LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Akazi, kabaka wa Yuda (1-4)

      • Awangulwa Busuuli ne Isirayiri (5-8)

      • Odedi alabula Isirayiri (9-15)

      • Yuda etoowazibwa (16-19)

      • Akazi asinza ebifaananyi; afa (20-27)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:1

Marginal References

  • +Kos 1:1; Mi 1:1; Mat 1:9
  • +2Sk 16:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

Marginal References

  • +1Sk 12:26, 28; 16:33
  • +Kuv 34:17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:3

Footnotes

  • *

    Laba Awanny., “Ggeyeena.”

Marginal References

  • +2By 33:1, 6; Yer 7:31
  • +Ma 12:31

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:4

Marginal References

  • +Lev 26:30
  • +Is 57:4, 5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:5

Marginal References

  • +2Sk 16:5, 6; 2By 24:24
  • +2Sa 8:6; 1By 18:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:6

Marginal References

  • +2Sk 15:37; Is 7:1
  • +2By 15:2; Zb 73:27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:7

Footnotes

  • *

    Obut., “ennyumba.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:8

Marginal References

  • +1Sk 16:23, 24; 22:51

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:9

Marginal References

  • +Bal 2:14; 3:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:10

Marginal References

  • +Lev 25:39, 46; 2By 8:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:14

Marginal References

  • +2By 28:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:16

Marginal References

  • +2Sk 16:7, 8; Is 7:10-12

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:18

Marginal References

  • +2By 26:1, 6
  • +2By 26:10
  • +Yos 15:10, 12
  • +2By 11:10
  • +Bal 14:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:20

Marginal References

  • +2Sk 15:29; 16:7, 8; 1By 5:26
  • +2Sk 17:5; Is 7:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:21

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri.”

Marginal References

  • +2Sk 18:15, 16; 2By 12:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:23

Marginal References

  • +2By 25:14
  • +2Sk 16:10-13
  • +Yer 44:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:24

Marginal References

  • +2Sk 16:17
  • +1Sk 6:33, 34; 2By 29:7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:25

Marginal References

  • +1Sk 14:22, 23; 2Sk 15:32, 35; 2By 21:5, 11; 33:1, 3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:26

Marginal References

  • +2Sk 16:19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:27

Marginal References

  • +2By 21:16, 20; 33:20

General

2 Byom. 28:1Kos 1:1; Mi 1:1; Mat 1:9
2 Byom. 28:12Sk 16:2
2 Byom. 28:21Sk 12:26, 28; 16:33
2 Byom. 28:2Kuv 34:17
2 Byom. 28:32By 33:1, 6; Yer 7:31
2 Byom. 28:3Ma 12:31
2 Byom. 28:4Lev 26:30
2 Byom. 28:4Is 57:4, 5
2 Byom. 28:52Sk 16:5, 6; 2By 24:24
2 Byom. 28:52Sa 8:6; 1By 18:5
2 Byom. 28:62Sk 15:37; Is 7:1
2 Byom. 28:62By 15:2; Zb 73:27
2 Byom. 28:81Sk 16:23, 24; 22:51
2 Byom. 28:9Bal 2:14; 3:8
2 Byom. 28:10Lev 25:39, 46; 2By 8:9
2 Byom. 28:142By 28:8
2 Byom. 28:162Sk 16:7, 8; Is 7:10-12
2 Byom. 28:182By 26:1, 6
2 Byom. 28:182By 26:10
2 Byom. 28:18Yos 15:10, 12
2 Byom. 28:182By 11:10
2 Byom. 28:18Bal 14:1
2 Byom. 28:202Sk 15:29; 16:7, 8; 1By 5:26
2 Byom. 28:202Sk 17:5; Is 7:20
2 Byom. 28:212Sk 18:15, 16; 2By 12:9
2 Byom. 28:232By 25:14
2 Byom. 28:232Sk 16:10-13
2 Byom. 28:23Yer 44:18
2 Byom. 28:242Sk 16:17
2 Byom. 28:241Sk 6:33, 34; 2By 29:7
2 Byom. 28:251Sk 14:22, 23; 2Sk 15:32, 35; 2By 21:5, 11; 33:1, 3
2 Byom. 28:262Sk 16:19
2 Byom. 28:272By 21:16, 20; 33:20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:1-27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

28 Akazi+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 20, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Teyakola birungi mu maaso ga Yakuwa nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.+ 2 Naye yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri,+ era n’akola n’ebifaananyi bya Babbaali eby’ekyuma.*+ 3 Yanyookereza omukka gwa ssaddaaka mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu* era n’ayokya abaana be mu muliro+ ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 4 Ate era yawangayo ssaddaaka era n’anyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebigulumivu+ ne ku busozi ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi.+

