LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nekkemiya 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Enkyukakyuka endala Nekemiya z’aleetawo (1-31)

        • Ekimu eky’ekkumi kirina okuweebwa (10-13)

        • Ssabbiiti erina okussibwamu ekitiibwa (15-22)

        • Okuwasa abagwira kivumirirwa (23-28)

Nekkemiya 13:1

Marginal References

  • +Ma 31:11; Nek 8:2, 3; Bik 15:21
  • +Lub 19:36-38
  • +Ma 23:3, 6

Nekkemiya 13:2

Marginal References

  • +Kbl 22:4-6
  • +Kbl 23:8; 24:10

Nekkemiya 13:3

Footnotes

  • *

    Oba, “bamusaayi mutabule.”

Marginal References

  • +Ezr 10:10, 11; Nek 9:1, 2

Nekkemiya 13:4

Footnotes

  • *

    Oba, “bisenge ebiriirwamu.”

  • *

    Oba, “ga yeekaalu.”

Marginal References

  • +Nek 10:37, 38
  • +Nek 3:1
  • +Nek 2:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 4

Nekkemiya 13:5

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisenge ekiriirwamu.”

Marginal References

  • +Ma 18:3, 4
  • +Kbl 18:24
  • +Nek 12:44

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 4

Nekkemiya 13:6

Marginal References

  • +Nek 5:14
  • +Ezr 7:1; Nek 2:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 31

Nekkemiya 13:7

Marginal References

  • +Nek 12:10
  • +Nek 4:7

Nekkemiya 13:8

Footnotes

  • *

    Oba, “kisenge ekiriirwamu.”

Nekkemiya 13:9

Footnotes

  • *

    Oba, “ebisenge ebiriirwamu.”

Marginal References

  • +Nek 10:39
  • +Lev 2:14, 15

Nekkemiya 13:10

Marginal References

  • +Nek 10:37; 12:47
  • +Mal 3:8
  • +Kbl 35:2

Nekkemiya 13:11

Marginal References

  • +Ezr 9:2
  • +Nek 10:39

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 4-5

Nekkemiya 13:12

Marginal References

  • +Nek 10:38, 39; Mal 3:10
  • +Lev 27:30; Kbl 18:21

Nekkemiya 13:13

Footnotes

  • *

    Oba, “omuwandiisi.”

Nekkemiya 13:14

Marginal References

  • +Nek 5:19
  • +Beb 6:10

Nekkemiya 13:15

Marginal References

  • +Kuv 20:10; 34:21; 35:2
  • +Yer 17:21, 27

Nekkemiya 13:16

Marginal References

  • +Nek 10:31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2020 lup. 7

Nekkemiya 13:18

Marginal References

  • +Kuv 20:8-10

Nekkemiya 13:22

Marginal References

  • +Ma 5:12
  • +Nek 5:19; 13:14, 30, 31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1996, lup. 16

Nekkemiya 13:23

Footnotes

  • *

    Oba, “abaali batutte mu nnyumba zaabwe.”

Marginal References

  • +Ezr 9:1, 2; 10:10; 2Ko 6:14
  • +Yos 13:2, 3
  • +Ma 23:3, 4

Nekkemiya 13:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    10/2016, lup. 14

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 6-7

Nekkemiya 13:25

Marginal References

  • +Ma 25:2; Ezr 7:26
  • +Ma 7:3, 4; Nek 10:30

Nekkemiya 13:26

Marginal References

  • +1Sk 3:12, 13; 2By 9:22
  • +2Sa 12:24
  • +1Sk 11:1-5

Nekkemiya 13:27

Marginal References

  • +Ezr 10:2

Nekkemiya 13:28

Marginal References

  • +Nek 12:10
  • +Nek 3:1; 13:4
  • +Nek 2:10; 6:14

Nekkemiya 13:29

Marginal References

  • +Kuv 40:15; Kbl 25:11-13
  • +Mal 2:4

Nekkemiya 13:30

Marginal References

  • +1By 23:6; 25:1

Nekkemiya 13:31

Marginal References

  • +Nek 10:34
  • +Nek 5:19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2013, lup. 7

