LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Yokaana 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okukkiririza mu Yesu kutusobozesa okuwangula ensi (1-12)

        • Okwagala Katonda kye kitegeeza (3)

      • Obwesige bwe tulina mu kusaba (13-17)

      • Mubeere bulindaala mu nsi embi (18-21)

        • Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi (19)

1 Yokaana 5:1

Marginal References

  • +Yok 3:3; 1Pe 1:3, 23; 1Yo 3:9

1 Yokaana 5:2

Marginal References

  • +Yok 1:12, 13; Bar 8:14

1 Yokaana 5:3

Marginal References

  • +Yok 14:23
  • +Ma 30:11; Mi 6:8

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 8

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 5-12

    Baibuli Ky’Eyigiriza, lup. 186-187

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 311

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 5-12

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2009, lup. 25

    8/15/2009, lup. 19

    9/1/2005, lup. 21

    7/1/2002, lup. 18

    2/1/1997, lup. 11-15, 16-17

1 Yokaana 5:4

Footnotes

  • *

    Obut., “buli ekizaalibwa.”

Marginal References

  • +Yok 16:33; 1Yo 5:18
  • +Bef 6:16; 2Ti 4:7; Kub 12:10, 11

1 Yokaana 5:5

Marginal References

  • +1Yo 4:4
  • +Yok 20:31

Indexes

  • Research Guide

    Sinza Katonda, lup. 75-76

1 Yokaana 5:6

Marginal References

  • +Mat 3:13
  • +Bik 20:28; Bef 1:7; 1Pe 1:19
  • +Mat 3:16; Yok 1:32, 33

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 28

1 Yokaana 5:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 4 2016 lup. 6-7

    Zuukuka!,

    Na. 6 2016 lup. 11

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2014, lup. 15

    12/15/2008, lup. 28

1 Yokaana 5:8

Marginal References

  • +Luk 3:22; 4:18
  • +Luk 3:21
  • +Beb 9:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 28

1 Yokaana 5:10

Marginal References

  • +Yok 3:33

1 Yokaana 5:11

Marginal References

  • +Yok 17:3
  • +Yok 5:26

1 Yokaana 5:12

Marginal References

  • +Yok 3:36

1 Yokaana 5:13

Marginal References

  • +Yok 20:31
  • +1Yo 1:2

1 Yokaana 5:14

Marginal References

  • +Beb 4:16; 1Yo 3:21
  • +Nge 15:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2021 lup. 10

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2009, lup. 21

    9/1/2004, lup. 14

    Okumanya, lup. 154-155

1 Yokaana 5:15

Marginal References

  • +Luk 11:13; Yok 14:13

1 Yokaana 5:16

Marginal References

  • +Yak 5:15; 1Yo 1:9
  • +Mat 12:31; Mak 3:29; Luk 12:10; Beb 6:4-6; 10:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2001, lup. 29-30

1 Yokaana 5:17

Marginal References

  • +1Yo 3:4

1 Yokaana 5:18

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

  • *

    Oba, “tamwenywezaako.”

Marginal References

  • +Yok 17:15

1 Yokaana 5:19

Marginal References

  • +Luk 4:6

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 26

    Zuukuka!,

    Na. 1 2021 lup. 10-11

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2014, lup. 16

    5/1/2013, lup. 4

    11/1/2002, lup. 25

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 122

1 Yokaana 5:20

Marginal References

  • +1Ti 3:16
  • +Yok 17:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2012, lup. 6

