Isaaya
59 Laba! Omukono gwa Yakuwa si mumpi ne kiba nti tegusobola kulokola,+
2 Ebyonoono byammwe bye bibaggye ku Katonda wammwe.+
Ebibi byammwe bye bimuviiriddeko okubeekweka,
Era takkiriza kubawuliriza.+
3 Kubanga ebibatu byammwe bijjudde omusaayi+
N’engalo zammwe zijjudde ebyonoono.
Emimwa gyammwe gyogera eby’obulimba,+ n’olulimi lwammwe lwogera ebitali bya butuukirivu.
4 Tewali n’omu akoowoola butuukirivu,+
Era tewali n’omu agenda mu mbuga mu mazima.
Beesiga ebitaliimu nsa+ era boogera ebitagasa.
Baba olubuto olw’emitawaana ne bazaala ebintu eby’obulabe.+
5 Baalula amagi g’omusota ogw’obusagwa,
Era baluka ekiyumba kya nnabbubi.+
Buli alya amagi gaabwe afa,
Era eggi eryasibwa livaamu omusota ogw’obusagwa.
6 Ekiyumba kyabwe ekya nnabbubi tekiryambalwa ng’olugoye,
Era tebalyebikka ebyo bye bakola.+
Bye bakola bya bulabe,
Era ebikolwa eby’obukambwe biri mu mikono gyabwe.+
7 Ebigere byabwe bidduka okukola ebintu ebibi,
Era banguwa okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango.+
Ebirowoozo byabwe bya kabi;
Amakubo gaabwe galimu okuzikiriza n’ennaku.+
8 Tebamanyi kkubo lya mirembe,
Era mu makubo gaabwe temuli bwenkanya.+
Bakyamya enguudo zaabwe;
Tewali n’omu azitambulirako alimanya emirembe.+
9 Eyo ye nsonga lwaki obwenkanya butuli wala nnyo,
N’obutuukirivu tebututuukako.
Tusuubira kitangaala, naye laba! waliwo kizikiza;
Tusuubira butangaavu, naye tweyongera kutambulira mu kizikiza.+
10 Tuwammanta ku kisenge ng’abazibe b’amaaso;
Tuwammanta ng’abo abatalina maaso.+
Twesittala mu ttuntu ng’abali mu kizikiza eky’ekiro;
Mu bantu ab’amaanyi tulinga abafu.
11 Ffenna tuwuluguma ng’amalubu
Era tukaaba ng’amayiba.
Tusuubira obwenkanya naye tebuliiwo;
Tusuubira obulokozi naye butuli wala nnyo.
Kubanga obujeemu bwaffe buli naffe;
Ensobi zaffe tuzimanyi bulungi.+
13 Twayonoona era ne twegaana Yakuwa;
Twava ku Katonda waffe.
Okubonyaabonya n’okujeema bye twali twogerako;+
Twaba olubuto olw’obulimba era ne twogera eby’obulimba okuva mu mutima.+
14 Obwenkanya bugobeddwa,+
N’obutuukirivu buyimirira wala;+
Kubanga amazima* geesittadde mu kibangirizi,
Era obugolokofu tebuyinza kuyingiramu.
16 Yalaba nga tewali muntu asobola kuyamba;
Yeewuunya okulaba nti tewaali abawolereza,
Omukono gwe kyegwava guleeta obulokozi,*
N’obutuukirivu bwe bwamuwanirira.
Yayambala ebyambalo by’okuwoolera eggwanga,+
Era okwagala ennyo okutereeza ebintu yakwambala ng’ekizibaawo.*
18 Alibasasula olw’ebyo bye bakoze:+
Abamuwalana alibasasula obusungu; alibonereza abalabe be.+
N’ebizinga alibisasula ekibigwanira.
19 Abo ababeera ebugwanjuba balitya erinnya lya Yakuwa
N’abo ababeera ebuvanjuba balitya ekitiibwa kye,
Kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
Ogukulukusibwa omwoyo gwa Yakuwa.
20 “Omununuzi+ aligenda mu Sayuuni,+
Aligenda eri abo ababeera mu Yakobo abalekayo ebyonoono byabwe,”+ bw’atyo Yakuwa bw’agamba.
21 “Eno ye ndagaano gye ndagaana nabo,”+ Yakuwa bw’agamba. “Omwoyo gwange ogukuliko era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko—tebiggibwenga mu kamwa ko, newakubadde mu kamwa k’abaana bo, newakubadde mu kamwa ka bazzukulu bo, okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe,” Yakuwa bw’agamba.