LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Abaruumi 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Pawulo abanjulira Feyibe (1, 2)

      • Okulamusa eri Abakristaayo b’e Rooma (3-16)

      • Bakubirizibwa okwewala enjawukana (17-20)

      • Okulamusa okuva eri abo abali ne Pawulo (21-24)

      • Ekyama ekitukuvu kati kimanyiddwa (25-27)

Abaruumi 16:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “Nsemba.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 18:18

Abaruumi 16:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 12:13; 1Yo 3:17

Abaruumi 16:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 18:2, 24, 26; 2Ti 4:19

Abaruumi 16:4

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “obulago.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Yo 3:16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2013, lup. 10-11

    7/1/1994, lup. 23

Abaruumi 16:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 16:19; Bak 4:15; Fir 2

Abaruumi 16:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 16:11

Abaruumi 16:12

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2013, lup. 28-29

Abaruumi 16:16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1994, lup. 17

Abaruumi 16:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 7:15; Tit 3:10; 2Yo 10

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 16

Abaruumi 16:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 14:20

Abaruumi 16:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 3:15; Beb 2:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Zuukuka!,

    Na. 1 2021 lup. 12-13

Abaruumi 16:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 16:7

Abaruumi 16:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 1:14

Abaruumi 16:24

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A3.

Abaruumi 16:25

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bef 1:9-12; Bak 1:26, 27

Abaruumi 16:26

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “kibikkuddwa.”

Abaruumi 16:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 11:33

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 176-178

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2009, lup. 15

    6/1/2007, lup. 17-18

Ebirala

Bar. 16:1Bik 18:18
Bar. 16:2Bar 12:13; 1Yo 3:17
Bar. 16:3Bik 18:2, 24, 26; 2Ti 4:19
Bar. 16:41Yo 3:16
Bar. 16:51Ko 16:19; Bak 4:15; Fir 2
Bar. 16:7Bar 16:11
Bar. 16:17Mat 7:15; Tit 3:10; 2Yo 10
Bar. 16:191Ko 14:20
Bar. 16:20Lub 3:15; Beb 2:14
Bar. 16:21Bar 16:7
Bar. 16:231Ko 1:14
Bar. 16:25Bef 1:9-12; Bak 1:26, 27
Bar. 16:27Bar 11:33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abaruumi 16:1-27

Abaruumi

16 Mbanjulira* mwannyinaffe Feyibe aweereza mu kibiina ky’omu Kenkereya,+ 2 musobole okumusembeza mu Mukama waffe mu ngeri egwanira abatukuvu, era mumuwe obuyambi bwonna bw’ayinza okwetaaga,+ kubanga yayamba bangi nga nange mw’ontwalidde.

3 Munnamusize Pulisika ne Akula,+ bakozi bannange mu Kristo Yesu, 4 abassa obulamu* bwabwe mu kabi ku lw’obulamu bwange,+ si nze nzekka abeebaza wabula n’ebibiina byonna eby’ab’amawanga. 5 Ate era, munnamusize n’ekibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba yaabwe.+ Munnamusize Epayineeto omwagalwa, omu ku abo abaasooka okufuuka abagoberezi ba Kristo mu Asiya. 6 Munnamusize Maliyamu abakoledde ennyo. 7 Munnamusize Anduloniiko ne Yuniya be nninako oluganda+ era basibe bannange, abamanyiddwa ennyo abatume era ababadde abagoberezi ba Kristo okumala ekiseera ekiwanvu okunsinga.

8 Munnamusize Ampuliyaato, omwagalwa mu Mukama waffe. 9 Munnamusize Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, ne Sutaku omwagalwa. 10 Munnamusize Apere, asiimibwa mu Kristo. Munnamusize ab’ennyumba ya Alisutobulo. 11 Munnamusize Kerodiyoni gwe nninako oluganda. Munnamusize ab’ennyumba ya Nalukiso abali mu Mukama waffe. 12 Munnamusize Terufayina ne Terufoosa, abakyala abakola ennyo mu Mukama waffe. Munnamusize Perusi omwagalwa waffe, kubanga yakola nnyo mu Mukama waffe. 13 Munnamusize Luufo, omulonde mu Mukama waffe, ne maama we era maama wange. 14 Munnamusize Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n’ab’oluganda abali nabo. 15 Munnamusize Firologo, Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olimpasi n’abatukuvu bonna abali nabo. 16 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu. Ebibiina byonna ebya Kristo bibalamusizza.

17 Kaakano mbakubiriza ab’oluganda okwetegereza abo abaleetawo enjawukana n’ebintu ebyesittaza ebyawukana ku ebyo bye mwayigirizibwa, era mubeewale.+ 18 Abantu ab’engeri eyo si baddu ba Mukama waffe Kristo, wabula baddu ba mbuto zaabwe, era bakozesa ebigambo ebirungi era ebiwaanawaana ne basendasenda emitima gy’abo abatalina bumanyirivu. 19 Obuwulize bwammwe bumanyiddwa abantu bonna. N’olwekyo nsanyuka ku lwammwe. Naye njagala mubeere bagezi ku bikwata ku kirungi, naye mubeere nga temulina kye mumanyi ku bikwata ku kibi.+ 20 Mu kiseera kitono, Katonda agaba emirembe ajja kubetenta Sitaani+ wansi w’ebigere byammwe. Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeere nammwe.

21 Timoseewo mukozi munnange abalamusizza, era ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, be nninako oluganda.+

22 Nze Terutiyo akoze omulimu gw’okuwandiika ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.

23 Gayo+ eyansembeza era eyasembeza n’ekibiina kyonna abalamusizza. Erasuto omuwanika w’ekibuga abalamusizza, era ne Kwaluto muganda we. 24 *​—

25 Oyo asobola okubanyweza okuyitira mu mawulire amalungi ge nnangirira, n’okuyitira mu kubuulira ebikwata ku Yesu Kristo, okusinziira ku kubikkulwa kw’ekyama ekitukuvu+ ekibadde kikwekeddwa okuva edda n’edda 26 naye nga kati kyoleseddwa* era ne kimanyisibwa eri amawanga gonna okuyitira mu Byawandiikibwa eby’obunnabbi, nga Katonda ataggwaawo bwe yalagira, amawanga gasobole okubeera n’okukkiriza, gamugondere; 27 Katonda ow’amagezi yekka,+ aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe okuyitira mu Yesu Kristo. Amiina.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza