LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakuwa alina ky’avunaana amawanga (1-38)

        • Amawanga ga kuweereza Babulooni emyaka 70 (11)

        • Ekikopo ky’omwenge gw’obusungu bwa Yakuwa (15)

        • Akabi kava ku ggwanga erimu okudda ku ddala (32)

        • Abo abattibwa Yakuwa (33)

Yeremiya 25:1

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “n’abazimbi b’ebigo.”

Marginal References

  • +2Sk 24:1; Yer 36:1; 46:2; Dan 1:1

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 18-19

Yeremiya 25:2

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Yeremiya 25:3

Footnotes

  • *

    Oba, “eri abantu.”

Marginal References

  • +Yer 1:2
  • +Yer 7:13; 13:10

Yeremiya 25:4

Footnotes

  • *

    Obut., “mbaddenga nkeera ne njogera nammwe.”

Marginal References

  • +Yer 29:19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 15

Yeremiya 25:5

Marginal References

  • +2Sk 17:13; Is 55:7; Yer 18:11; 35:15; Ezk 18:30; 33:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 11-12

Yeremiya 25:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 11-12

Yeremiya 25:7

Marginal References

  • +Ma 32:21; Nek 9:26

Yeremiya 25:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 12

Yeremiya 25:9

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’akeera n’atuma.”

Marginal References

  • +Lev 26:25; Is 5:26; Yer 1:15
  • +Yer 27:6; 43:10
  • +Ma 28:49, 50; Yer 5:15; Ezk 7:24
  • +Ezk 26:7; 29:19; Kab 1:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 12

Yeremiya 25:10

Marginal References

  • +Is 24:7; Ezk 26:13
  • +Yer 7:34

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2015, lup. 15

    6/1/2014, lup. 9

    11/1/1994, lup. 12

Yeremiya 25:11

Marginal References

  • +2By 36:20, 21; Dan 9:2; Zek 1:12; 7:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 12

Yeremiya 25:12

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Ma 30:3; Ezr 1:1, 2; Yer 29:10
  • +Is 47:1; Yer 51:1; Dan 5:26, 30
  • +Is 13:1, 19; 14:4, 23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:14

Marginal References

  • +Yer 50:9; 51:27
  • +Is 14:2; Kab 2:8
  • +Zb 137:8; Yer 50:29; 51:6, 24; Kub 18:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:16

Marginal References

  • +Yer 51:7; Kuk 4:21; Ezk 23:32-34; Nak 3:7, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:17

Marginal References

  • +Yer 1:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:18

Marginal References

  • +Is 51:17
  • +Yer 24:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:19

Marginal References

  • +Yer 46:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:20

Marginal References

  • +Yer 47:1
  • +Yer 47:5

Yeremiya 25:21

Marginal References

  • +Yer 49:17; Kuk 4:21
  • +Yer 48:1
  • +Yer 49:1

Yeremiya 25:22

Marginal References

  • +Yer 27:2, 3; 47:4

Yeremiya 25:23

Marginal References

  • +Yer 49:8
  • +Yer 9:25, 26; 49:32

Yeremiya 25:24

Marginal References

  • +Yer 49:31, 32

Yeremiya 25:25

Marginal References

  • +Yer 49:34
  • +Yer 51:11

Yeremiya 25:26

Footnotes

  • *

    Oba, “ndibonereza.”

Marginal References

  • +Yer 51:41

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 13

Yeremiya 25:27

Marginal References

  • +Is 63:6; Kab 2:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:29

Marginal References

  • +1Sk 9:7; Yer 7:12, 14; Dan 9:18; Kos 12:2; Mi 6:2
  • +Yer 49:12; Ob 16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:30

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:31

Marginal References

  • +Yow. 3:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:32

Marginal References

  • +Is 34:2, 3; Yer 25:17
  • +Zef 3:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:33

