Isaaya
Baliraba ekitiibwa kya Yakuwa; baliraba obulungi bwa Katonda waffe.
4 Mugambe abo abeeraliikirivu mu mutima nti:
“Mugume. Temutya.
Laba! Katonda wammwe alijja okuwoolera eggwanga,
Katonda alijja okwesasuza.+
Alijja n’abalokola.”+
6 Mu kiseera ekyo omulema alibuuka ng’empeewo,+
N’olulimi lw’oyo atasobola kwogera lulireekaana olw’essanyu.+
Kubanga amazzi galifukumuka mu lukoola,
N’emigga mu ddungu.
Mu bifo ebibe gye byabeeranga,+
Walibaayo omuddo n’ebisaalu n’ebitoogo.
Atali mulongoofu taliritambuliramu.+
Oyo yekka atambulira mu kkubo y’aliritambuliramu;
Tewali musirusiru aliritambuliramu.
9 Teriribaamu mpologoma,
Era n’ensolo enkambwe teziririyitamu.
10 Abo Yakuwa b’aliba anunudde balikomawo+ ne bajja mu Sayuuni nga boogerera waggulu n’essanyu.+
Essanyu ery’olubeerera liribeera ku mitwe gyabwe ng’engule.+
Balisanyuka era balijaganya,
Era okunakuwala n’okusinda biriggwaawo.+