LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 41
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Awangula amawanga ava buvanjuba (1-7)

      • Isirayiri yalondebwa okuba omuweereza wa Katonda (8-20)

        • “Ibulayimu mukwano gwange” (8)

      • Bakatonda abalala basoomoozebwa (21-29)

Isaaya 41:1

Footnotes

  • *

    Oba, “Musirike mu maaso gange.”

Marginal References

  • +Is 41:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1988, lup. 6-7

Isaaya 41:2

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, okuweereza Katonda.

Marginal References

  • +Is 44:28; 46:11; Kub 16:12
  • +Is 45:1

Isaaya 41:4

Marginal References

  • +Is 43:10; 44:6; 48:12; Kub 1:8
  • +Is 46:4; Mal 3:6; Yak 1:17

Isaaya 41:7

Marginal References

  • +Is 44:12; 46:6

Isaaya 41:8

Marginal References

  • +Kuv 19:5, 6; Lev 25:42
  • +Ma 7:6; Zb 33:12
  • +2By 20:7; Yak 2:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2014, lup. 21-22

Isaaya 41:9

Marginal References

  • +Zb 107:2, 3
  • +Is 43:10
  • +1Sa 12:22; Yer 33:25, 26

Isaaya 41:10

Marginal References

  • +Ma 20:1; Zb 46:1; Bar 8:31
  • +Is 60:19, 20
  • +Ma 33:27; Zb 115:9

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 8

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 2-7

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2018, lup. 16

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2016, lup. 18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2012, lup. 22

Isaaya 41:11

Marginal References

  • +Is 45:24
  • +Is 40:17; 60:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 7

Isaaya 41:12

Marginal References

  • +Is 54:17

Isaaya 41:13

Marginal References

  • +Ma 33:29

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 8

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 3

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2016, lup. 18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2012, lup. 22

    10/1/2006, lup. 28

    1/1/2005, lup. 13

Isaaya 41:14

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, atalina mwasirizi era omunaku.

Marginal References

  • +Ma 7:7
  • +Is 43:14; 47:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2019, lup. 3

Isaaya 41:15

Marginal References

  • +Mi 4:13

Isaaya 41:16

Marginal References

  • +Is 25:9
  • +Is 12:6

Isaaya 41:17

Marginal References

  • +Ma 28:48; Am 8:11
  • +Is 30:19; 55:1
  • +Zb 94:14; Is 42:16; Beb 13:5

Isaaya 41:18

Marginal References

  • +Is 30:25
  • +Yow. 3:18
  • +Zb 107:35

Isaaya 41:19

Marginal References

  • +Is 32:14, 15; 60:21
  • +Is 51:3; 55:13

Isaaya 41:20

Marginal References

  • +Ezk 39:28

Isaaya 41:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1988, lup. 3-8

Isaaya 41:22

Footnotes

  • *

    Obut., “ebyasooka.”

  • *

    Oba, “Tubisseeko omutima.”

Marginal References

  • +Is 42:9; 46:9, 10; 48:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1994, lup. 20

    9/1/1988, lup. 6-7

Isaaya 41:23

Marginal References

  • +Is 44:6, 7
  • +Yer 10:5

Isaaya 41:24

Marginal References

  • +Is 44:10; Yer 10:14, 15
  • +Ma 7:26; 27:15; Zb 115:4, 8

Isaaya 41:25

Marginal References

  • +Is 44:28; 45:1; Yer 51:28, 29
  • +Is 46:11; Kub 16:12
  • +Mi 7:10

Isaaya 41:26

Marginal References

  • +Is 43:9; 44:7; 45:21
  • +Kab 2:18, 19

Isaaya 41:27

Marginal References

  • +Is 43:10
  • +Ezr 1:1, 2; Is 40:9

Isaaya 41:29

Footnotes

  • *

    Oba, “kintu ekitaliiwo.”

