Yoswa
5 Bakabaka bonna Abaamoli+ abaali ku ludda olw’ebugwanjuba* olwa Yoludaani ne bakabaka bonna ab’Abakanani+ abaali okumpi n’ennyanja olwawulira nti Yakuwa yali akalizza amazzi g’Omugga Yoludaani okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okusomoka, ne batya nnyo*+ era ne baggweeramu ddala amaanyi* olw’Abayisirayiri.+
2 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Kola obwambe obw’amayinja ag’embaalebaale oddemu okomole+ abasajja ba Isirayiri omulundi ogw’okubiri.” 3 Yoswa n’akola obwambe obw’amayinja ag’embaalebaale n’akomolera abasajja ba Isirayiri e Gibeyasu-kaalalosi.*+ 4 Eno ye nsonga lwaki Yoswa yabakomola: Abasajja bonna abaava mu Misiri, abasajja bonna abalwanyi,* baali bafiiridde mu ddungu ku lugendo nga bamaze okuva e Misiri.+ 5 Abantu bonna abaava mu Misiri baali bakomole, naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu ku lugendo nga bamaze okuva e Misiri, tebaali bakomole. 6 Abayisirayiri baali batambulidde emyaka 40+ mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, kwe kugamba, abasajja abalwanyi abaava e Misiri, abataawuliriza ddoboozi lya Yakuwa,+ lwe baafa. Yakuwa yali yabalayirira nti talibakkiriza kulaba nsi+ Yakuwa gye yalayirira bajjajjaabwe okugituwa,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 7 Yazza abaana baabwe mu kifo kyabwe.+ Abo Yoswa be yakomola; tebaali bakomole olw’okuba tebaakomolebwa nga bali ku lugendo.
8 Bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, abantu ne basigala we baali mu lusiisira okutuusa lwe baawona.
9 Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Awo ekifo ekyo ne kiyitibwa Girugaali+ n’okutuusa leero.
10 Abayisirayiri ne beeyongera okusiisira e Girugaali, ne bakwata embaga ey’Okuyitako, akawungeezi, ku lunaku lw’omwezi olw’ekkumi n’ennya+ mu ddungu lya Yeriko. 11 Ne balya ku birime by’ensi ku lunaku olwaddirira embaga ey’Okuyitako. Ku lunaku olwo, baalya emigaati egitali mizimbulukuse+ n’emmere ey’empeke ensiike. 12 Awo emmaanu n’erekera awo okulabika ku lunaku olwaddirira, olunaku lwe baalya ku birime by’omu nsi eyo; Abayisirayiri tebaddamu kufuna mmaanu,+ era baatandika okulya ebimu ku birime by’omu nsi ya Kanani mu mwaka ogwo.+
13 Awo Yoswa bwe yali ng’ali kumpi ne Yeriko, n’alaba omusajja+ ng’ayimiridde mu maaso ge ng’akutte ekitala mu mukono gwe.+ Yoswa n’amusemberera n’amubuuza nti: “Oli ku ludda lwaffe oba ku ludda lw’abalabe baffe?” 14 N’amuddamu nti: “Nedda, naye nzize ng’omulangira* w’eggye lya Yakuwa.”+ Awo Yoswa n’avunnama era ne yeeyala wansi, n’amubuuza nti: “Kiki mukama wange ky’agamba omuweereza we?” 15 Omulangira w’eggye lya Yakuwa n’amuddamu nti: “Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.” Amangu ago Yoswa n’aggyamu engatto ze.+