LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sawulo alonda ab’omu ggye (1-4)

      • Sawulo yeetulinkiriza (5-9)

      • Samwiri anenya Sawulo (10-14)

      • Isirayiri terina bya kulwanyisa (15-23)

1 Samwiri 13:1

Footnotes

  • *

    Emyaka gye yalina tegiragibwa mu kiwandiiko ky’Olwebbulaniya.

Marginal References

  • +Bik 13:21

1 Samwiri 13:2

Marginal References

  • +1Sa 18:1; 2Sa 1:4; 21:7
  • +Yos 18:28; 1Sa 10:26

1 Samwiri 13:3

Marginal References

  • +Yos 13:2, 3; 1Sa 9:16
  • +Yos 21:8, 17
  • +Bal 3:26, 27; 6:34; 2Sa 2:28

1 Samwiri 13:4

Marginal References

  • +Yos 5:9; 1Sa 11:14

1 Samwiri 13:5

Marginal References

  • +Ma 20:1
  • +Yos 7:2; 18:11, 12; 1Sa 14:23

1 Samwiri 13:6

Marginal References

  • +1Sa 14:11

1 Samwiri 13:7

Marginal References

  • +Kbl 32:1, 33; Yos 13:24, 25

1 Samwiri 13:9

Marginal References

  • +1Sa 15:22, 23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2017, lup. 17

1 Samwiri 13:11

Marginal References

  • +1Sa 13:6, 8
  • +1Sa 13:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2000, lup. 24-25

1 Samwiri 13:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2000, lup. 24-25

1 Samwiri 13:13

Marginal References

  • +1Sa 15:11

1 Samwiri 13:14

Marginal References

  • +1Sa 15:28
  • +1Sa 16:1; 2Sa 7:15; Zb 78:70; Bik 13:22
  • +Lub 49:10; 2Sa 5:2; 7:8; 1By 28:4
  • +Nge 11:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2011, lup. 18-21

    6/1/1989, lup. 15

1 Samwiri 13:15

Marginal References

  • +1Sa 13:7; 14:2

1 Samwiri 13:16

Marginal References

  • +1Sa 13:3
  • +1Sa 13:2

1 Samwiri 13:18

Marginal References

  • +Yos 10:11

1 Samwiri 13:21

Footnotes

  • *

    Kipimo ekyakozesebwanga edda; kyalimu nga bibiri bya kusatu ebya sekeri.

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 75

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2028-2029

1 Samwiri 13:22

Marginal References

  • +1Sa 17:47, 50

1 Samwiri 13:23

Marginal References

  • +1Sa 13:2; 14:4, 5

General

1 Sam. 13:1Bik 13:21
1 Sam. 13:21Sa 18:1; 2Sa 1:4; 21:7
1 Sam. 13:2Yos 18:28; 1Sa 10:26
1 Sam. 13:3Yos 13:2, 3; 1Sa 9:16
1 Sam. 13:3Yos 21:8, 17
1 Sam. 13:3Bal 3:26, 27; 6:34; 2Sa 2:28
1 Sam. 13:4Yos 5:9; 1Sa 11:14
1 Sam. 13:5Ma 20:1
1 Sam. 13:5Yos 7:2; 18:11, 12; 1Sa 14:23
1 Sam. 13:61Sa 14:11
1 Sam. 13:7Kbl 32:1, 33; Yos 13:24, 25
1 Sam. 13:91Sa 15:22, 23
1 Sam. 13:111Sa 13:6, 8
1 Sam. 13:111Sa 13:5
1 Sam. 13:131Sa 15:11
1 Sam. 13:141Sa 15:28
1 Sam. 13:141Sa 16:1; 2Sa 7:15; Zb 78:70; Bik 13:22
1 Sam. 13:14Lub 49:10; 2Sa 5:2; 7:8; 1By 28:4
1 Sam. 13:14Nge 11:2
1 Sam. 13:151Sa 13:7; 14:2
1 Sam. 13:161Sa 13:3
1 Sam. 13:161Sa 13:2
1 Sam. 13:18Yos 10:11
1 Sam. 13:221Sa 17:47, 50
1 Sam. 13:231Sa 13:2; 14:4, 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 13:1-23

