2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
19 Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe+ mu nnyumba ye* e Yerusaalemi. 2 Yeeku+ mutabani wa Kanani+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda n’agenda okusisinkana Kabaka Yekosafaati n’amugamba nti: “Ababi b’osaanidde okuyamba,+ era abo abakyawa Yakuwa b’osaanidde okwagala?+ Olw’ensonga eno Yakuwa akusunguwalidde. 3 Kyokka Katonda akulabyemu ebirungi,+ kubanga waggya mu nsi ebikondo ebisinzibwa* era wateekateeka omutima gwo* okunoonya Katonda ow’amazima.”+
4 Awo Yekosafaati ne yeeyongera okubeera mu Yerusaalemi era n’addamu okugenda eri abantu, okuva e Beeru-seba okutuuka mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi,+ abakomyewo eri Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+ 5 N’ateeka abalamuzi mu nsi yonna mu bibuga bya Yuda byonna ebyaliko bbugwe, mu bibuga kinnakimu.+ 6 N’agamba abalamuzi nti: “Mufeeyo nnyo ku ebyo bye mukola, kubanga temulamulira muntu wabula mulamulira Yakuwa, era ali wamu nammwe mu kusala emisango.+ 7 Entiisa ya Yakuwa k’ebabeereko.+ Mwegendereze bye mukola, kubanga Yakuwa Katonda waffe takola bitali bya bwenkanya,+ tasaliriza,+ era talya nguzi.”+
8 Ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yateekamu abamu ku Baleevi, n’abamu ku bakabona, n’abamu ku bakulu b’ennyumba mu Isirayiri okulamula mu linnya lya Yakuwa n’okusala emisango gy’abantu b’omu Yerusaalemi.+ 9 Ate era yabalagira nti: “Bwe muti bwe muba mukola mu kutya Yakuwa, nga muba beesigwa era nga muba n’omutima ogutuukiridde: 10 Baganda bammwe abali mu bibuga byabwe buli lwe banaaleetanga gye muli omusango ogukwata ku kuyiwa omusaayi+ oba ekibuuzo ekikwata ku tteeka oba ku kiragiro oba ku nnamula, mubalabulenga baleme kubaako musango mu maaso ga Yakuwa; bwe mutaakole bwe mutyo, obusungu bwe bujja kubabuubuukira mmwe ne baganda bammwe. Ekyo kye mubanga mukola muleme kubaako musango. 11 Era Amaliya kabona omukulu y’abakulira mu nsonga zonna ezikwata ku Yakuwa.+ Zebadiya mutabani wa Isimayiri ye mukulu w’ennyumba ya Yuda mu nsonga zonna ezikwata ku kabaka. Abaleevi banaaweerezanga ng’abalabirizi bammwe. Mube bavumu mukole emirimu n’obunyiikivu, era Yakuwa k’abeere n’abo abakola ebirungi.”+