Yobu
36 Eriku ne yeeyongera n’agamba nti:
2 “Ŋŋumiikirizaako katono nkunnyonnyole,
Kubanga nkyalina eby’okwogera ku lwa Katonda.
3 Nja kwogera byonna bye mmanyi,
Era nja kulangirira nti obutuukirivu bwa Mutonzi wange.+
4 Mazima ddala ebigambo byange si bya bulimba;
Oyo eyatuukirira mu kumanya+ ali wano mu maaso go.
5 Mu butuufu, Katonda wa maanyi+ era teyeesamba muntu yenna;
Alina okutegeera kungi.
7 Amaaso ge tagaggya ku batuukirivu;+
Abatuuza ku ntebe ez’obwakabaka ne bakabaka,*+ era bagulumizibwa emirembe gyonna.
8 Naye bwe basibibwa empingu
Era ne bakwatibwa mu miguwa egy’okubonyaabonyezebwa,
9 Abalaga kye bakoze,
Ebibi bye bakoze olw’amalala gaabwe.
10 Aggula amatu gaabwe bawulire okuwabulwa
Era abagamba balekere awo okwonoona.+
11 Bwe bamugondera ne bamuweereza,
Bajja kuba bulungi ennaku zaabwe zonna,
Era bajja kuba mu ssanyu emyaka gyabwe gyonna.+
13 Abatatya Katonda* bajja kusiba ekiruyi.
Ne bw’abasiba tebamwegayirira abayambe.
14 Bafa bakyali bavubuka,+
Obulamu bwabwe babumala* bali wamu ne bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu.+
15 Naye ababonaabona Katonda abanunula mu kubonaabona kwabwe;
Aggula amatu gaabwe nga banyigirizibwa.
16 Akuggya mu buzibu+
N’akutwala mu kifo ekigazi awatali kukugirwa,+
Ng’emmere ewooma eri ku mmeeza yo kye kikubagizo gy’oli.+
17 Awo oliba mumativu ng’ababi basaliddwa omusango,+
Omusango nga gusaliddwa ne wabaawo obwenkanya.
19 Okuwanjaga
Oba okufuba kwo kunaakuwonya ennaku?+
20 Teweegomba budde bwa kiro,
Abantu we baviira mu bifo byabwe.
21 Weegendereze oleme kukola kibi,
N’olondawo ekyo mu kifo ky’okubonaabona.+
22 Laba! Katonda agulumiziddwa mu buyinza bwe;
Muyigiriza ki alinga ye?
25 Abantu bonna bagirabye,
Abantu bagirengerera wala.
31 Ebyo by’akozesa okubeesaawo abantu;
Abawa emmere mu bungi.+
32 Akwata okumyansa kw’eggulu n’engalo ze,
N’akwolekeza ekyo kye kugenda okukuba.+
33 Okubwatuka kwe okw’eggulu kumwogerako,
N’ebisibo bitutegeeza oyo ajja.*