Yoswa
11 Yabini kabaka wa Kazoli olwakiwulira n’aweereza obubaka eri Yobabu kabaka wa Madoni+ ne kabaka wa Simuloni ne kabaka wa Akusafu,+ 2 ne bakabaka abaali mu kitundu eky’ensozi eky’ebukiikakkono, n’abaali mu nsenyi* ebukiikaddyo wa Kinneresi, n’abaali mu Sefera ne ku busozi bw’e Doli+ okwolekera ebuvanjuba, 3 n’Abakanani+ abaali ebuvanjuba n’ebugwanjuba, Abaamoli,+ Abakiiti, Abaperizi, Abayebusi abaali mu kitundu eky’ensozi, n’Abakiivi+ abaali wansi ku Lusozi Kerumooni+ mu nsi ya Mizupa. 4 Bakabaka abo bonna baavaayo n’amagye gaabwe gonna, nga bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja, era nga balina embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali g’olutalo. 5 Bakabaka abo bonna ne balagaana okusisinkana, era ne bagenda ne basiisira wamu ku mazzi g’e Meromu okulwanyisa Isirayiri.
6 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Tobatya,+ kubanga enkya mu budde nga buno, bonna nja kubawaayo mu mukono gwa Isirayiri, era mujja kubatta. Embalaasi zaabwe ojja kuzitema enteega,+ era amagaali gaabwe ojja kugookya omuliro.” 7 Awo Yoswa n’abasajja bonna abalwanyi abaali naye ne babazinduukiriza ku mazzi g’e Meromu ne babalwanyisa. 8 Yakuwa n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri,+ ne bagenda nga babatta era ne babawondera okutuukira ddala e Sidoni Ekinene+ n’e Misulefosu-mayimu,+ era n’Ekiwonvu ky’e Mizupe okwolekera ebuvanjuba, ne babatta obutalekaawo n’omu.+ 9 Awo Yoswa n’abakola nga Yakuwa bwe yali amugambye, embalaasi zaabwe n’azitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.+
10 Ate era Yoswa yaddayo n’awamba Kazoli era n’atta kabaka waakyo n’ekitala;+ edda, Kazoli kye kyali kisinga amaanyi mu bwakabaka obwo bwonna. 11 Batta abantu baamu bonna n’ekitala ne babazikiriza.+ Tewaasigalawo kintu na kimu ekissa omukka.+ Oluvannyuma yayokya Kazoli omuliro. 12 Yoswa yawamba ebibuga byonna ebya bakabaka abo era n’alwanyisa bakabaka baabyo bonna n’ekitala n’abawangula.+ Yabazikiriza,+ nga Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yali alagidde. 13 Naye Abayisirayiri tebaayokya kibuga kyonna ekyali ku kasozi, okuggyako Kazoli; kye kibuga kyokka Yoswa kye yayokya. 14 Abayisirayiri baatwala omunyago gwonna ogwali mu bibuga ebyo n’ensolo.+ Naye batta buli muntu n’ekitala okutuusa lwe baabamalawo.+ Tewali n’omu gwe baaleka nga mulamu.+ 15 Nga Yakuwa bwe yalagira Musa omuweereza we, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa,+ era ne Yoswa bw’atyo bwe yakola. Tewali na kimu ky’ataakola ku ebyo byonna Yakuwa bye yalagira Musa.+
16 Yoswa yatwala ensi eyo yonna, ekitundu eky’ensozi, ne Negebu+ yenna, n’ekitundu kyonna eky’e Goseni, ne Sefera,+ ne Alaba,+ n’ekitundu kya Isirayiri eky’ensozi n’ensenyi zaakyo, 17 okuva ku Lusozi Kalaki, olutuukira ddala e Seyiri, n’okutuuka e Bbaali-gaadi+ mu Kiwonvu ky’e Lebanooni wansi ku Lusozi Kerumooni,+ era yawamba bakabaka baayo bonna n’abatta. 18 Yoswa yamala ekiseera ekiwera ng’alwanyisa bakabaka abo bonna. 19 Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe na Bayisirayiri okuggyako Abakiivi ab’omu Gibiyoni.+ Ebibuga ebirala byonna baamala kubirwanyisa ne balyoka babiwamba.+ 20 Yakuwa ye yaleka emitima gyabwe ne giba mikakanyavu+ balwanyise Abayisirayiri, alyoke abazikirize awatali kubakwatirwa kisa.+ Baali ba kusaanyizibwawo, nga Yakuwa bwe yali alagidde Musa.+
21 Mu kiseera ekyo Yoswa yagenda n’azikiriza Abaanaki+ abaali mu kitundu eky’ensozi, ne mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabi, ne mu kitundu kya Yuda kyonna eky’ensozi ne mu kitundu kya Isirayiri kyonna eky’ensozi. Yoswa yabazikiriza bonna n’ebibuga byabwe.+ 22 Tewali Baanaki baalekebwa mu nsi y’Abayisirayiri. Baasigala+ mu Gaaza+ mwokka ne mu Gaasi+ ne mu Asudodi.+ 23 Yoswa n’awamba ensi yonna, nga Yakuwa bwe yasuubiza Musa,+ era n’agiwa Abayisirayiri ng’obusika okusinziira ku migabo gyabwe, egabanyizibwemu ebika byabwe.+ Awo ensi n’ewummula entalo.+