LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abayisirayiri ba kubeera mu nsi yaabwe (1, 2)

      • Kabaka wa Babulooni asekererwa (3-23)

        • Oyo ayakaayakana wa kugwa okuva mu ggulu (12)

      • Omukono gwa Yakuwa gwa kumenyaamenya Abaasuli (24-27)

      • Obubaka eri Bufirisuuti (28-32)

Isaaya 14:1

Footnotes

  • *

    Oba, “Alibawa ekiwummulo.”

Marginal References

  • +Lev 26:42
  • +Zek 1:17
  • +Ma 30:1-3; Is 66:20; Yer 24:6; Ezk 36:24
  • +Is 56:6, 7; 60:3; Zek 8:22, 23

Isaaya 14:2

Footnotes

  • *

    Oba, “abaabakozesanga emirimu.”

Marginal References

  • +Is 61:5; Zek 2:8, 9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2007, lup. 8-9

Isaaya 14:3

Marginal References

  • +Ezr 3:1; 9:8; Yer 30:10

Isaaya 14:4

Footnotes

  • *

    Oba, “oliyeeya.”

Marginal References

  • +Yer 50:23

Isaaya 14:5

Marginal References

  • +Zb 125:3

Isaaya 14:6

Marginal References

  • +2By 36:17; Yer 50:17
  • +Kab 1:6; Zek 1:15

Isaaya 14:7

Marginal References

  • +Zb 126:2; Is 49:13; Yer 51:48; Kub 18:20

Isaaya 14:9

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Obut., “Embuzi ennume.”

Isaaya 14:11

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Kub 18:22

Isaaya 14:12

Marginal References

  • +2By 36:17; Yer 51:7; Ezk 29:19; Dan 5:18, 19

Isaaya 14:13

Marginal References

  • +Is 47:7; Dan 4:30
  • +Dan 5:22, 23
  • +Zb 48:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 8

Isaaya 14:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 8

Isaaya 14:15

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Isaaya 14:16

Marginal References

  • +Yer 51:25

Isaaya 14:17

Marginal References

  • +2Sk 25:21; Is 64:10
  • +2Sk 24:12, 14; 25:11

Isaaya 14:18

Footnotes

  • *

    Obut., “nnyumba.”

Isaaya 14:19

Footnotes

  • *

    Oba, “ettabi.”

Isaaya 14:22

Marginal References

  • +Is 43:14; Yer 50:25; 51:56
  • +Yer 51:62

Isaaya 14:23

Marginal References

  • +Is 13:1, 21; Yer 50:35, 39; Kub 18:2

Isaaya 14:25

Marginal References

  • +2By 32:21, 22; Is 30:31; 31:8; 37:36, 37
  • +Is 10:24

Isaaya 14:26

Footnotes

  • *

    Oba, “ogwetegese okukuba.”

Isaaya 14:27

Marginal References

  • +Zb 33:11; Nge 19:21; 21:30; Is 46:11
  • +2By 20:5, 6; Is 43:13

Isaaya 14:28

Marginal References

  • +2Sk 16:20; 2By 28:27

Isaaya 14:29

Footnotes

  • *

    Oba, “omusota ogw’obusagwa ogubuuka.”

