LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 48
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Isirayiri anenyezebwa era alongoosebwa (1-11)

      • Yakuwa ajja kubonereza Babulooni (12-16a)

      • Katonda by’ayigiriza bigasa (16b-19)

      • “Mufulume mu Babulooni!” (20-22)

Isaaya 48:1

Footnotes

  • *

    Obut., “mu mazzi ga Yuda.”

Marginal References

  • +Lub 32:28
  • +Ma 6:13
  • +Lev 19:12; Zef 1:4, 5

Isaaya 48:2

Marginal References

  • +Is 52:1
  • +Yer 21:1, 2

Isaaya 48:3

Marginal References

  • +Is 42:9
  • +Yos 21:45; Is 55:10, 11

Isaaya 48:4

Marginal References

  • +Kuv 32:9; 2Sk 17:13, 14; 2By 36:15, 16; Zb 78:8; Ezk 3:7

Isaaya 48:5

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

Isaaya 48:6

Marginal References

  • +Is 43:10
  • +Is 42:9; 65:17

Isaaya 48:8

Marginal References

  • +Is 29:10
  • +Yer 5:11; 9:2
  • +Ma 9:7; Zb 95:10

Isaaya 48:9

Marginal References

  • +1Sa 12:22; Zb 25:11; 79:9; Yer 14:7
  • +Nek 9:30, 31; Zb 78:38

Isaaya 48:10

Footnotes

  • *

    Oba, “Nkwekenneenyezza.” Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nkulonze.”

Marginal References

  • +Nge 17:3
  • +Is 1:25; Yer 9:7

Isaaya 48:11

Footnotes

  • *

    Oba, “Ekitiibwa kyange sikigabana na mulala yenna.”

Marginal References

  • +Is 48:9
  • +Ezk 20:9

Isaaya 48:12

Marginal References

  • +Is 43:13; 46:4
  • +Is 44:6; Kub 1:8; 22:13

Isaaya 48:13

Marginal References

  • +Yob 38:4
  • +Is 40:22; 42:5

Isaaya 48:14

Marginal References

  • +Is 45:1
  • +Is 44:28
  • +Is 13:19; Yer 50:13

Isaaya 48:15

Marginal References

  • +Is 41:2
  • +Is 45:5

Isaaya 48:16

Marginal References

  • +Is 45:19

Isaaya 48:17

Footnotes

  • *

    Oba, “ku lw’obulungi bwo.”

Marginal References

  • +Is 43:14; 44:6; 54:5
  • +1Sk 8:36; Zb 25:8; Is 54:13; Mi 4:2
  • +Zb 32:8; Is 30:20, 21; 49:10

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 8

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1994, lup. 8-12

Isaaya 48:18

Marginal References

  • +Ma 5:29; Zb 81:13, 14
  • +Zb 119:165; Is 32:18; 66:12
  • +Am 5:23, 24

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 8

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 228-229

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    2/2017, lup. 2

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 198-199

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 25

    4/1/2007, lup. 6

    10/1/1994, lup. 8

    Okumanya, lup. 118

Isaaya 48:19

Marginal References

  • +Lub 22:15, 17; Yer 33:22; Kos 1:10

Isaaya 48:20

Marginal References

  • +Yer 50:8; Kub 18:4
  • +Is 49:13
  • +Yer 50:2
  • +Yer 31:10, 11

Isaaya 48:21

Marginal References

  • +Kuv 15:24, 25; Ma 8:14, 15; Is 43:19
  • +Kuv 17:5, 6; Kbl 20:11

Isaaya 48:22

Marginal References

  • +Is 57:20, 21

General

Is. 48:1Lub 32:28
Is. 48:1Ma 6:13
Is. 48:1Lev 19:12; Zef 1:4, 5
Is. 48:2Is 52:1
Is. 48:2Yer 21:1, 2
Is. 48:3Is 42:9
Is. 48:3Yos 21:45; Is 55:10, 11
Is. 48:4Kuv 32:9; 2Sk 17:13, 14; 2By 36:15, 16; Zb 78:8; Ezk 3:7
Is. 48:6Is 43:10
Is. 48:6Is 42:9; 65:17
Is. 48:8Is 29:10
Is. 48:8Yer 5:11; 9:2
Is. 48:8Ma 9:7; Zb 95:10
Is. 48:91Sa 12:22; Zb 25:11; 79:9; Yer 14:7
Is. 48:9Nek 9:30, 31; Zb 78:38
Is. 48:10Nge 17:3
Is. 48:10Is 1:25; Yer 9:7
Is. 48:11Is 48:9
Is. 48:11Ezk 20:9
Is. 48:12Is 43:13; 46:4
Is. 48:12Is 44:6; Kub 1:8; 22:13
Is. 48:13Yob 38:4
Is. 48:13Is 40:22; 42:5
Is. 48:14Is 45:1
Is. 48:14Is 44:28
Is. 48:14Is 13:19; Yer 50:13
Is. 48:15Is 41:2
Is. 48:15Is 45:5
Is. 48:16Is 45:19
Is. 48:17Is 43:14; 44:6; 54:5
Is. 48:171Sk 8:36; Zb 25:8; Is 54:13; Mi 4:2
Is. 48:17Zb 32:8; Is 30:20, 21; 49:10
Is. 48:18Ma 5:29; Zb 81:13, 14
Is. 48:18Zb 119:165; Is 32:18; 66:12
Is. 48:18Am 5:23, 24
Is. 48:19Lub 22:15, 17; Yer 33:22; Kos 1:10
Is. 48:20Yer 50:8; Kub 18:4
Is. 48:20Is 49:13
Is. 48:20Yer 50:2
Is. 48:20Yer 31:10, 11
Is. 48:21Kuv 15:24, 25; Ma 8:14, 15; Is 43:19
Is. 48:21Kuv 17:5, 6; Kbl 20:11
Is. 48:22Is 57:20, 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 48:1-22

