LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 44
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Emikisa abantu ba Katonda abaalondebwa gye banaafuna (1-5)

      • Teri Katonda mulala okuggyako Yakuwa (6-8)

      • Ebifaananyi ebikolebwa abantu tebirina mugaso (9-20)

      • Yakuwa, Omununuzi wa Isirayiri (21-23)

      • Okukomezebwawo Kuulo (24-28)

Isaaya 44:1

Marginal References

  • +Lub 17:1, 7; 35:10, 11; Is 41:8

Isaaya 44:2

Footnotes

  • *

    Oba, “okuviira ddala lwe wazaalibwa.”

  • *

    Kitegeeza, “Omugolokofu.” Kino kitiibwa ekikozesebwa ku Isirayiri.

Marginal References

  • +Is 43:1; 44:21
  • +Is 41:10; Yer 30:10
  • +Ma 32:15; 33:5, 26

Isaaya 44:3

Footnotes

  • *

    Oba, “ku nsi erumwa ennyonta.”

Marginal References

  • +Is 41:17
  • +Is 32:14, 15

Isaaya 44:4

Marginal References

  • +Is 61:11

Isaaya 44:5

Marginal References

  • +Zek 13:9

Isaaya 44:6

Marginal References

  • +Ma 33:5; Is 33:22
  • +Kuv 6:6; Yer 50:34
  • +Is 41:4; 48:12; Kub 22:13
  • +Ma 4:35, 39; Is 43:10

Isaaya 44:7

Marginal References

  • +Is 46:9
  • +Is 43:9; 45:21

Isaaya 44:8

Marginal References

  • +Is 41:10
  • +Is 43:10
  • +Ma 32:4; 2Sa 22:32

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 6

Isaaya 44:9

Marginal References

  • +Bal 10:14; 1Sk 18:26; 1Ko 8:4
  • +Zb 115:4, 5
  • +Yer 51:17

Isaaya 44:10

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

Marginal References

  • +Yer 10:5; Bik 19:26

Isaaya 44:11

Marginal References

  • +1Sa 5:3, 7

Isaaya 44:12

Marginal References

  • +Is 40:19; 41:7; 46:6

Isaaya 44:13

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ssabo.”

Marginal References

  • +Kuv 20:4; Ma 4:15, 16; Bik 17:29
  • +Ma 27:15

Isaaya 44:14

Marginal References

  • +Is 40:20; Yer 10:3

Isaaya 44:15

Marginal References

  • +Kuv 20:4, 5; Lev 26:1; Kab 2:18, 19

Isaaya 44:17

Marginal References

  • +Is 37:37, 38; 45:20; 46:7

Isaaya 44:18

Marginal References

  • +Yer 10:8, 14; Bar 1:21-23

Isaaya 44:19

Marginal References

  • +Ma 27:15

Isaaya 44:21

Marginal References

  • +Is 43:1; 44:1
  • +Is 49:15

Isaaya 44:22

Marginal References

  • +Zb 51:1; 103:12; Is 1:18; 43:25; Yer 33:8; Bik 3:19
  • +Is 1:27; 48:20; 59:20

Isaaya 44:23

Marginal References

  • +Is 49:13; 55:12
  • +Is 60:21

Isaaya 44:24

Marginal References

  • +Is 44:6
  • +Yob 26:7; Is 40:22
  • +Is 42:5; 48:13

Isaaya 44:25

Footnotes

  • *

    Oba, “bwa bannabbi ab’obulimba.”

Marginal References

  • +Kos 9:7
  • +2Sa 15:31; Is 29:14

Isaaya 44:26

Marginal References

  • +Yos 23:14; Is 55:10, 11; Zek 1:6
  • +Zb 147:2
  • +Is 60:10
  • +Is 61:4

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 149

Isaaya 44:27

Marginal References

  • +Is 42:15; Yer 50:38; Kub 16:12

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 3

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 149

    Okumanya, lup. 18

Isaaya 44:28

Marginal References

  • +Ezr 1:1, 2; Is 41:25; 45:1; 46:11; Dan 10:1
  • +Is 48:14
  • +2By 36:22, 23; Ezr 6:3; Is 45:13