1 Yokaana 5:21

Marginal References

  • +1Ko 10:14

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 45

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/1993, lup. 23

General

1 Yok. 5:1Yok 3:3; 1Pe 1:3, 23; 1Yo 3:9
1 Yok. 5:2Yok 1:12, 13; Bar 8:14
1 Yok. 5:3Yok 14:23
1 Yok. 5:3Ma 30:11; Mi 6:8
1 Yok. 5:4Yok 16:33; 1Yo 5:18
1 Yok. 5:4Bef 6:16; 2Ti 4:7; Kub 12:10, 11
1 Yok. 5:51Yo 4:4
1 Yok. 5:5Yok 20:31
1 Yok. 5:6Mat 3:13
1 Yok. 5:6Bik 20:28; Bef 1:7; 1Pe 1:19
1 Yok. 5:6Mat 3:16; Yok 1:32, 33
1 Yok. 5:8Luk 3:22; 4:18
1 Yok. 5:8Luk 3:21
1 Yok. 5:8Beb 9:14
1 Yok. 5:10Yok 3:33
1 Yok. 5:11Yok 17:3
1 Yok. 5:11Yok 5:26
1 Yok. 5:12Yok 3:36
1 Yok. 5:13Yok 20:31
1 Yok. 5:131Yo 1:2
1 Yok. 5:14Beb 4:16; 1Yo 3:21
1 Yok. 5:14Nge 15:29
1 Yok. 5:15Luk 11:13; Yok 14:13
1 Yok. 5:16Yak 5:15; 1Yo 1:9
1 Yok. 5:16Mat 12:31; Mak 3:29; Luk 12:10; Beb 6:4-6; 10:26
1 Yok. 5:171Yo 3:4
1 Yok. 5:18Yok 17:15
1 Yok. 5:19Luk 4:6
1 Yok. 5:201Ti 3:16
1 Yok. 5:20Yok 17:3
1 Yok. 5:211Ko 10:14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Yokaana 5:1-21

1 Yokaana

5 Buli muntu akkiriza nti Yesu ye Kristo aba yazaalibwa Katonda,+ era buli muntu ayagala Katonda aba ayagala n’abaana ba Katonda. 2 Bwe tuba nga twagala Katonda era nga tukwata ebiragiro bye, ku ekyo kwe tumanyira nti twagala abaana ba Katonda.+ 3 Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye;+ era ebiragiro bye tebizitowa,+ 4 kubanga buli azaalibwa* Katonda awangula ensi.+ Era okukkiriza kwaffe kwe kutusobozesezza okuwangula ensi.+

5 Ani asobola okuwangula ensi?+ Si y’oyo akkiriza nti Yesu ye Mwana wa Katonda?+ 6 Yesu Kristo oyo ye yajja ng’ayitira mu mazzi ne mu musaayi, si na mazzi gokka,+ wabula n’amazzi n’omusaayi.+ Era omwoyo guwa obujulirwa,+ kubanga omwoyo ge mazima. 7 Waliwo abawa obujulirwa basatu: 8 omwoyo,+ amazzi,+ n’omusaayi;+ era abasatu abo bassa kimu.

9 Bwe tuba nga tukkiriza obujulirwa abantu bwe bawa, obujulirwa Katonda bw’awa twandibadde tubukkiriza nnyo n’okusingawo, kubanga obujulirwa Katonda bw’awa bukwata ku Mwana we. 10 Omuntu akkiririza mu Mwana wa Katonda aba n’obujulirwa munda mu ye. Omuntu atakkiririza mu Katonda aba amufudde mulimba,+ kubanga aba takkiririza mu bujulirwa Katonda bw’awadde ku Mwana we. 11 Era obujulirwa obuweereddwa bwe buno, nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo+ era obulamu buno buli mu Mwana we.+ 12 Oyo akkiriza Omwana aba n’obulamu buno; oyo atakkiriza Mwana wa Katonda taba na bulamu buno.+

13 Mbawandiikira ebintu bino musobole okumanya nti mmwe abakkiririza mu linnya lw’Omwana wa Katonda+ mulina obulamu obutaggwaawo.+ 14 Era buno bwe bwesige bwe tulina mu ye,+ nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.+ 15 Ate era, bwe tumanya nti awulira buli kye tusaba, tumanya nti tujja kufuna bye tusabye kubanga tuba tubisabye ye.+

16 Singa omuntu yenna alaba muganda we ng’akola ekibi ekitaleeta kufa, amusabirenga, era Katonda ajja kumuwa obulamu.+ Kino kikwata ku abo abakola ekibi ekitaleeta kufa. Naye waliwo ekibi ekireeta okufa.+ Simugamba kusabira muntu akola ekibi ng’ekyo. 17 Obutali butuukirivu bwonna buba kibi;+ naye waliwo ekibi ekitaleeta kufa.

18 Tumanyi nti buli muntu azaalibwa Katonda tatambulira mu kibi, era oyo azaalibwa Katonda* amukuuma, era omubi tamukwatako.*+ 19 Tumanyi nti tuli ba Katonda, naye ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.+ 20 Tumanyi nti Omwana wa Katonda yajja,+ era yatuwa okutegeera tusobole okumanya oyo ow’amazima. Era okuyitira mu Mwana we Yesu Kristo, tuli bumu n’ow’amazima. Oyo ye Katonda ow’amazima era ensibuko y’obulamu obutaggwaawo.+ 21 Abaana abato, mwekuume ebifaananyi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share