LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nekkemiya 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amateeka gasomebwa era ne gannyonnyolwa (1-12)

      • Embaga y’Ensiisira ekwatibwa (13-18)

Nekkemiya 8:1

Footnotes

  • *

    Oba, “omuwandiisi.”

Marginal References

  • +Nek 3:26; 12:37
  • +Ezr 7:6
  • +Ma 31:9; Yos 1:8
  • +Lev 27:34

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Enteekateeka y’Enkuŋŋaana,

    2/2016, lup. 3

Nekkemiya 8:2

Marginal References

  • +Lev 23:24; 1Sk 8:2
  • +Ma 31:12; 2By 17:8, 9; Mal 2:7

Nekkemiya 8:3

Marginal References

  • +Bik 13:15; 15:21
  • +Bik 16:14; 17:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2013, lup. 21

Nekkemiya 8:4

Footnotes

  • *

    Oba, “omuwandiisi.”

Marginal References

  • +Nek 12:40, 42

Nekkemiya 8:6

Footnotes

  • *

    Oba, “Kibeere bwe kityo!”

Marginal References

  • +Ma 27:26

Nekkemiya 8:7

Marginal References

  • +Nek 9:4
  • +Ezr 8:33; Nek 11:16
  • +Ma 33:8, 10

Nekkemiya 8:8

Marginal References

  • +Luk 24:27; Bik 8:30, 31

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 10

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 31

    6/1/1996, lup. 8-9

Nekkemiya 8:9

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:63.

  • *

    Oba, “omuwandiisi.”

Marginal References

  • +Ezr 7:11
  • +Lev 23:24

Nekkemiya 8:10

Footnotes

  • *

    Oba, “ge maanyi gammwe.”

Marginal References

  • +Es 9:19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2013, lup. 22

    12/15/2008, lup. 32

    9/1/1995, lup. 13-14

    6/1/1995, lup. 8

    4/1/1992, lup. 21

Nekkemiya 8:12

Marginal References

  • +Zb 126:1-3
  • +Nek 8:8

Nekkemiya 8:13

Footnotes

  • *

    Oba, “omuwandiisi.”

Nekkemiya 8:14

Marginal References

  • +Lev 23:34, 42; Ma 16:13, 16; Yok 7:2

Nekkemiya 8:15

Marginal References

  • +Lev 23:4

Nekkemiya 8:16

Marginal References

  • +1Sk 6:36; 7:12; 2By 4:9; 20:5
  • +Nek 3:26; 8:1, 3
  • +2Sk 14:13; Nek 12:38, 39

Nekkemiya 8:17

Marginal References

  • +Yos 1:1
  • +Ma 16:14, 15

Nekkemiya 8:18

Marginal References

  • +Ma 31:10-12
  • +Lev 23:34, 36

General

Nek. 8:1Nek 3:26; 12:37
Nek. 8:1Ezr 7:6
Nek. 8:1Ma 31:9; Yos 1:8
Nek. 8:1Lev 27:34
Nek. 8:2Lev 23:24; 1Sk 8:2
Nek. 8:2Ma 31:12; 2By 17:8, 9; Mal 2:7
Nek. 8:3Bik 13:15; 15:21
Nek. 8:3Bik 16:14; 17:11
Nek. 8:4Nek 12:40, 42
Nek. 8:6Ma 27:26
Nek. 8:7Nek 9:4
Nek. 8:7Ezr 8:33; Nek 11:16
Nek. 8:7Ma 33:8, 10
Nek. 8:8Luk 24:27; Bik 8:30, 31
Nek. 8:9Ezr 7:11
Nek. 8:9Lev 23:24
Nek. 8:10Es 9:19
Nek. 8:12Zb 126:1-3
Nek. 8:12Nek 8:8
Nek. 8:14Lev 23:34, 42; Ma 16:13, 16; Yok 7:2
Nek. 8:15Lev 23:4
Nek. 8:161Sk 6:36; 7:12; 2By 4:9; 20:5
Nek. 8:16Nek 3:26; 8:1, 3
Nek. 8:162Sk 14:13; Nek 12:38, 39
Nek. 8:17Yos 1:1
Nek. 8:17Ma 16:14, 15
Nek. 8:18Ma 31:10-12
Nek. 8:18Lev 23:34, 36
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nekkemiya 8:1-18