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 3

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 149

General

Is. 44:1Lub 17:1, 7; 35:10, 11; Is 41:8
Is. 44:2Is 43:1; 44:21
Is. 44:2Is 41:10; Yer 30:10
Is. 44:2Ma 32:15; 33:5, 26
Is. 44:3Is 41:17
Is. 44:3Is 32:14, 15
Is. 44:4Is 61:11
Is. 44:5Zek 13:9
Is. 44:6Ma 33:5; Is 33:22
Is. 44:6Kuv 6:6; Yer 50:34
Is. 44:6Is 41:4; 48:12; Kub 22:13
Is. 44:6Ma 4:35, 39; Is 43:10
Is. 44:7Is 46:9
Is. 44:7Is 43:9; 45:21
Is. 44:8Is 41:10
Is. 44:8Is 43:10
Is. 44:8Ma 32:4; 2Sa 22:32
Is. 44:9Bal 10:14; 1Sk 18:26; 1Ko 8:4
Is. 44:9Zb 115:4, 5
Is. 44:9Yer 51:17
Is. 44:10Yer 10:5; Bik 19:26
Is. 44:111Sa 5:3, 7
Is. 44:12Is 40:19; 41:7; 46:6
Is. 44:13Kuv 20:4; Ma 4:15, 16; Bik 17:29
Is. 44:13Ma 27:15
Is. 44:14Is 40:20; Yer 10:3
Is. 44:15Kuv 20:4, 5; Lev 26:1; Kab 2:18, 19
Is. 44:17Is 37:37, 38; 45:20; 46:7
Is. 44:18Yer 10:8, 14; Bar 1:21-23
Is. 44:19Ma 27:15
Is. 44:21Is 43:1; 44:1
Is. 44:21Is 49:15
Is. 44:22Zb 51:1; 103:12; Is 1:18; 43:25; Yer 33:8; Bik 3:19
Is. 44:22Is 1:27; 48:20; 59:20
Is. 44:23Is 49:13; 55:12
Is. 44:23Is 60:21
Is. 44:24Is 44:6
Is. 44:24Yob 26:7; Is 40:22
Is. 44:24Is 42:5; 48:13
Is. 44:25Kos 9:7
Is. 44:252Sa 15:31; Is 29:14
Is. 44:26Yos 23:14; Is 55:10, 11; Zek 1:6
Is. 44:26Zb 147:2
Is. 44:26Is 60:10
Is. 44:26Is 61:4
Is. 44:27Is 42:15; Yer 50:38; Kub 16:12
Is. 44:28Ezr 1:1, 2; Is 41:25; 45:1; 46:11; Dan 10:1
Is. 44:28Is 48:14
Is. 44:282By 36:22, 23; Ezr 6:3; Is 45:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 44:1-28

Isaaya

44 “Kaakano wuliriza ggwe Yakobo omuweereza wange,

Ggwe Isirayiri gwe nnalonda.+

 2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,

Oyo eyakutonda era eyakubumba,+

Azze akuyamba okuviira ddala lwe wava mu lubuto:*

‘Totya ggwe omuweereza wange Yakobo,+

Ggwe Yesuluni*+ gwe nnalonda.

 3 Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumwa ennyonta*+

N’obugga obukulukuta mu nsi enkalu.

Ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo+

N’emikisa gyange ku bazzukulu bo.

 4 Balimera ng’omuddo,+

Balimera ng’emiti emyalava ku mbalama z’obugga.

 5 Omu aligamba nti: “Ndi wa Yakuwa.”+

Omulala alyeyita erinnya lya Yakobo,

Ate omulala aliwandiika ku mukono gwe nti: “Ndi wa Yakuwa.”

Era alyetuuma erinnya lya Isirayiri.’

 6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,

Kabaka wa Isirayiri+ era Omununuzi we,+ Yakuwa ow’eggye:

‘Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.+

Teri Katonda mulala wabula nze.+

 7 Ani alinga nze?+

K’ayanukule mu ddoboozi ery’omwanguka, akyogere era akinkakase!+

Okuva lwe nnassaawo abantu ab’edda,

Ka boogere ebintu ebigenda okubaawo,

Era n’ebitannabaawo.

 8 Temutya,

Era temutekemuka.+

Buli omu ku mmwe saamubuulira nga bukyali era ne mmutegeeza?

Muli bajulirwa bange.+

Eriyo Katonda omulala okuggyako nze?

Nedda, teri Lwazi lulala;+ teriiyo lulala lwe mmanyi.’”

 9 Abo bonna abakola ebifaananyi ebyole tebaliiko kye bagasa,

N’ebintu byabwe bye baagala ennyo tebiriba na mugaso.+

Ebifaananyi byabwe be bajulirwa baabwe; tebiraba era tebirina kye bimanyi,+

N’olwekyo abo abaabikola baliswala.+

10 Ani ayinza okukola katonda, oba okuweesa ekifaananyi eky’ekyuma*

Ekitalina mugaso?+

11 Laba! Mikwano gye bonna baliswazibwa!+

Abaweesi bantu buntu.

Ka bonna bakuŋŋaane era bayimirire.

Balitya era bonna baliswazibwa.

12 Omuweesi aweesa ekintu eky’ekyuma ku manda agaaka ng’akozesa ekintu ekikozesebwa okuweesa.

Akikubaakuba n’ennyondo,

Ng’akozesa omukono gwe ogw’amaanyi.+

Oluvannyuma alumwa enjala era n’aggwaamu amaanyi;

Tanywa mazzi era akoowa.

