Abeefeso
1 Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu nga Katonda bwe yayagala, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso+ abeesigwa era nga bali bumu ne Kristo Yesu:
2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.
3 Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga atuwadde buli mukisa ogw’eby’omwoyo mu bifo eby’omu ggulu nga tuli bumu ne Kristo,+ 4 nga bwe yatulonda okuba obumu naye* ng’ensi tennatandika,* tusobole okuba abatukuvu era nga tetuliiko kamogo+ mu maaso ge olw’okwagala kwe tulina eri Katonda. 5 Kubanga yatulonda dda+ atufuule abaana be+ okuyitira mu Yesu Kristo nga bwe yasiima era nga bwe yayagala,+ 6 alyoke atenderezebwe olw’ekisa kye eky’ensusso+ kye yatulaga ng’ayitira mu Mwana we omwagalwa.+ 7 Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe+ era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe+ okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.
8 Ekisa kino eky’ensusso yakitulaga mu bungi ng’atuwa amagezi gonna n’okutegeera, 9 era n’atutegeeza ekyama ekitukuvu+ eky’ebyo by’ayagala. Ekyama kino kikwatagana n’ebyo by’ayagala era n’ekigendererwa kye 10 eky’okussaawo engeri y’okuddukanyaamu ebintu ng’ekiseera ekigereke kiweddeko, akuŋŋaanye ebintu byonna mu Kristo, ebintu eby’omu ggulu n’eby’oku nsi.+ Ebintu byonna birikuŋŋaanyizibwa mu Kristo 11 bwe tuli obumu era bwe twalondebwa okuba abasika,+ kubanga twali twalondebwa dda okusinziira ku kigendererwa ky’oyo akola ebintu byonna ng’asazeewo nga bw’ayagala, 12 ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo tusobole okumuleetera ettendo n’okugulumizibwa. 13 Naye era nammwe mwamusuubiriramu bwe mwamala okuwulira ekigambo eky’amazima, amawulire amalungi agakwata ku bulokozi bwammwe. Okuyitira mu ye bwe mwamala okukkiriza, Katonda yabateekako akabonero+ ng’akozesa omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa, 14 nga bwe bukakafu obulaga nti tujja kufuna obusika bwaffe+ olw’ekigendererwa eky’okusumulula abantu ba Katonda+ okuyitira mu kinunulo,+ Katonda asobole okutenderezebwa n’okuweebwa ekitiibwa.
15 Eyo ye nsonga lwaki nange okuva bwe nnawulira ku kukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu n’okwagala kwe mulaga abatukuvu bonna, 16 sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Bulijjo mboogerako mu kusaba kwange, 17 Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe omwoyo ogw’amagezi era musobole okutegeera ebintu by’abikkula.+ 18 Amulisizza amaaso g’emitima gyammwe, musobole okutegeera essuubi lye yabayitira, obugagga obw’ekitiibwa bw’aterekedde abatukuvu ng’eky’obusika,+ 19 n’amaanyi ge ag’ensusso g’ayolesezza gye tuli ffe abakkiriza.+ Amaanyi ge amangi gaalabibwa, 20 bwe yazuukiza Kristo mu bafu n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo+ mu bifo eby’omu ggulu, 21 waggulu ennyo okusinga buli gavumenti, obuyinza, amaanyi, obwami era na buli linnya eryatuumibwa,+ si mu nteekateeka y’ebintu* eno yokka, naye ne mu eyo egenda okujja. 22 Era yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye,+ n’amufuula omutwe gw’ebintu byonna ebikwataganyizibwa n’ekibiina,+ 23 nga gwe mubiri gwe,+ ogujjudde oyo ajjuza ebintu byonna mu byonna.