Isaaya
62 Sirisirika ku lwa Sayuuni,+
Era siriyimirira buyimirizi ku lwa Yerusaalemi
Okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulyaka ng’ekitangaala eky’amaanyi,+
N’obulokozi bwe lwe bulyaka ng’omumuli.+
Era oliyitibwa erinnya eppya,+
Akamwa ka Yakuwa lye kalikutuuma.
3 Olifuuka engule ennungi mu mukono gwa Yakuwa,
Ekiremba ky’obwakabaka mu ngalo za Katonda wo.
Naye oliyitibwa, “Essanyu Lyange Liri mu Ye,”+
Era ensi yo eriyitibwa, “Oyo Eyafumbirwa.”
Kubanga oliba osanyusa Yakuwa,
N’ensi yo eriba ng’oyo eyafumbirwa.
5 Ng’omuvubuka bw’awasa omuwala embeerera,
Abaana bo balikuwasa.
Ng’omugole omusajja bw’asanyukira omugole omukazi,
Bw’atyo Katonda wo bw’alikusanyukira.+
6 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi.
Tebalina kusirika emisana n’ekiro.
Mmwe aboogera ku Yakuwa,
Temuwummula,
7 Temumuganya kuwummula okutuusa lw’alinyweza Yerusaalemi,
Okutuusa lw’alimufuula ettendo ly’ensi.”+
8 Yakuwa yawanika omukono gwe ogwa ddyo, omukono gwe ogw’amaanyi, n’alayira ng’agamba nti:
“Siriddamu kuwa balabe bo mmere yo ey’empeke,
Era abagwira tebalinywa mwenge gwo omusu gw’oteganidde.+
9 Naye abo abagikuŋŋaanya be baligirya, era balitendereza Yakuwa;
Era abo abagukuŋŋaanya baligunywera mu mpya zange entukuvu.”+
10 Muyite mu miryango.
Mulongooseze abantu ekkubo.+
Muzimbe oluguudo.
Muluggyeemu amayinja.+
Muwanikire amawanga akabonero.*+
11 Laba! Yakuwa akirangiridde mu nsi yonna nti:
“Mugambe muwala wa Sayuuni nti,
‘Laba! Obulokozi bwo bujja.+
Laba! Empeera ye agirina,
Era empeera gy’asasula eri mu maaso ge.’”+