Marginal References

  • +2By 26:3, 6
  • +2Sk 18:1, 8

Isaaya 14:30

Marginal References

  • +Yer 47:1; Ezk 25:16; Yow. 3:4; Am 1:6-8; Zef 2:4; Zek 9:5

Isaaya 14:32

Marginal References

  • +Zb 48:1-3; 87:1, 2; 132:13, 14

General

Is. 14:1Lev 26:42
Is. 14:1Zek 1:17
Is. 14:1Ma 30:1-3; Is 66:20; Yer 24:6; Ezk 36:24
Is. 14:1Is 56:6, 7; 60:3; Zek 8:22, 23
Is. 14:2Is 61:5; Zek 2:8, 9
Is. 14:3Ezr 3:1; 9:8; Yer 30:10
Is. 14:4Yer 50:23
Is. 14:5Zb 125:3
Is. 14:62By 36:17; Yer 50:17
Is. 14:6Kab 1:6; Zek 1:15
Is. 14:7Zb 126:2; Is 49:13; Yer 51:48; Kub 18:20
Is. 14:11Kub 18:22
Is. 14:122By 36:17; Yer 51:7; Ezk 29:19; Dan 5:18, 19
Is. 14:13Is 47:7; Dan 4:30
Is. 14:13Dan 5:22, 23
Is. 14:13Zb 48:1, 2
Is. 14:16Yer 51:25
Is. 14:172Sk 25:21; Is 64:10
Is. 14:172Sk 24:12, 14; 25:11
Is. 14:22Is 43:14; Yer 50:25; 51:56
Is. 14:22Yer 51:62
Is. 14:23Is 13:1, 21; Yer 50:35, 39; Kub 18:2
Is. 14:252By 32:21, 22; Is 30:31; 31:8; 37:36, 37
Is. 14:25Is 10:24
Is. 14:27Zb 33:11; Nge 19:21; 21:30; Is 46:11
Is. 14:272By 20:5, 6; Is 43:13
Is. 14:282Sk 16:20; 2By 28:27
Is. 14:292By 26:3, 6
Is. 14:292Sk 18:1, 8
Is. 14:30Yer 47:1; Ezk 25:16; Yow. 3:4; Am 1:6-8; Zef 2:4; Zek 9:5
Is. 14:32Zb 48:1-3; 87:1, 2; 132:13, 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 14:1-32

Isaaya

14 Yakuwa alisaasira Yakobo,+ era aliddamu okulonda Isirayiri.+ Alibateeka* mu nsi yaabwe;+ bannaggwanga balibeegattako era balyekwata ku nnyumba ya Yakobo.+ 2 Abantu b’amawanga balibaleeta mu kifo kyabwe, era ennyumba ya Isirayiri eribafuula baddu na bazaana+ mu nsi ya Yakuwa. Baliwamba abo abaali baabawamba, era balifuga abo abaabakakanga okukola emirimu.*

3 Ku lunaku Yakuwa lw’alikuggyako obulumi n’okweraliikirira okw’amaanyi n’emirimu egy’obuddu gye baakuwalirizanga okukola,+  4 olyogera olugero luno ku* kabaka wa Babulooni:

“Oyo eyakakanga abalala okukola emirimu naye atuuse ku nkomerero ye!

Okunyigirizibwa kukomye!+

 5 Yakuwa amenye omuggo gw’ababi,

Oluga lw’abafuzi,+

 6 Ogwakubanga amawanga olutata n’obusungu obungi,+

Ogwafuganga amawanga n’obusungu nga gugayigganya olutatadde.+

 7 Ensi yonna kaakano ewummudde, tewali kigitawaanya.

Abantu boogerera waggulu olw’essanyu.+

 8 N’emiti gy’emiberosi gisanyuka olw’ekyo ekyakutuukako,

Era n’emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni.

Gigamba nti, ‘Okuva lwe wagwa,

Tewali yali azze kututema.’

 9 N’amagombe* gye gali wansi eyo gagolokose

Okukusisinkana ng’ozze.

Ku lulwo gazuukusa abaafa,

Abafuzi* b’ensi bonna abaabonyaabonyanga abalala.

Galeetera bakabaka bonna ab’amawanga okuyimuka ku nnamulondo zaabwe.

10 Bonna boogera era bakugamba nti,

‘Naawe ofuuse munafu nga ffe?

Naawe ofuuse nga ffe?

11 Amalala go gassiddwa wansi emagombe,*

N’amaloboozi g’ebivuga byo eby’enkoba.+

Envunyu ze ziringa obuliri bwo,

Era ensiriŋŋanyi ze weebisse.’

12 Ogudde okuva mu ggulu,

Ggwe ayakaayakana, ggwe omwana w’emmambya!

Otemeddwa n’osuulibwa ku nsi,

Ggwe eyafufuggaza amawanga!+

13 Wayogera mu mutima gwo nti, ‘Ndirinnya mu ggulu.+

Ndiwanika entebe yange ey’obwakabaka waggulu+ w’emmunyeenye za Katonda,

Ndituula ku lusozi olukuŋŋaanirwako,

Mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba ewala.+

14 Ndirinnya ne ŋŋenda waggulu w’ebire;

Ndyefaanaanyiriza ng’oyo Asingayo Okuba Waggulu.’