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14

Yeremiya 25:34

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14-15

Yeremiya 25:35

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14-15

Yeremiya 25:36

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 14-15

Yeremiya 25:37

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 15

Yeremiya 25:38

Marginal References

  • +Kos 5:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 15

General

Yer. 25:12Sk 24:1; Yer 36:1; 46:2; Dan 1:1
Yer. 25:3Yer 1:2
Yer. 25:3Yer 7:13; 13:10
Yer. 25:4Yer 29:19
Yer. 25:52Sk 17:13; Is 55:7; Yer 18:11; 35:15; Ezk 18:30; 33:11
Yer. 25:7Ma 32:21; Nek 9:26
Yer. 25:9Lev 26:25; Is 5:26; Yer 1:15
Yer. 25:9Yer 27:6; 43:10
Yer. 25:9Ma 28:49, 50; Yer 5:15; Ezk 7:24
Yer. 25:9Ezk 26:7; 29:19; Kab 1:6
Yer. 25:10Is 24:7; Ezk 26:13
Yer. 25:10Yer 7:34
Yer. 25:112By 36:20, 21; Dan 9:2; Zek 1:12; 7:5
Yer. 25:12Ma 30:3; Ezr 1:1, 2; Yer 29:10
Yer. 25:12Is 47:1; Yer 51:1; Dan 5:26, 30
Yer. 25:12Is 13:1, 19; 14:4, 23
Yer. 25:14Yer 50:9; 51:27
Yer. 25:14Is 14:2; Kab 2:8
Yer. 25:14Zb 137:8; Yer 50:29; 51:6, 24; Kub 18:6
Yer. 25:16Yer 51:7; Kuk 4:21; Ezk 23:32-34; Nak 3:7, 11
Yer. 25:17Yer 1:10
Yer. 25:18Is 51:17
Yer. 25:18Yer 24:9
Yer. 25:19Yer 46:2
Yer. 25:20Yer 47:1
Yer. 25:20Yer 47:5
Yer. 25:21Yer 49:17; Kuk 4:21
Yer. 25:21Yer 48:1
Yer. 25:21Yer 49:1
Yer. 25:22Yer 27:2, 3; 47:4
Yer. 25:23Yer 49:8
Yer. 25:23Yer 9:25, 26; 49:32
Yer. 25:24Yer 49:31, 32
Yer. 25:25Yer 49:34
Yer. 25:25Yer 51:11
Yer. 25:26Yer 51:41
Yer. 25:27Is 63:6; Kab 2:16
Yer. 25:291Sk 9:7; Yer 7:12, 14; Dan 9:18; Kos 12:2; Mi 6:2
Yer. 25:29Yer 49:12; Ob 16
Yer. 25:31Yow. 3:2
Yer. 25:32Is 34:2, 3; Yer 25:17
Yer. 25:32Zef 3:8
Yer. 25:38Kos 5:14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 25:1-38

Yeremiya

25 Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya, ekigambo ekikwata ku bantu bonna ab’omu Yuda kyajjira Yeremiya, era ng’ogwo gwe gwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni. 2 Bino nnabbi Yeremiya bye yayogera ebikwata ku bantu* bonna ab’omu Yuda n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi:

3 “Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya+ owa Yuda, mutabani wa Amoni, okutuusa leero, gye myaka 23, Yakuwa abadde ayogera nange, era nange mbabuulidde enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza.+ 4 Era Yakuwa yabatumira abaweereza be bonna bannabbi, ng’abatuma enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza era ne mutatega kutu kuwulira.+ 5 Babaddenga babagamba nti, ‘Buli omu ku mmwe ave mu makubo ge amabi era aleke ebikolwa bye ebibi;+ olwo ensi Yakuwa gye yabawa edda mmwe ne bajjajjammwe mujja kweyongera okugibeeramu ekiseera kiwanvu. 6 Temugoberera bakatonda balala, era temubaweereza wadde okubavunnamira. Temunnyiiza nga mwekolera ebifaananyi, nneme okubabonereza.’

7 “‘Naye temwampuliriza,’ Yakuwa bw’agamba, ‘wabula mwakola ebifaananyi ne munnyiiza, ne mwereetako akabi.’+

8 “N’olwekyo bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘“Olw’okuba temwagondera bigambo byange, 9 ŋŋenda kutumya ab’amawanga gonna ag’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba, “n’omuweereza wange+ Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era nja kubaleeta balwanyise ensi eno,+ n’abagibeeramu bonna, n’amawanga gonna agabeetoolodde.+ Nja kubazikiriza era mbafuule ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa, era mbafuule amatongo ag’olubeerera. 10 Nja kusirisa mu byo eddoboozi ly’okujaguza n’ery’okusanyuka,+ eddoboozi ly’omugole omusajja n’ery’omugole omukazi,+ era n’eddoboozi ly’okusa kw’olubengo, era nja kuggyawo ekitangaala ky’ettaala. 11 Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo era ekintu eky’entiisa, era amawanga ago gajja kuweereza kabaka wa Babulooni okumala emyaka 70.”’+

12 “‘Naye emyaka 70 bwe giriggwaako,+ ndisasula* kabaka wa Babulooni n’eggwanga eryo olw’ensobi zaabwe,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era ensi y’Abakaludaaya ndigifuula matongo emirembe n’emirembe.+ 13 Ensi eyo ndigireetako ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, ebyo byonna Yeremiya bye yalagula ku mawanga gonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 14 Amawanga mangi ne bakabaka ab’amaanyi+ balibafuula baddu,+ era amawanga ago ndigasasula okusinziira ku mirimu gyago ne ku ebyo bye gaakola n’emikono gyago.’”+

15 Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba: “Ggya mu mukono gwange ekikopo kino eky’omwenge ogw’obusungu bwange, onywese amawanga gonna gye nnaakutuma. 16 Bajja kunywa batagale era babe ng’abalalu olw’ekitala kye nnaasindika mu bo.”+