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

Marginal References

  • +Zb 115:4-8; Is 44:9; 1Ko 8:4

General

Is. 41:1Is 41:21
Is. 41:2Is 44:28; 46:11; Kub 16:12
Is. 41:2Is 45:1
Is. 41:4Is 43:10; 44:6; 48:12; Kub 1:8
Is. 41:4Is 46:4; Mal 3:6; Yak 1:17
Is. 41:7Is 44:12; 46:6
Is. 41:8Kuv 19:5, 6; Lev 25:42
Is. 41:8Ma 7:6; Zb 33:12
Is. 41:82By 20:7; Yak 2:23
Is. 41:9Zb 107:2, 3
Is. 41:9Is 43:10
Is. 41:91Sa 12:22; Yer 33:25, 26
Is. 41:10Ma 20:1; Zb 46:1; Bar 8:31
Is. 41:10Is 60:19, 20
Is. 41:10Ma 33:27; Zb 115:9
Is. 41:11Is 45:24
Is. 41:11Is 40:17; 60:12
Is. 41:12Is 54:17
Is. 41:13Ma 33:29
Is. 41:14Ma 7:7
Is. 41:14Is 43:14; 47:4
Is. 41:15Mi 4:13
Is. 41:16Is 25:9
Is. 41:16Is 12:6
Is. 41:17Ma 28:48; Am 8:11
Is. 41:17Is 30:19; 55:1
Is. 41:17Zb 94:14; Is 42:16; Beb 13:5
Is. 41:18Is 30:25
Is. 41:18Yow. 3:18
Is. 41:18Zb 107:35
Is. 41:19Is 32:14, 15; 60:21
Is. 41:19Is 51:3; 55:13
Is. 41:20Ezk 39:28
Is. 41:22Is 42:9; 46:9, 10; 48:5
Is. 41:23Is 44:6, 7
Is. 41:23Yer 10:5
Is. 41:24Is 44:10; Yer 10:14, 15
Is. 41:24Ma 7:26; 27:15; Zb 115:4, 8
Is. 41:25Is 44:28; 45:1; Yer 51:28, 29
Is. 41:25Is 46:11; Kub 16:12
Is. 41:25Mi 7:10
Is. 41:26Is 43:9; 44:7; 45:21
Is. 41:26Kab 2:18, 19
Is. 41:27Is 43:10
Is. 41:27Ezr 1:1, 2; Is 40:9
Is. 41:29Zb 115:4-8; Is 44:9; 1Ko 8:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 41:1-29

Isaaya

41 “Musirike mumpulirize* mmwe ebizinga;

Amawanga ka gaddemu okufuna amaanyi.

Ka gasembere googere.+

Ka tukuŋŋaane wamu wabeewo okusala omusango.

 2 Ani alina gw’ayimusizza okuva ebuvanjuba,+

N’amuyita mu butuukirivu okujja awali ebigere bye,*

Okuwaayo amawanga gy’ali

N’okumusobozesa okuwangula bakabaka?+

Ani abafuula enfuufu mu maaso g’ekitala kye,

Abafuula ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga mu maaso g’omutego gwe ogw’obusaale?

 3 Abagoba era tafuna kuziyizibwa kwonna

Ng’ayita mu makubo ebigere bye mwe bitayitanga.

 4 Ani akoze kino,

Ayita ab’emirembe egy’enjawulo okuva ku lubereberye?

Nze Yakuwa, nze ow’Olubereberye;+

N’eri ab’oluvannyuma, sikyuka.”+

 5 Ebizinga bikirabye ne bitya.

Ebitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala byatandika okukankana.

Abantu bajja ne basembera.

 6 Buli omu ayamba munne

Era n’agamba muganda we nti: “Beera mugumu.”

 7 Omukozi azzaamu omuweesi amaanyi;+

Oyo abyabyataza ng’akozesa ennyondo

Azzaamu amaanyi oyo akubirakubira ku luyijja.

Ayogera ku kugattibwa kw’ebyuma nti: “Kulungi.”

Awo ne kikomererwa n’emisumaali kireme kugwa.

 8 “Naye ggwe Isirayiri, oli muweereza wange,+

Ggwe Yakobo gwe nnalonda,+

Ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,+

 9 Ggwe gwe nnaggya eyo ensi gy’ekoma,+

Era ggwe gwe nnayita okuva mu bitundu byayo ebisingayo okuba ewala.