    10/1/1996, lup. 16

General

Nek. 13:1Ma 31:11; Nek 8:2, 3; Bik 15:21
Nek. 13:1Lub 19:36-38
Nek. 13:1Ma 23:3, 6
Nek. 13:2Kbl 22:4-6
Nek. 13:2Kbl 23:8; 24:10
Nek. 13:3Ezr 10:10, 11; Nek 9:1, 2
Nek. 13:4Nek 10:37, 38
Nek. 13:4Nek 3:1
Nek. 13:4Nek 2:10
Nek. 13:5Ma 18:3, 4
Nek. 13:5Kbl 18:24
Nek. 13:5Nek 12:44
Nek. 13:6Nek 5:14
Nek. 13:6Ezr 7:1; Nek 2:1
Nek. 13:7Nek 12:10
Nek. 13:7Nek 4:7
Nek. 13:9Nek 10:39
Nek. 13:9Lev 2:14, 15
Nek. 13:10Nek 10:37; 12:47
Nek. 13:10Mal 3:8
Nek. 13:10Kbl 35:2
Nek. 13:11Ezr 9:2
Nek. 13:11Nek 10:39
Nek. 13:12Nek 10:38, 39; Mal 3:10
Nek. 13:12Lev 27:30; Kbl 18:21
Nek. 13:14Nek 5:19
Nek. 13:14Beb 6:10
Nek. 13:15Kuv 20:10; 34:21; 35:2
Nek. 13:15Yer 17:21, 27
Nek. 13:16Nek 10:31
Nek. 13:18Kuv 20:8-10
Nek. 13:22Ma 5:12
Nek. 13:22Nek 5:19; 13:14, 30, 31
Nek. 13:23Ezr 9:1, 2; 10:10; 2Ko 6:14
Nek. 13:23Yos 13:2, 3
Nek. 13:23Ma 23:3, 4
Nek. 13:25Ma 25:2; Ezr 7:26
Nek. 13:25Ma 7:3, 4; Nek 10:30
Nek. 13:261Sk 3:12, 13; 2By 9:22
Nek. 13:262Sa 12:24
Nek. 13:261Sk 11:1-5
Nek. 13:27Ezr 10:2
Nek. 13:28Nek 12:10
Nek. 13:28Nek 3:1; 13:4
Nek. 13:28Nek 2:10; 6:14
Nek. 13:29Kuv 40:15; Kbl 25:11-13
Nek. 13:29Mal 2:4
Nek. 13:301By 23:6; 25:1
Nek. 13:31Nek 10:34
Nek. 13:31Nek 5:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nekkemiya 13:1-31

Nekkemiya

13 Ku lunaku olwo ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira,+ ne kizuulibwa nga kyawandiikibwa nti Omwamoni n’Omumowaabu+ tebalina kujja mu kibiina kya Katonda ow’amazima,+ 2 kubanga tebaawa Bayisirayiri mmere na mazzi, naye baapangisa Balamu abakolimire,+ kyokka Katonda waffe ekikolimo n’akifuula omukisa.+ 3 Abantu olwali okuwulira Amateeka, ne baggya mu Bayisirayiri abantu bonna ab’amawanga amalala.*+

4 Ekyo nga tekinnabaawo, kabona eyali avunaanyizibwa ku materekero* g’ennyumba* ya Katonda waffe+ yali Eriyasibu,+ era yalina oluganda ku Tobiya.+ 5 Yali amuwadde ekisenge ekinene ekiterekebwamu ebintu,* edda mwe baateekanga ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’obubaani obweru, n’ebintu ebikozesebwa, n’ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke, n’eky’omwenge omusu, n’eky’amafuta,+ ebyalagirwa okuweebwa Abaleevi+ n’abayimbi n’abakuumi b’oku miryango, era mwe baateekanga n’ebiweebwayo bya bakabona.+

6 Ekiseera ekyo kyonna nnali siri mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’asatu mu ebiri+ ogw’obufuzi bwa Alutagizerugiizi+ kabaka wa Babulooni nnagenda eri kabaka; era nga wayiseewo ekiseera nnamusaba anzikirize nkomewo. 7 Bwe nnatuuka e Yerusaalemi ne ndaba ekintu ekibi ennyo Eriyasibu+ kye yali akoze; yali awadde Tobiya+ ekisenge ekiterekebwamu ebintu, mu luggya lw’ennyumba ya Katonda ow’amazima. 8 Ekyo kyannyiiza nnyo; kyennava nzigya ebintu bya Tobiya byonna eby’omu nnyumba ebyali mu kisenge ekyo ekiterekebwamu ebintu,* ne mbikasuka ebweru. 9 Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge ebiterekebwamu ebintu,* ne nzizaamu ebintu ebikozesebwa eby’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima,+ n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’obubaani obweru.+

10 Era nnakizuula nti Abaleevi+ baali tebakyaweebwa mugabo gwabwe,+ era ng’Abaleevi n’abayimbi abaali baweereza baali bazzeeyo buli omu mu kibanja kye.+ 11 Awo ne nvunaana abaami+ ne mbagamba nti: “Lwaki ennyumba ya Katonda ow’amazima eragajjaliddwa?”+ Awo ne nkuŋŋaanya Abaleevi ne mbazza ku mirimu gyabwe. 12 Awo abantu b’omu Yuda bonna ne baleeta mu materekero+ ekimu eky’ekkumi+ eky’emmere ey’empeke n’eky’omwenge omusu n’eky’amafuta. 13 Ne nteekawo Seremiya kabona ne Zadooki omukoppolozi,* ne Pedaya, omu ku Baleevi, okulabirira amaterekero; Kanani mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya ye yali abayambako. Abasajja abo baali batwalibwa okuba nga beesigika, era be baali bakwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’okugabiranga baganda baabwe omugabo gwabwe.