Nekkemiya

8 Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana wamu mu kibangirizi ekyali mu maaso g’Omulyango ogw’Amazzi+ nga bali bumu. Ne bagamba Ezera+ omukoppolozi* aleete ekitabo ky’Amateeka ga Musa,+ Yakuwa ge yawa Isirayiri.+ 2 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu,+ Ezera kabona n’aleeta Amateeka mu maaso g’ekibiina+ ky’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okuwulira ne bategeera. 3 N’asoma ekitabo ekyo mu ddoboozi ery’omwanguka+ ng’ali mu kibangirizi ekiri mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi, okuva ku makya okutuuka mu ttuntu. Yakisomera mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okutegeera, era abantu bonna baawuliriza bulungi+ ebiri mu kitabo ky’Amateeka. 4 Ezera omukoppolozi* yali ayimiridde ku kituuti eky’embaawo ekyali kikoleddwa olw’omukolo ogwo; era okumpi naye ku mukono gwe ogwa ddyo waali wayimiriddewo Mattisiya, Seema, Anaya, Uliya, Kirukiya, ne Maaseya; ate ku mukono gwe ogwa kkono waali wayimiriddewo Pedaya, Misayeri, Malukiya,+ Kasumu, Kasu-baddana, Zekkaliya, ne Mesulamu.

5 Awo Ezera n’abikkula ekitabo ng’abantu bonna balaba kubanga yali ayimiridde ku kituuti, era bwe yabikkula ekitabo abantu bonna ne bayimirira. 6 Ezera n’atendereza Yakuwa Katonda ow’amazima, Katonda Omukulu, era abantu bonna ne baddamu nti “Amiina!*+ Amiina!” era ne bawanika emikono gyabwe. Awo abantu ne bavunnamira Yakuwa obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka. 7 Era Yesuwa, Bani, Serebiya,+ Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Maaseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi,+ Kanani, ne Peraya, abaali Abaleevi, baali bannyonnyola abantu Amateeka+ ng’abantu bayimiridde. 8 Ne beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.+

9 Nekkemiya, eyali gavana* mu kiseera ekyo, ne Ezera+ kabona era omukoppolozi,* n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu eri Yakuwa Katonda wammwe.+ Temunakuwala era temukaaba.” Kubanga abantu bonna baakaaba bwe baawulira ebigambo by’Amateeka. 10 Awo n’abagamba nti: “Mugende mulye ebya ssava, munywe ebiwoomerera, era mugabire+ n’oyo atalina ky’ateeseteese, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe; temunakuwala kubanga essanyu lya Yakuwa kye kigo kyammwe.”* 11 Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna nga babagamba nti: “Musirike! kubanga olunaku luno lutukuvu, era temunakuwala.” 12 Abantu bonna ne bagenda ne balya ne banywa ne baweereza n’abalala eby’okulya era ne basanyuka nnyo+ kubanga baali bategedde ebigambo ebyali bibabuuliddwa.+

13 Ku lunaku olw’okubiri, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’abantu bonna, ne bakabona, n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira awaali Ezera omukoppolozi* basobole okweyongera okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14 Awo ne basanga nga kyawandiikibwa mu Mateeka nti Yakuwa yalagira ng’ayitira mu Musa nti Abayisirayiri balina okubeera mu nsiisira mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu,+ 15 era nti balina okulangirira+ mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi yonna nti: “Mugende mu nsozi muleete amatabi g’emizeyituuni, n’amatabi g’emiti gya payini, n’amatabi g’emikadasi, n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.”

16 Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta okuzimba ensiisira, buli omu waggulu ku nnyumba ye, mu mpya zaabwe, mu mpya z’ennyumba ya Katonda ow’amazima,+ mu kibangirizi eky’oku Mulyango gw’Amazzi,+ ne mu kibangirizi eky’oku Mulyango gwa Efulayimu.+ 17 Bwe kityo ekibiina kyonna eky’abo abaava mu buwambe ne bazimba ensiisira ne bazibeeramu. Abayisirayiri baali tebakolangako bwe batyo okuva mu kiseera kya Yoswa+ mutabani wa Nuuni okutuuka ku lunaku olwo, era waaliwo okusanyuka kwa maanyi nnyo.+ 18 Ekitabo ky’Amateeka ga Katonda ow’amazima+ kyasomebwanga buli lunaku, okuva ku lunaku olwasooka okutuuka ku lunaku olwasembayo. Baakwata embaga okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olw’enjawulo nga bwe kyalagirwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share