LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amateeka ku kukubwa kibooko (1-3)

      • Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula (4)

      • Okuwasa muka muganda wo (5-10)

      • Okukwata ebitundu eby’ekyama eby’abo ababa balwana (11, 12)

      • Ebipimo ebituufu (13-16)

      • Abamaleki balina okuzikirizibwa (17-19)

Ekyamateeka 25:1

Marginal References

  • +Ma 16:18; 17:8, 9; 19:16, 17
  • +Kuv 23:6; 2By 19:6; Nge 17:15; 31:9

Ekyamateeka 25:2

Marginal References

  • +Nge 10:13; 20:30; 26:3; Luk 12:48; Beb 2:2

Ekyamateeka 25:3

Marginal References

  • +2Ko 11:24

Ekyamateeka 25:4

Marginal References

  • +Nge 12:10; 1Ko 9:9; 1Ti 5:18

Ekyamateeka 25:5

Marginal References

  • +Lub 38:7, 8; Lus 4:5; Mak 12:19

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2014

Ekyamateeka 25:6

Marginal References

  • +Lub 38:9; Lus 4:10, 17
  • +Kbl 27:1, 4

Ekyamateeka 25:9

Marginal References

  • +Lus 4:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 10

Ekyamateeka 25:10

Footnotes

  • *

    Obut., “erinnya lye.”

Ekyamateeka 25:12

Footnotes

  • *

    Obut., “eriiso lyo terimusaasiranga.”

Ekyamateeka 25:13

Marginal References

  • +Nge 11:1; 20:10; Mi 6:11

Ekyamateeka 25:14

Footnotes

  • *

    Obut., “efa ne efa mu nnyumba yo.” Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Lev 19:36

Ekyamateeka 25:15

Marginal References

  • +Ma 4:40

Ekyamateeka 25:16

Marginal References

  • +Lev 19:35

Ekyamateeka 25:17

Marginal References

  • +Kuv 17:8; Kbl 24:20

Ekyamateeka 25:19

Marginal References

  • +Yos 22:4
  • +Kuv 17:14; 1Sa 14:47, 48; 15:1-3; 1By 4:42, 43

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 144

General

Ma. 25:1Ma 16:18; 17:8, 9; 19:16, 17
Ma. 25:1Kuv 23:6; 2By 19:6; Nge 17:15; 31:9
Ma. 25:2Nge 10:13; 20:30; 26:3; Luk 12:48; Beb 2:2
Ma. 25:32Ko 11:24
Ma. 25:4Nge 12:10; 1Ko 9:9; 1Ti 5:18
Ma. 25:5Lub 38:7, 8; Lus 4:5; Mak 12:19
Ma. 25:6Lub 38:9; Lus 4:10, 17
Ma. 25:6Kbl 27:1, 4
Ma. 25:9Lus 4:7
Ma. 25:13Nge 11:1; 20:10; Mi 6:11
Ma. 25:14Lev 19:36
Ma. 25:15Ma 4:40
Ma. 25:16Lev 19:35
Ma. 25:17Kuv 17:8; Kbl 24:20
Ma. 25:19Yos 22:4
Ma. 25:19Kuv 17:14; 1Sa 14:47, 48; 15:1-3; 1By 4:42, 43
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 25:1-19

Ekyamateeka

25 “Abantu bwe banaabanga n’enkaayana banaagenda eri abalamuzi,+ era abalamuzi banaabalamulanga ne balaga nti omutuukirivu taliiko musango, ate nti omubi aliko omusango.+ 2 Omubi bw’anaabanga agwanira okukubibwa,+ omulamuzi anaamugalamizanga ne bamukubira mu maaso ge. Embooko z’anaakubibwanga zinaasinziiranga ku bubi bw’ekyo ky’anaabanga akoze. 3 Ayinza okumukuba embooko 40+ naye tasussangamu. Singa amukuba embooko ezisukka ku ezo, muganda wo anaabanga aweebuddwa mu maaso go.

4 “Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula.+

5 “Ab’oluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu ku bo n’afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu w’omusajja oyo tafumbirwanga omusajja atalina luganda ku mufu. Muganda wa bba anaagendanga gy’ali n’amuwasa, n’atuukiriza ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola.+ 6 Omwana omukazi oyo gw’anaasookanga okuzaala anaatwalibwanga ng’omwana wa bba eyafa,+ erinnya ly’omusajja oyo lireme kusaanawo mu Isirayiri.+

7 “Naye singa omusajja anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu anaagendanga eri abakadde ku mulyango gw’ekibuga n’abagamba nti, ‘Muganda wa baze agaanye okukuuma erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Takkirizza kumpasa atuukirize ekyo muganda wa baze ky’asaanidde okukola.’ 8 Abakadde b’ekibuga kye banaamuyitanga ne boogera naye. Naye singa anaakalambiranga n’agamba nti, ‘Saagala kumuwasa,’ 9 awo nnamwandu wa muganda we anajjanga w’ali mu maaso g’abakadde n’amuggyamu engatto mu kigere+ n’amuwandulira amalusu mu maaso era n’agamba nti, ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omwana bw’atyo bw’anaayisibwanga.’ 10 Awo ennyumba ye* mu Isirayiri eneeyitibwanga, ‘Ennyumba y’oyo gwe baggyamu engatto.’

11 “Abasajja bwe babanga balwana, mukazi w’omu ku bo n’ajja okutaasa bba ku oyo anaabanga amukuba, n’agolola omukono gwe n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12 omukazi oyo omutemangako omukono. Tomusaasiranga.*

13 “Tobeeranga n’amayinja ag’okupimisa ag’emirundi ebiri mu nsawo yo,+ eddene n’ettono. 14 Tobeeranga na bigera bya mirundi ebiri mu nnyumba yo,*+ ekinene n’ekitono. 15 Obeeranga n’amayinja ag’okupimisa amatuufu era n’ekigera ekituufu, olyoke owangaale mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.+ 16 Kubanga buli muntu atali mwenkanya era akola ebintu ng’ebyo, Yakuwa Katonda wo amukyayira ddala.+

17 “Jjukiranga ekyo Amaleki kye yakukola bwe mwali ku lugendo nga muva e Misiri,+ 18 bwe yakulumba mu kkubo n’atta abo bonna abaali basembyeyo emabega nga bajja batambula mpolampola, bwe wali ng’okooye nnyo era ng’oweddemu amaanyi. Teyatya Katonda. 19 Yakuwa Katonda wo bw’alikuwa ekiwummulo ng’akuwonyezza abalabe bo bonna abakwetoolodde mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ng’obusika,+ osaanyangawo Amaleki, aleme kujjukirwa wansi w’eggulu.+ Teweerabiranga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share