Lwali lumu ng’Abayisirayiri bali mu ddungu, ne wabaawo abaasanga omusajja ng’alonderera obuku ku lunaku lwa Ssabbiiti.+ 33 Abo abaamusanga ng’alonderera obuku baamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna. 34 Ne babaako we bamukuumira+ kubanga eky’okumukolera kyali tekirambikiddwa mu mateeka.

35 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omusajja oyo attibwe.+ Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.”+ 36 Awo ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.

37 Yakuwa n’ayongera n’agamba Musa nti: 38 “Gamba Abayisirayiri bateekenga ebijwenge ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekenga akaguwa aka bbulu waggulu w’olukugiro oluliko ebijwenge.+ 39 ‘Munaabanga n’enkugiro ezo eziriko ebijwenge, musobole okuzirabanga mujjukire ebiragiro bya Yakuwa byonna era mubikwate.+ Temugobereranga mitima gyammwe na maaso gammwe ebibaleetera okwenda mu by’omwoyo.+ 40 Kino kijja kubayamba okujjukira ebiragiro byange byonna era mubikwate, mubeere batukuvu eri Katonda wammwe.+ 41 Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri nkirage nti nze Katonda wammwe.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share