17 Awo ne nzigya ekikopo mu mukono gwa Yakuwa ne nnywesa amawanga gonna Yakuwa gye yantuma,+ 18 nga ntandikira ku Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda,+ ne bakabaka baamu n’abaami baamu, bifuuke amatongo, ekintu eky’entiisa, ekintu eky’okufuuyira oluwa, era ekikolimo,+ nga bwe kiri leero; 19 oluvannyuma nnanywesa Falaawo kabaka wa Misiri n’abaweereza be, abaami be, n’abantu be bonna,+ 20 n’abagwira bonna ababeera mu nsi eyo; bakabaka bonna ab’omu nsi y’e Uzzi; bakabaka bonna ab’omu nsi y’Abafirisuuti;+ Asukulooni,+ Gaaza, Ekulooni, n’abaali basigaddewo mu Asudodi; 21 Edomu,+ Mowaabu,+ n’Abaamoni;+ 22 bakabaka bonna ab’e Ttuulo, bakabaka bonna ab’e Sidoni,+ ne bakabaka b’ekizinga ekiri mu nnyanja; 23 Dedani,+ Tema, Buzi, n’abo bonna abasalako kakoba waabwe;+ 24 bakabaka bonna ab’Abawalabu+ ne bakabaka bonna ab’abagwira ababeera mu ddungu; 25 bakabaka bonna ab’e Zimuli,+ ne bakabaka bonna ab’e Eramu, ne bakabaka bonna ab’Abameedi;+ 26 ne bakabaka bonna ab’ebukiikakkono ab’okumpi n’ewala, omu ku omu, n’obwakabaka obulala bwonna obuli ku nsi; kabaka wa Sesaki*+ y’alibaddirira okunywa.

27 “Ate era ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Munywe mutamiire, museseme era mugwe eri mube nga temusobola kusituka+ olw’ekitala kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.”’ 28 Bwe banaagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okunywa, ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Muteekwa okukinywa! 29 Kubanga laba! bwe kiba nti akabi ŋŋenda kusooka kukatuusa ku kibuga ekiyitibwa erinnya lyange,+ mmwe muyinza obutabonerezebwa?”’+

“‘Muteekwa okubonerezebwa, olw’okuba ŋŋenda kuyita ekitala kijje ku abo bonna ababeera ku nsi,’ bw’ayogera Yakuwa ow’eggye.

30 “Era oli wa kulangirira ebigambo bino byonna gye bali obagambe nti,

‘Yakuwa ajja kuwuluguma ng’ayima waggulu,

Era ajja kwogerera mu kifo ekitukuvu mw’abeera eddoboozi lye liwulirwe.

Ajja kuwulugumira ekifo kye eky’oku nsi eky’enkalakkalira.

Ng’aleekaana ng’abo abasogola omwenge,

Ajja kuyimba oluyimba olw’obuwanguzi ng’alwolekeza abo bonna ababeera ku nsi.’

31 ‘Eddoboozi lijja kuwulirwa okutuuka ku nkomerero y’ensi,

Kubanga Yakuwa alina enkaayana n’amawanga.

Ye kennyini ajja kusalira abantu bonna omusango.+

Era ababi ajja kubatta n’ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa.

32 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:

‘Laba! Akabi kalanda nga kava ku ggwanga erimu nga kagenda ku ggwanga eddala,+

Era embuyaga ey’amaanyi ejja kukunta ng’eva mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+

33 “‘Era n’abo Yakuwa b’alitta ku lunaku olwo baliba mu nsi yonna. Tebalikungubagirwa, wadde okukuŋŋaanyizibwa, wadde okuziikibwa. Baliba ng’obusa ku ttaka.’

34 Mukube ebiwoobe mmwe abasumba, era muleekaane!

Mwevulunge mu vvu mmwe ab’ebitiibwa ab’omu kisibo,

Kubanga ekiseera kyammwe eky’okuttibwa n’okusaasaana kituuse,

Era mujja kugwa mwatikeyatike ng’ekibya eky’omuwendo!

35 Abasumba tebalina wa kuddukira,

Era ab’ebitiibwa ab’omu kisibo tebajja kuwonawo.

36 Wulira! Abasumba bakaaba

N’ab’ebitiibwa ab’omu kisibo bakuba ebiwoobe,

Olw’okuba Yakuwa asaanyaawo amalundiro gaabwe.

37 N’ebifo eby’okubeeramu ebyalingamu emirembe tebikyalimu bulamu

Olw’obusungu bwa Yakuwa obubuubuuka.

38 Okufaananako empologoma envubuka,+ naye avuddeyo mu kifo gy’abeera,

Kubanga ensi yaabwe efuuse ekintu eky’entiisa

Olw’ekitala ekikambwe

N’olw’obusungu bwe obubuubuuka.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share