14 Onzijukiranga+ Ai Katonda wange olwa kino, era teweerabiranga ebikolwa ebyoleka okwagala okutajjulukuka bye nkoze ku lw’ennyumba ya Katonda wange n’olw’ebyo ebikolebwayo.+

15 Mu nnaku ezo nnalaba mu Yuda abantu abasogola omwenge ku Ssabbiiti,+ era nga baleeta ebitereke by’emmere ey’empeke nga babitisse ku ndogoyi, era nga baleeta n’omwenge n’ezzabbibu n’ettiini n’emigugu egya buli ngeri mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.+ Awo ne mbalabula obutatunda bintu ku lunaku olwo. 16 Era Abatuulo abaabeeranga mu kibuga, baaleetanga eby’ennyanja n’ebyamaguzi ebya buli ngeri ne babiguza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.+ 17 Awo ne nnyombesa abakungu b’omu Yuda ne mbagamba nti: “Kibi ki kino kye mukola, ne mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 Bajjajjammwe si bwe batyo bwe baakola, Katonda waffe n’atuleetako akabi kano konna era n’akaleeta ne ku kibuga kino? Kyokka kati mwongera okuleeta obusungu ku Isirayiri nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti.”+

19 Enzikiza bwe yali yaakatandika okukwata ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatandika, nnalagira enzigi ziggalwe. Era nnalagira nti teziggulwa okutuusa nga Ssabbiiti ewedde, era ne nteeka abamu ku baweereza bange ku miryango waleme kubaawo mugugu guyingizibwa ku lunaku lwa Ssabbiiti. 20 Abasuubuzi n’abatunzi b’ebintu ebya buli ngeri baasula wabweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri. 21 Awo ne mbalabula ne mbagamba nti: “Lwaki musula mu maaso ga bbugwe? Bwe munaakiddamu nja kukozesa lyanyi okubagobawo.” Okuva ku olwo tebaddamu kujja ku Ssabbiiti.

22 Awo ne ŋŋamba Abaleevi beetukuzenga era bajjenga bakuume emiryango, olunaku lwa Ssabbiiti lusobole okukuumibwa nga lutukuvu.+ N’olwa kino onzijukiranga, Ai Katonda wange, era n’onsaasira olw’okwagala kwo okungi okutajjulukuka.+

23 Era mu nnaku ezo nnalaba Abayudaaya abaali bawasizza* abakazi+ Abasudodi+ n’Abaamoni n’Abamowaabu.+ 24 Kimu kya kubiri eky’abaana baabwe baali boogera Lusudodi ate kimu kya kubiri nga boogera nnimi z’amawanga amalala, naye tewali n’omu ku bo yali amanyi kwogera Luyudaaya. 25 Awo ne mbayombesa era ne mbakolimira, ne nkuba abamu ku basajja+ ne nkuunyuula enviiri zaabwe era ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti: “Bawala bammwe temubawanga batabani baabwe, era nammwe temuwasanga bawala baabwe wadde okubawasiza batabani bammwe.+ 26 Abo si be baaviirako Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga mangi temwalimu kabaka eyali nga ye,+ era Katonda we yali amwagala nnyo,+ bw’atyo n’amufuula kabaka wa Isirayiri yonna. Naye abakazi abagwira baamuleetera okwonoona.+ 27 Muyinza mutya okukola ekintu ekibi ennyo bwe kityo ekitawulirwangako, ne mutaba beesigwa eri Katonda waffe ne muwasa abakazi abagwira?”+

28 Omu ku batabani ba Yoyada+ mutabani wa Eriyasibu+ kabona asinga obukulu yali awasizza muwala wa Sanubalaati+ Omukolooni, bwe ntyo ne mmugoba we ndi.

29 Obajjukiranga Ai Katonda wange, kubanga boonoonye obwakabona+ n’endagaano y’obwakabona n’ey’Abaleevi.+

30 Awo ne ntukuza abantu ne mbaggyako eby’ab’amawanga byonna ebyali biboonoona, era ne mpa bakabona n’Abaleevi emirimu, buli omu omulimu gwe yalina okukola,+ 31 era ne nkola enteekateeka ey’okuleeta enku+ mu kiseera ekigereke n’ebibala ebibereberye.

Ai Katonda wange, onzijukiranga n’ondaga ekisa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share