Nnakugamba nti, ‘Oli muweereza wange;+

Nnakulonda; sikusuulanga.+

10 Totya, kubanga ndi naawe.+

Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.+

Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba,+

Nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’

11 Laba! Abo bonna abakusunguwalira bajja kuswazibwa era bajja kufeebezebwa.+

Abo abakulwanyisa bajja kumalibwawo era bajja kuzikirira.+

12 Ojja kunoonya abantu abalwana naawe naye tojja kubalaba;

Abantu abakulwanyisa bajja kuba ng’ekintu ekitaliiwo, ng’ekintu ekitaliimu nsa.+

13 Kubanga nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo,

Nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’+

14 Totya, ggwe Yakobo olusiriŋŋanyi,*+

Mmwe abantu ba Isirayiri, nja kubayamba,” bw’agamba Yakuwa Omununuzi wammwe,+ Omutukuvu wa Isirayiri.

15 “Laba! Nkufudde ekyuma ekiwuula,+

Ekyuma ekiwuula ekipya ekirina amannyo ku njuyi zombi.

Ojja kulinnyirira ensozi ozibetente

Era obusozi ojja kubufuula ng’ebisusunku.

16 Ojja kubiwewa,

Empewo ebitwale;

Embuyaga ejja kubisaasaanya.

Ojja kusanyukira mu Yakuwa,+

Era ojja kwenyumiririza mu Mutukuvu wa Isirayiri.”+

17 “Omunaku n’omwavu banoonya amazzi, naye tegaliiwo.

Olulimi lwabwe lukaze olw’ennyonta.+

Nze Yakuwa nja kubaanukula.+

Nze Katonda wa Isirayiri sijja kubaabulira.+

18 Nja kukulukusiza emigga ku busozi obutaliiko bimera+

N’ensulo mu nsenyi.+

Eddungu nja kulifuula kidiba ky’amazzi

N’ensi enkalu nja kugifuula nsulo za mazzi.+

19 Nja kusimba mu ddungu omuti gw’entolokyo,

N’omuti gwa sita n’omukadasi n’omuti gwa payini.+

Nja kusimba mu ddungu omuti gw’omuberosi,

Wamu n’omutidali n’omuteyasi,+

20 Abantu bonna balyoke balabe era bamanye

Basseeyo omwoyo era bategeere

Nti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino,

Era nti Omutukuvu wa Isirayiri y’akireese.”+

21 “Mwanje ensonga zammwe,” Yakuwa bw’agamba.

“Muleete obukakafu,” Kabaka wa Yakobo bw’agamba.

22 “Muleete obukakafu mutubuulire ebiribaawo.

Mutubuulire ebikwata ku bintu eby’edda,*

Tubirowoozeeko* tumanye ebiribaawo.

Oba mutubuulire ebintu ebigenda okubaawo.+

23 Mutubuulire ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso,

Tulyoke tumanye nti muli bakatonda.+

Mubeeko kye mukolawo, ekirungi oba ekibi,

Tuwuniikirire nga tukirabye.+

24 Laba! Muli kintu ekitaliiwo,

Era bye mukola tebiriimu nsa.+

Oyo yenna abalondawo mmwe wa muzizo.+

25 Nnyimusizza omuntu okuva ebukiikakkono era ajja kujja,+

Oyo ava ebuvanjuba+ ajja kukoowoola erinnya lyange.

Ajja kulinnyirira abafuzi ng’alinnyirira ebbumba,+

Ng’omubumbi bw’alinnyirira ebbumba ebbisi.

26 Kino ani yakyogerako okuva ku lubereberye tusobole okumanya,

Oba okuva mu biseera eby’edda tusobole okugamba nti, ‘Mutuufu’?+

Mazima ddala tewali n’omu yakirangirira!

Tewali n’omu yakyogerako!

Tewali yali awuliddeko kintu kuva gye muli!”+

27 Nze nnasooka okugamba Sayuuni nti: “Laba ebigenda okubaawo!”+

Era ndisindika e Yerusaalemi oyo alina amawulire amalungi.+

28 Nnakanda kutunula naye nga tewali n’omu;

Era mu bo temwalimu muwi wa magezi n’omu.

Nnabagambanga babeeko kye baddamu.

29 Laba! Bonna butaliimu.*

Bye bakola tebiriimu nsa.

Ebifaananyi byabwe eby’ekyuma* mpewo buwewo era tebirina mugaso.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share