1 Samwiri

13 Sawulo yalina emyaka . . .* we yatandikira okufuga,+ era yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 2 Sawulo yalonda abasajja 3,000 okuva mu Isirayiri; 2,000 ku bo baali ne Sawulo e Mikumasi ne mu kitundu kya Beseri eky’ensozi, ate 1,000 baali ne Yonasaani+ e Gibeya+ ekya Benyamini. Abantu abalala bonna yabasiibula buli omu n’addayo mu weema ye. 3 Awo Yonasaani n’alwanyisa ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti+ ekyali e Geba+ n’akiwangula, Abafirisuuti ne bakiwulirako. Awo Sawulo n’alagira ne bafuuwa eŋŋombe+ mu ggwanga lyonna, ng’agamba nti: “Abebbulaniya ka bawulire!” 4 Isirayiri yonna n’efuna amawulire agagamba nti: “Sawulo alwanyisizza ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti n’akiwangula, era kati Abafirisuuti bakyayidde ddala Isirayiri.” Awo abantu ne bayitibwa okugoberera Sawulo e Girugaali.+

5 Awo Abafirisuuti nabo ne bakuŋŋaana okulwanyisa Abayisirayiri, nga balina amagaali g’olutalo 30,000 n’abasajja 6,000 abeebagala embalaasi, n’abasirikale bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja;+ baayambuka ne basiisira e Mikumasi ebuvanjuba wa Besi-aveni.+ 6 Abasajja ba Isirayiri ne balaba nga bali mu buzibu bwa maanyi, olw’okuba omulabe yali abali bubi; awo abantu ne beekweka mu mpuku,+ mu mpompogoma z’omu njazi, mu gayinja, mu bisenge eby’omu ttaka, ne mu binnya omuterekebwa amazzi. 7 Abebbulaniya abamu baasomoka Yoludaani ne bagenda mu kitundu kya Gaadi ne mu Gireyaadi.+ Naye ye Sawulo yali akyali Girugaali, era abantu bonna abaali bamugoberera baali bakankana olw’okutya. 8 Yalindirira okumala ennaku musanvu, ekiseera Samwiri kye yali amulagaanyizza, naye Samwiri n’atajja Girugaali, era abantu ne batandika okumuvaako nga bwe bagenda. 9 Sawulo n’alyoka agamba nti: “Mundeetere ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.+

10 Bwe yali yaakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Awo Sawulo n’agenda okumusisinkana amulamuse. 11 Samwiri n’amugamba nti: “Kiki ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti: “Ndabye ng’abantu banvaako nga bagenda,+ ate nga naawe tojjidde mu kiseera kye walagaanya, era nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanidde e Mikumasi.+ 12 Awo ne ŋŋamba muli nti, ‘Abafirisuuti bajja kujja e Girugaali bannwanyise nga sinnaba kwegayirira Yakuwa ankwatirwe ekisa.’ Kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”

13 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Okoze kya busirusiru. Togondedde kiragiro Yakuwa Katonda wo kye yakuwa.+ Singa okigondedde, Yakuwa yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isirayiri emirembe gyonna. 14 Naye obwakabaka bwo tebujja kuwangaala.+ Yakuwa ajja kufuna omusajja asanyusa omutima gwe,+ era Yakuwa ajja kumussaawo abeere omukulembeze w’abantu be,+ kubanga togondedde ekyo Yakuwa kye yakulagira.”+

15 Awo Samwiri n’asituka n’ava e Girugaali n’agenda e Gibeya ekya Benyamini, era Sawulo n’abala abantu; abantu abaali bakyali naye baali abasajja nga 600.+ 16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani awamu n’abantu abaali bakyali nabo baali babeera mu Geba+ ekya Benyamini, ate bo Abafirisuuti baali basiisidde e Mikumasi.+ 17 Abazigu baavanga mu lusiisira lw’Abafirisuuti nga bali mu bibinja bisatu. Ekibinja ekimu kyakwatanga ekkubo erigenda mu Ofula, mu kitundu ky’e Swali; 18 ekibinja ekirala kyakwatanga ekkubo erigenda e Besu-kolooni,+ ate ekibinja eky’okusatu kyakwatanga ekkubo erigenda ku nsalo eriraanye Ekiwonvu Zeboyimu, okwolekera eddungu.

19 Mu kiseera ekyo mu Isirayiri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baali bagambye nti: “Tetwagala Bebbulaniya kukola kitala wadde effumu.” 20 Abayisirayiri bonna baalina kugendanga eri Abafirisuuti okuwagala enkumbi zaabwe, n’ensuuluulu zaabwe, n’embazzi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe. 21 Omuwendo ogwasasulwanga okuwagala enkumbi, ensuuluulu, amakabi, embazzi, oba okuwanga omuwunda gwalinga pimu* emu. 22 Ku lunaku olw’okulwana olutalo, tewaali muntu n’omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani eyalina ekitala oba effumu;+ Sawulo ne mutabani we Yonasaani be bokka abaalina eby’okulwanyisa.

23 Ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti kyali kigenze awasomokerwa olukonko lw’e Mikumasi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share