15 Naye olissibwa wansi emagombe,*

Mu bitundu by’ekinnya ebisingayo okuba ebya wansi.

16 Abo abalikulaba balikwekaliriza;

Balikwekenneenya ne bagamba nti,

‘Ono ye musajja eyayuuguumyanga ensi,

Eyakankanyanga obwakabaka,+

17 Eyafuula ensi okuba ng’eddungu

N’asaanyaawo ebibuga byayo,+

Era eyagaananga abasibe be okudda ewaabwe?’+

18 Bakabaka abalala bonna ab’amawanga,

Bonna bagalamidde mu kitiibwa,

Buli omu mu ntaana* ye.

19 Naye ggwe osuuliddwa eri n’otoziikibwa mu ntaana,

Okufaananako omutunsi* ogutaagalibwa,

Oyambaziddwa abafu abattibwa n’ekitala,

Abagenda wansi mu kinnya ekijjudde amayinja,

Olinga omutulumbi ogulinnyiriddwa.

20 Tolibeegattako mu ntaana,

Kubanga wazikiriza ensi yo,

Watta abantu bo.

Amannya g’ezzadde ly’abakozi b’ebibi tegaliddamu kwogerwako.

21 Muteeketeeke aw’okuttira abaana be

Olw’ebibi bya bajjajjaabwe,

Baleme okugolokoka batwale ensi

Bagijjuze ebibuga byabwe.”

22 “Ndibalwanyisa,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.

“Ndiggirawo ddala mu Babulooni erinnya, n’abaliba basigaddewo, n’abazzukulu, n’abo abaliddawo,”+ Yakuwa bw’agamba.

23 “Ndikifuula kifo kya nnamunnungu era olutobazzi, era ndikyera n’olweyo lw’okuzikiriza,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.

24 Yakuwa ow’eggye alayidde nti:

“Nga bwe nnateekateeka, bwe kityo bwe kiriba,

Era nga bwe nnasalawo, bwe kityo bwe kirituukirira.

25 Ndimenyeramenyera Omwasuli mu nsi yange,

Era ndimulinnyirira ku nsozi zange.+

Ekikoligo kye kiriggibwa ku bantu bange,

N’omugugu gwe guliggibwa ku bibegaabega byabwe.”+

26 Kino kye kisaliddwawo okuba nti kituuka ku nsi yonna,

Era guno gwe mukono ogugoloddwa eri* amawanga gonna.

27 Kubanga Yakuwa ow’eggye asazeewo,

Ani ayinza okukiremesa?+

Omukono gwe gugoloddwa,

Ani ayinza okuguzzaayo?+

28 Mu mwaka Kabaka Akazi gwe yafiiramu,+ Katonda yaweereza obubaka buno:

29 “Tosanyuka ggwe Bufirisuuti, tewaba n’omu ku mmwe asanyuka,

Olw’okuba omuggo gw’oyo abakuba gumenyese.

Kubanga mu kikolo ky’omusota+ mulivaamu omusota ogw’obusagwa,+

Era ezzadde lyagwo liribeera omusota ogubuuka ogw’omuliro.*

30 Omwana omubereberye ow’omunaku bw’aliba alya,

Nga n’omwavu agalamidde mu mirembe,

Ndireetera ekikolo kyo enjala ne kifa,

N’abalisigalawo mu ggwe balittibwa.+

31 Kuba ebiwoobe, ggwe omulyango! Leekaana, ggwe ekibuga!

Wenna oliggwaamu amaanyi, ggwe Bufirisuuti!

Kubanga omukka guva ebukiikakkono,

Era tewali n’omu mu magye g’omulabe asoonooka.”

32 Ababaka b’eggwanga babaanukule batya?

Nti Yakuwa ataddewo omusingi gwa Sayuuni,+

Era nti abanaku ab’omu bantu be baliddukira mu kyo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share