Isaaya

48 Muwulire kino mmwe ennyumba ya Yakobo,

Mmwe abeeyita erinnya lya Isirayiri+

Era abaava mu lunyiriri lwa Yuda,*

Mmwe abalayira mu linnya lya Yakuwa+

Era abakoowoola Katonda wa Isirayiri,

Wadde nga kino temukikola mu mazima na butuukirivu.+

 2 Kubanga beeyita ba mu kibuga ekitukuvu+

Era obwesige bwabwe babutadde mu Katonda wa Isirayiri,+

Ayitibwa Yakuwa ow’eggye.

 3 “Ebintu ebyasooka nnabikubuulira dda.

Byava mu kamwa kange,

Era nnabimanyisa.+

Nnabaako kye nkolawo mu bwangu ne bibaawo.+

 4 Kubanga nnali nkimanyi nti oli muwaganyavu nnyo

—Nti ebinywa by’ensingo yo biringa ekyuma, era nti n’ekyenyi kyo kiringa ekikomo+—

 5 Nnakubuulira dda.

Nnakusobozesa okukiwulira nga tekinnabaawo,

Oleme kugamba nti, ‘Ekifaananyi kyange kye kyakola kino;

Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi kyange eky’ekyuma,* bye byalagira kino kibeewo.’

 6 Bino byonna mwabiwulira era ne mubiraba.

Temuubirangirire?+

Okuva kati nnangirira gye muli ebintu ebipya,+

Ebyama ebibadde bikisiddwa, bye mubadde mutamanyi.

 7 Bitondebwa kati, so tebyatondebwa dda,

Ebintu by’obadde tonnawulira okutuusa leero,

Oleme kugamba nti, ‘Mbadde mbimanyi!’

 8 Mazima ddala tobiwulirangako,+ tobimanyi,

Era edda amatu go tegaali maggule.

Kubanga nkimanyi nti oli mukuusa,+

Era obadde oyitibwa mukozi wa bibi okuva lwe wazaalibwa.+

 9 Naye olw’erinnya lyange ndizibiikiriza obusungu bwange;+

Olw’ettendo lyange ndyefuga,

Ne sikuzikiriza.+

10 Laba! Nkulongoosezza, naye si nga ffeeza bw’alongoosebwa.+

Nkugezesezza* mu kyoto mwe basaanuusiza ebyuma, kwe kugamba, mu kubonyaabonyezebwa.+

11 Mazima ddala, olw’erinnya lyange ndibaako kye nkolawo,+

Kubanga nnyinza ntya okuleka erinnya lyange okuvvoolwa?+

Ekitiibwa kyange sikiwa mulala.*

12 Ggwe Yakobo, era ggwe Isirayiri gwe nnayita, mpuliriza.

Sikyuka.+ Nze ow’olubereberye era nze ow’oluvannyuma.+

13 Omukono gwange gwe gwassaawo omusingi gw’ensi,+

Era omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu.+

Bwe mbiyita, biyimirira wamu.

14 Mukuŋŋaane wamu mmwenna, muwulirize.

Ani ku bo eyalangirira ebintu bino?

Oyo nze Yakuwa gwe njagala.+

Alikola Babulooni kye njagala.+

Omukono gwe gulirwanyisa Abakaludaaya.+

15 Nze nnayogera, era nze nnamuyita.+

Nze nnamuleeta, era alituuka ku buwanguzi.+

16 Musembere we ndi, muwulire kino.

Okuviira ddala ku lubereberye soogererangako mu kyama.+

Okuva lwe kyabaawo nnaliwo.”

Era kati Yakuwa Mukama Afuga Byonna antumye, n’omwoyo gwe.

17 Bw’ati Yakuwa, Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri bw’agamba:+

“Nze Yakuwa, nze Katonda wo,

Akuyigiriza osobole okuganyulwa,*+

Akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.+

18 Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange!+

Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga+

N’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.+

19 Ezzadde lyo lijja kuba lingi ng’omusenyu

Ne bazzukulu bo bajja kuba ng’obuweke bwagwo.+

Erinnya lyabwe terijja kusangulwa oba kusaanawo mu maaso gange.”

20 Mufulume mu Babulooni!+

Mudduke Abakaludaaya!

Mukyogereko n’essanyu! Mukirangirire!+

Mukimanyise ensi yonna.+

Mugambe nti: “Yakuwa anunudde Yakobo omuweereza we.+

21 Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.+

Yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi;

Yayasaamu olwazi amazzi ne gafubutukamu.”+

22 Yakuwa agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share