13 Omubazzi aleega ku muti omuguwa gwe ogupima, n’alamba ku muti ogwo ng’akozesa ennoni emmyufu.

Aguwala ng’akozesa ensinjo, n’agupima ng’akozesa ekyuma ekipima.

Agukolamu ekifaananyi ekiringa omuntu,+

Nga kirabika bulungi ng’omuntu,

Kibeerenga mu nnyumba.*+

14 Waliwo omuntu atema emiti gy’entolokyo.

Yeeroboza ekika ky’omuti, omuyovu,

Aguleka ne gukula mu kibira.+

Asimba omuti gw’omworeni, era enkuba n’egukuza.

15 Oluvannyuma guvaamu enku omuntu z’akozesa okwakisa omuliro.

Ekitundu kyagwo ekimu akikozesa okwota;

Akuma omuliro n’afumba emmere.

Kyokka era akolamu katonda n’amusinza.

Agubajjamu ekifaananyi ekyole, n’akivunnamira.+

16 Ekitundu kyagwo ekimu akyokya mu muliro;

Akozesa ekitundu ekyo okwokya ennyama gy’alya n’akkuta.

Ate era ayota omuliro n’agamba nti:

“Awo nno, ka mbugume nga bwe ntunuulira omuliro.”

17 Ekitundu kyagwo ekifisseewo akikolamu katonda, akikolamu ekifaananyi kye ekyole.

Akivunnamira n’akisinza.

Akisaba n’akigamba nti:

“Ndokola, kubanga ggwe katonda wange.”+

18 Tebalina kye bamanyi, tebalina kye bategeera,+

Kubanga amaaso gaabwe gazibiddwa era tebasobola kulaba,

N’omutima gwabwe tegutegeera.

19 Tewali n’omu ku bo afumiitiriza mu mutima gwe

Oba alina amagezi oba okutegeera ne yeebuuza nti:

“Ekitundu kyagwo nnakyokezza mu muliro,

Era ku manda gaakyo nnafumbyeko emmere ne njokyako n’ennyama ne ndya.

Kati ate ekitundu kyagwo ekifisseewo nkikolemu ekintu eky’omuzizo?+

Ddala nsaanidde okusinza ekitundutundu ky’omuti?”

20 Alya vvu.

Omutima gwe ogwalimbibwa gumuwabizza.

Tasobola kuwonya bulamu bwe, era teyeebuuza nti:

“Ekintu ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba?”

21 “Jjukira ebintu bino ggwe Yakobo, ggwe Isirayiri,

Kubanga oli muweereza wange.

Nnakubumba, era oli muweereza wange.+

Sirikwerabira ggwe Isirayiri.+

22 Ndisangula ebyonoono byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire+

N’ebibi byo, ne biba ng’ebibikkiddwa ekire ekikutte.

Komawo gye ndi, kubanga nja kukununula.+

23 Yogerera waggulu n’essanyu, ggwe eggulu,

Kubanga Yakuwa y’akoze kino!

Mukube emizira mmwe ebitundu by’ensi ebya wansi!

Mwogerere waggulu olw’essanyu mmwe ensozi,+

Ggwe ekibira, n’emiti gyo gyonna!

Kubanga Yakuwa anunudde Yakobo,

Era ayolesezza ekitiibwa kye ku Isirayiri.”+

24 Bw’ati Yakuwa Omununuzi wo bw’agamba,

Eyakutonda mu lubuto:+

“Nze Yakuwa, eyakola buli kintu.

Nze kennyini nze nnabamba eggulu,+

Era nze nnayanjuluza ensi.+

Ani eyali nange?

25 Nze nnemesa obubonero bw’abo aboogera ebitaliimu,*

Nze ndeetera abalaguzi okubeera ng’abasirusiru;+

Nze ndeetera abasajja abagezigezi okusoberwa

Era nze nfuula amagezi gaabwe obusirusiru;+

26 Nze ndeetera ekigambo ky’omuweereza wange okutuukirira

Era nze ntuukiriza ebyo ababaka bange bye balagula;+

Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiribeeramu abantu,’+

Ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Biriddamu okuzimbibwa,+

Era ndizzaawo ebyamu ebyayonoonebwa’;+

27 Nze ŋŋamba amazzi ag’omu buziba nti, ‘Kalira,

Era ndikaliza emigga gyo gyonna’;+

28 Nze njogera ku Kuulo nti,+ ‘Musumba wange,

Era alituukiriza byonna bye njagala’;+

Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiriddamu okuzimbibwa,’

Ne ku yeekaalu nti, ‘Omusingi gwo gulizimbibwa.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share