Yobu
32 Awo abasajja abo abasatu ne balekera awo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeekakasa nti mutuukirivu.*+ 2 Naye Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi+ ow’omu luggya lwa Laamu yali musunguwavu nnyo. Yasunguwalira Yobu olw’okuba yali agezaako okulaga nti ye mutuufu so si Katonda.+ 3 Yasunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu olw’okuba baabulwa eky’okumuddamu ekituufu, kyokka ne bagamba nti Katonda mubi.+ 4 Eriku yali akyalinze okubaako ky’addamu Yobu, olw’okuba baali bamusinga obukulu.+ 5 Bwe yalaba ng’abasajja abo abasatu babuliddwa eky’okwogera, obusungu bwe ne bubuubuuka. 6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’atandika okwogera n’agamba nti:
Kyenvudde nsirika olw’okuba mbassaamu ekitiibwa,+
Ne seetantala kubabuulira kye mmanyi.
7 Ndowoozezza nti, ‘Abakulu ka boogere,*
Era ab’emyaka emingi ka boogere eby’amagezi.’
8 Omwoyo omutukuvu Katonda gw’awa abantu,
Omukka gw’Omuyinza w’Ebintu Byonna, gwe gubawa okutegeera.+
10 Kyenva ŋŋamba nti, ‘Mumpulirize,
Nange mbabuulire kye mmanyi.’
12 Mbawulirizza bulungi,
Naye tewali n’omu ku mmwe asobodde kulaga nti Yobu mukyamu,*
Oba ayanukudde ebigambo bye.
13 N’olwekyo temugamba nti, ‘Tuzudde amagezi;
Katonda y’ayinza okulaga nti mukyamu so si abantu.’
14 Ebigambo bye tabyolekezza nze,
Kale sijja kumuddamu mu ngeri gye mumuzzeemu.
15 Basobeddwa, babuliddwa eby’okuddamu;
Tebakyalina kya kwogera.
16 Nnindiridde, naye tebakyalina kya kwogera;
Bayimiridde buyimirizi awo, tebakyalina kya kuddamu.
17 Nange ka mbeeko kye njogera;
Nange ka njogere kye mmanyi,
18 Kubanga nnina bingi eby’okwogera;
Omwoyo omutukuvu oguli mu nze gumpaliriza.
19 Munda yange nninga omwenge ogusaanikiddwa,
Nninga ensawo z’omwenge ez’amaliba empya ezaagala okwabika.+
20 Ka njogere mpeweere!
Ka njasamye akamwa kange mbeeko kye nziramu.
21 Sijja kwekubiira ku ludda lwa muntu yenna;+
Era sijja kubaako muntu yenna gwe mpaanawaana,
22 Kubanga simanyi kuwaanawaana;
Singa nkikola, Omutonzi wange asobola okunsaanyaawo mu bwangu.