LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Omubuulizi 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okunyigirizibwa kubi okusinga okufa (1-3)

      • Okuba n’endowooza ennungi ku kukola (4-6)

      • Omugaso gw’okuba n’ow’omukwano (7-12)

        • Ababiri basinga omu (9)

      • Obulamu bw’omufuzi butaliimu (13-16)

Omubuulizi 4:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 69:20; 142:4

Omubuulizi 4:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 3:17; Mub 2:17

Omubuulizi 4:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 20:18
  • +Mub 1:14

Omubuulizi 4:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bag 5:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 30

    3/1/1997, lup. 15-16

Omubuulizi 4:5

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “era alya omubiri gwe.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 6:10, 11; 20:4

Omubuulizi 4:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 37:16; Nge 15:16; 16:8; 17:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Zuukuka!,

    Na. 1 2020 lup. 10

    2/2014,

Omubuulizi 4:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 27:20; Mub 5:10
  • +Zb 39:6; Luk 12:18-20
  • +Mub 2:22, 23

Omubuulizi 4:9

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “baganyulwa nnyo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 2:18; Nge 27:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

Omubuulizi 4:12

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 133-134

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 111-112

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2009, lup. 18

    12/15/2008, lup. 30

Omubuulizi 4:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 19:1; 28:6, 16
  • +1Sk 22:8; 2By 25:15, 16

Omubuulizi 4:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 41:14, 40
  • +2Sa 7:8; Yob 5:11

Omubuulizi 4:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 30

Omubuulizi 4:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Sa 20:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 30

Ebirala

Mub. 4:1Zb 69:20; 142:4
Mub. 4:2Yob 3:17; Mub 2:17
Mub. 4:3Yer 20:18
Mub. 4:3Mub 1:14
Mub. 4:4Bag 5:26
Mub. 4:5Nge 6:10, 11; 20:4
Mub. 4:6Zb 37:16; Nge 15:16; 16:8; 17:1
Mub. 4:8Nge 27:20; Mub 5:10
Mub. 4:8Zb 39:6; Luk 12:18-20
Mub. 4:8Mub 2:22, 23
Mub. 4:9Lub 2:18; Nge 27:17
Mub. 4:13Nge 19:1; 28:6, 16
Mub. 4:131Sk 22:8; 2By 25:15, 16
Mub. 4:14Lub 41:14, 40
Mub. 4:142Sa 7:8; Yob 5:11
Mub. 4:162Sa 20:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Omubuulizi 4:1-16

Omubuulizi

4 Nnaddamu ne ndowooza ku bikolwa byonna eby’okunyigiriza abalala ebikolebwa wansi w’enjuba. Nnalaba amaziga g’abo abanyigirizibwa, era nga tewali ababudaabuda.+ Tewaali ababudaabuda olw’okuba abaali babanyigiriza baalina obuyinza. 2 Nnalowooza nti omufu asinga omulamu.+ 3 Naye abasinga bombi y’oyo atannazaalibwa,+ atannalaba binakuwaza ebikolebwa wansi w’enjuba.+

4 Era nkirabye nti okuvuganya kwe kuleetera abantu okukola ennyo n’okwolesa obukugu;+ ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.

5 Omusirusiru azinga emikono n’afa enjala.*+

6 Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.+

7 Nnaddamu ne ndowooza ku kintu ekirala ekitaliimu ekikolebwa wansi w’enjuba: 8 Wabaawo omuntu ng’ali bw’omu bw’ati, nga talina munne, wadde omwana, wadde muganda we, kyokka ng’akola butaweera. Amaaso ge tegamatira bya bugagga.+ Naye amala ne yeebuuza nti, ‘Ani gwe nteganira era lwaki nneerumya’?+ Ekyo nakyo butaliimu era kinakuwaza.+

9 Ababiri basinga omu,+ kubanga bafuna empeera ennungi* olw’ebyo bye bafuba okukola. 10 Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka. Naye omuntu bw’aba yekka n’agwa, ani ayinza okumuyamba okusituka?

11 Ate era ababiri bwe bagalamira awamu babuguma, naye ali obw’omu ayinza atya okubuguma? 12 Omuntu ayinza okusinza amaanyi oyo ali yekka, naye ababiri tasobola kubasinza maanyi. N’omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.

13 Omwana omwavu naye nga wa magezi asinga kabaka omukadde omusirusiru+ atakyayagala kuwabulwa.+ 14 Omwana oyo yava mu kkomera n’afuuka kabaka,+ wadde nga yazaalibwa mwavu mu bwakabaka bwa kabaka oyo.+ 15 Nnalowooza ku bantu bonna abalamu abatambulatambula wansi w’enjuba, ne ku muvubuka addira kabaka mu bigere. 16 Wadde ng’aba n’abawagizi bangi, abantu abaddawo oluvannyuma tebamusanyukira.+ Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza