1 Ebyomumirembe Ekisooka
25 Ate era Dawudi n’abakulu b’ebibinja by’obuweereza ne balonda abamu ku baana ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni+ baweereze nga boogera eby’obunnabbi nga bakubirako entongooli n’ebivuga eby’enkoba+ n’ebitaasa.+ Olukalala lw’abo abeenyigira mu buweereza obwo lwe luno: 2 Ku baana ba Asafu: Zakkuli, Yusufu, Nesaniya, ne Asalera. Abaana ba Asafu abo baali wansi w’obulagirizi bwa Asafu eyayogeranga eby’obunnabbi ng’ali wansi w’obulagirizi bwa kabaka. 3 Ku ba Yedusuni:+ Gedaliya, Zeri, Yesukaya, Simeeyi, Kasukabiya, ne Mattisiya;+ abaana ba Yedusuni abo omukaaga baali wansi w’obulagirizi bwa kitaabwe Yedusuni eyayogeranga eby’obunnabbi ng’akubirako entongooli okwebaza n’okutendereza Yakuwa.+ 4 Ku ba Kemani,+ abaana ba Kemani be bano: Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, Yerimosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, Lomamutyezeri, Yosubekasa, Malosi, Kosiri, ne Makaziyoosi. 5 Abo bonna baali baana ba Kemani eyategeezanga kabaka okwolesebwa okwavanga eri Katonda okukwata ku bintu bya Katonda ow’amazima okumuweesa ekitiibwa;* era Katonda ow’amazima yawa Kemani abaana ab’obulenzi kkumi na bana n’ab’obuwala basatu. 6 Abo bonna baali wansi w’obulagirizi bwa kitaabwe mu kuyimba okw’oku nnyumba ya Yakuwa nga bakuba ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli,+ era nga gwe mulimu gwe baakolanga ku nnyumba ya Katonda ow’amazima.
Asafu, Yedusuni, ne Kemani baali wansi w’obulagirizi bwa kabaka.
7 Abo bonna awamu ne baganda baabwe abaatendekebwa okuyimbira Yakuwa, baali 288, era bonna baali bakugu. 8 Baakuba obululu+ okuweebwa emirimu gye baalina okukola, era ng’atali wa kitiibwa ali kye kimu n’ow’ekitiibwa, ng’omukugu ali kye kimu n’omuyiga.
9 Akalulu akasooka kaagwa ku Yusufu+ mutabani wa Asafu, ak’okubiri ku Gedaliya+ (ye ne baganda be ne batabani be baali 12); 10 ak’okusatu ku Zakkuli,+ batabani be ne baganda be, 12; 11 ak’okuna ku Izuli, batabani be ne baganda be, 12; 12 ak’okutaano ku Nesaniya,+ batabani be ne baganda be, 12; 13 ak’omukaaga ku Bukkiya, batabani be ne baganda be, 12; 14 ak’omusanvu ku Yesalera, batabani be ne baganda be, 12; 15 ak’omunaana ku Yesukaya, batabani be ne baganda be, 12; 16 ak’omwenda ku Mattaniya, batabani be ne baganda be, 12; 17 ak’ekkumi ku Simeeyi, batabani be ne baganda be, 12; 18 ak’ekkumi n’akamu ku Azaleri, batabani be ne baganda be, 12; 19 ak’ekkumi n’obubiri ku Kasukabiya, batabani be ne baganda be, 12; 20 ak’ekkumi n’obusatu ku Subayeri,+ batabani be ne baganda be, 12; 21 ak’ekkumi n’obuna ku Mattisiya, batabani be ne baganda be, 12; 22 ak’ekkumi n’obutaano ku Yeremosi, batabani be ne baganda be, 12; 23 ak’ekkumi n’omukaaga ku Kananiya, batabani be ne baganda be, 12; 24 ak’ekkumi n’omusanvu ku Yosubekasa, batabani be ne baganda be, 12; 25 ak’ekkumi n’omunaana ku Kanani, batabani be ne baganda be, 12; 26 ak’ekkumi n’omwenda ku Malosi, batabani be ne baganda be, 12; 27 ak’abiri ku Eriyaasa, batabani be ne baganda be, 12; 28 ak’abiri mu akamu ku Kosiri, batabani be ne baganda be, 12; 29 ak’abiri mu obubiri ku Giddaluti,+ batabani be ne baganda be, 12; 30 ak’abiri mu obusatu ku Makaziyoosi,+ batabani be ne baganda be, 12; 31 ak’abiri mu obuna ku Lomamutyezeri,+ batabani be ne baganda be, 12.