Ezera
10 Ezera bwe yali asaba,+ ng’ayatula ebibi ebyo, ng’akaaba, era nga yeeyaze wansi mu maaso g’ennyumba ya Katonda ow’amazima, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri ne kikuŋŋaanira we yali; mwalimu abasajja n’abakazi n’abaana, era baali bakaaba nnyo. 2 Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri+ ow’oku baana ba Eramu+ n’agamba Ezera nti: “Tukoze ekintu ekitali kya bwesigwa mu maaso ga Katonda waffe bwe tuwasizza* abakazi abagwira okuva mu bantu b’omu bitundu ebitwetoolodde.+ Wadde kiri kityo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri. 3 Kaakano ka tukole endagaano ne Katonda waffe+ okugoba abakazi abo bonna n’abaana be baazaala, nga tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa n’obw’abo abawa ebiragiro bya Katonda waffe ekitiibwa.*+ Ka tukole ng’Amateeka bwe galagira. 4 Situka, kubanga obuvunaanyizibwa buno bubwo era tuli wamu naawe. Beera mugumu era baako ky’okolawo.”
5 Awo Ezera n’asituka n’alayiza abakulu ba bakabona, n’Abaleevi, n’Abayisirayiri bonna okukolera ku bigambo ebyo.+ Bwe batyo ne balayira. 6 Awo Ezera n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda ow’amazima n’agenda mu kisenge kya* Yekokanani mutabani wa Eriyasibu. Naye wadde yagenda eyo, teyalya mmere wadde okunywa amazzi, kubanga yali munakuwavu olw’obutali bwesigwa bw’abo abaali bavudde mu buwaŋŋanguse.+
7 Awo ne balangirira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abaava mu buwaŋŋanguse bonna bakuŋŋaanire e Yerusaalemi; 8 era okusinziira ku ekyo abaami n’abakadde kye baasalawo, omuntu yenna atandizze mu nnaku ssatu, yali wa kuggibwako ebintu bye byonna era agobebwe mu kibiina ky’abantu abaava mu buwaŋŋanguse.+ 9 Awo abantu bonna ab’omu kika kya Yuda n’ekya Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga lya nnaku ssatu, mu mwezi ogw’omwenda ku lunaku olw’abiri. Abantu bonna baatuula mu luggya lw’ennyumba ya Katonda ow’amazima nga bakankana olw’obukulu bw’ensonga eyo n’olw’enkuba ennyingi.
10 Awo Ezera kabona n’asituka n’abagamba nti: “Mwakola ekintu ekitali kya bwesigwa ne muwasa abakazi abagwira+ ne mwongera ku musango Isirayiri gw’erina. 11 Kale mwatulire Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe ebibi byammwe era mukole by’ayagala. Mweyawule ku bantu ab’omu bitundu ebitwetoolodde ne ku bakazi abo abagwira.”+ 12 Awo ekibiina kyonna ne kiddamu mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Tugwanidde okukolera ddala nga bw’ogambye. 13 Naye abantu bangi, ate nga kiseera kya nkuba. Tetusobola kuyimirira wabweru, ate nga kino tekigenda kutwala lunaku lumu oba bbiri, kubanga twayonoona nnyo olw’obujeemu bwaffe. 14 Abaami baffe ka bakiikirire ekibiina kyonna;+ era n’abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasa abakazi abagwira bajje mu kiseera ekinaaba kigerekeddwa, awamu n’abakadde era n’abalamuzi ba buli kibuga, obusungu bwa Katonda waffe obutuliko olw’ensonga eno busobole okutuvaako.”
15 Kyokka Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva ne bakiwakanya, era Mesulamu ne Sabbesayi+ Abaleevi ne babawagira. 16 Naye abo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ekyo ekyali kisaliddwawo; era kabona Ezera n’abasajja abaali bakulira ennyumba za bakitaabwe, abo bonna abaawandiikibwa amannya, ne bakuŋŋaana bokka ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’ekkumi beekenneenye ensonga eyo. 17 Olunaku olusooka olw’omwezi ogusooka lwagenda okutuuka nga bamalirizza okukola ku nsonga z’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abagwira. 18 Era kyazuulibwa nti abamu ku batabani ba bakabona baali bawasizza abakazi abagwira:+ ku baana ba Yesuwa+ mutabani wa Yekozadaki ne baganda be, Maaseya, Eriyeza, Yalibu, ne Gedaliya. 19 Naye baasuubiza* okugoba bakazi baabwe, era olw’okuba baaliko omusango, baalina okuwaayo endiga ennume olw’omusango ogwo.+
20 Ku baana ba Immeri,+ Kanani ne Zebadiya; 21 ku baana ba Kalimu,+ Maaseya, Eriya, Semaaya, Yekyeri, ne Uzziya; 22 ku baana ba Pasukuli,+ Eriwenayi, Maaseya, Isimayiri, Nesaneeri, Yozabadi, ne Ereyaasa. 23 Ku Baleevi, Yozabadi, Simeeyi, Keraya (ye Kerita), Pesakiya, Yuda, ne Eriyeza; 24 ku bayimbi, Eriyasibu; ku bakuumi b’oku miryango, Salumu, Teremu, ne Uli.
25 Ku Bayisirayiri abalala, ku baana ba Palosi,+ Lamiya, Izziya, Malukiya, Miyamini, Eriyazaali, Malukiya, ne Benaya; 26 ku baana ba Eramu,+ Mattaniya, Zekkaliya, Yekyeri,+ Abudi, Yeremosi, ne Eriya; 27 ku baana ba Zattu,+ Eriwenayi, Eriyasibu, Mattaniya, Yeremosi, Zabadi, ne Aziza; 28 ku baana ba Bebayi,+ Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, ne Asulaayi; 29 ku baana ba Bani, Mesulamu, Maluki, Adaya, Yasubu, Seyaali, ne Yeremosi; 30 ku baana ba Pakasu-mowaabu,+ Aduna, Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, Binnuyi, ne Manase; 31 ku baana ba Kalimu,+ Eriyeza, Isusiya, Malukiya,+ Semaaya, Simiyoni, 32 Benyamini, Maluki, ne Semaliya; 33 ku baana ba Kasumu,+ Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase, ne Simeeyi; 34 ku baana ba Bani, Maadayi, Amulaamu, Uweri, 35 Benaya, Bedeya, Keruki, 36 Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu, 37 Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu; 38 ku baana ba Binnuyi, Simeeyi, 39 Seremiya, Nasani, Adaya, 40 Makunadebayi, Sasayi, Salayi, 41 Azaleri, Seremiya, Semaliya, 42 Salumu, Amaliya, ne Yusufu; 43 ku baana ba Nebo, Yeyeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Yaddayi, Yoweeri, ne Benaya. 44 Abo bonna baali bawasizza abakazi abagwira,+ era baabagoba awamu n’abaana baabwe.+