5 Yakuwa Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka wa Busuuli,+ ne bamuwangula era ne bawamba abantu bangi ne babatwala e Ddamasiko.+ Era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyatta abantu be bangi. 6 Peka+ mutabani wa Lemaliya yatta abantu 120,000 mu Yuda ku lunaku lumu, nga bonna basajja bazira, kubanga baali balese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+ 7 Ne Zikuli omulwanyi ow’omu Efulayimu yatta Maaseya mutabani wa kabaka ne Azulikamu eyali alabirira olubiri* ne Erukaana eyali addirira kabaka. 8 Ate era abaana ba Isirayiri baawamba baganda baabwe 200,000—abakazi, n’abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala; baanyaga n’ebintu bingi ne babitwala e Samaliya.+

9 Naye waaliwo nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Odedi eyagenda eri eggye eryali likomawo e Samaliya n’abagamba nti: “Olw’okuba Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mukono gwammwe+ era mubasse n’obusungu obutumbidde okutuuka mu ggulu. 10 Kaakano abantu ba Yuda n’aba Yerusaalemi mwagala kubafuula baweereza bammwe abasajja n’abakazi.+ Naye nammwe temuliiko musango mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe? 11 Kaakano mumpulirize muzzeeyo abantu be muwambye ku baganda bammwe, kubanga Yakuwa abasunguwalidde nnyo.”

12 Awo abamu ku baami b’Abeefulayimu, Azaliya mutabani wa Yekokanani, Berekiya mutabani wa Mesiremoosi, Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bagenda eri abo abaali bava okulwana, 13 ne babagamba nti: “Temuleeta wano bawambe kubanga kijja kutuleetako omusango mu maaso ga Yakuwa. Ekyo kye mwagala okukola kijja kwongera ku bibi byaffe ne ku musango gwe tulina; kubanga omusango gwe tulina munene era Isirayiri esunguwaliddwa.” 14 Awo abasirikale abaalina eby’okulwanyisa ne bawaayo abawambe n’omunyago+ eri abaami n’ekibiina kyonna. 15 Awo abasajja abaali balondeddwa ne bayimuka ne batwala abawambe; abo bonna abaali obwereere ne babawa engoye nga bazitoola ku munyago. Baabambaza ne babawa n’engatto n’eby’okulya n’eby’okunywa n’amafuta ag’okwesiiga. Ate era abo bonna abaali banafuye baabateeka ku ndogoyi ne babatwala eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu. Oluvannyuma bo ne baddayo e Samaliya.

16 Mu kiseera ekyo Kabaka Akazi n’asaba bakabaka ba Bwasuli bamuyambe.+ 17 Era Abeedomu baddamu okulumba Yuda ne bawamba abantu ne babatwala. 18 Abafirisuuti+ nabo baalumba ebibuga eby’omu Sefera+ ne mu Negebu ebya Yuda ne bawamba Besu-semesi+ ne Ayalooni+ ne Gederosi ne Soko n’obubuga obukyetoolodde ne Timuna+ n’obubuga obukyetoolodde ne Gimuzo n’obubuga obukyetoolodde; ne batandika okubibeeramu. 19 Yakuwa yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isirayiri olw’okuba yaleka abantu ba Yuda okweyisa nga bwe baagala, ne kibaviirako obutaba beesigwa n’akamu eri Yakuwa.

20 Awo Tirugasu-piruneseri kabaka wa Bwasuli+ n’amulumba n’amulabya ennaku+ mu kifo ky’okumuyamba. 21 Akazi yali yaggya ebintu mu nnyumba ya Yakuwa ne mu nnyumba* ya kabaka+ ne mu nnyumba z’abaami, n’abiwa kabaka wa Bwasuli ng’ekirabo, naye ekyo tekyamuyamba. 22 Kyokka ne mu kiseera mwe yalabira ennaku, Kabaka Akazi yeeyongera bweyongezi butaba mwesigwa eri Yakuwa. 23 Yatandika n’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko+ abaamuwangula,+ n’agamba nti: “Olw’okuba bakatonda ba bakabaka ba Busuuli babayamba, nange nja kuwaayo ssaddaaka gye bali bannyambe.”+ Naye baamuviirako ye ne Isirayiri yonna okwesittala. 24 Ate era Akazi yakuŋŋaanya ebintu ebyakozesebwanga mu nnyumba ya Katonda ow’amazima n’abitemaatema;+ n’aggala enzigi z’ennyumba ya Yakuwa,+ era ne yeekolera ebyoto mu makoona gonna ag’enguudo z’omu Yerusaalemi. 25 Era yazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda byonna okunyookererezangamu omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala,+ bw’atyo n’anyiiza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe.

26 Ebyafaayo bye ebirala, ebintu byonna bye yakola okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, biwandiikiddwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri.+ 27 Awo Akazi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga Yerusaalemi, naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka ba Isirayiri.+ Keezeekiya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share