Yeremiya
1 Bino bye bigambo bya Yeremiya* mutabani wa Kirukiya, omu ku bakabona abaali mu Anasosi+ mu kitundu kya Benyamini. 2 Yakuwa yayogera naye mu kiseera kya Yosiya+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni,+ mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwe. 3 Ate era yayogera naye mu kiseera kya Yekoyakimu+ mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusiza ddala ku nkomerero y’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya+ mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusa Yerusaalemi bwe yatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu mwezi ogw’okutaano.+
4 Yakuwa yaŋŋamba nti:
Nnakufuula nnabbi eri amawanga.”
6 Naye ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna!
Simanyi kwogera,+ kubanga ndi mwana muto.”+
7 Yakuwa n’aŋŋamba nti:
“Togamba nti, ‘Ndi mwana muto.’
Naye genda eri abo bonna gye nkutuma,
Era oyogere byonna bye nkulagira.+
9 Awo Yakuwa n’agolola omukono gwe n’akwata ku mumwa gwange.+ Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.+ 10 Laba, olwa leero nkuwadde obuyinza ku mawanga ne ku bwakabaka, okusiguukulula n’okumenya, okuzikiriza n’okusuula, okuzimba n’okusimba.”+
11 Awo Yakuwa n’ambuuza nti: “Kiki ky’olaba Yeremiya?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ettabi ly’omuti gw’omuloozi.”*
12 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti; “Olabye bulungi, kubanga nsigadde ntunula okusobola okutuukiriza ekigambo kyange.”
13 Yakuwa n’ayogera nange omulundi ogw’okubiri n’aŋŋamba nti: “Kiki ky’olaba?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba entamu* eyeesera,* ng’omumwa gwayo gwewunzikidde bukiikaddyo, ng’ate entobo yaayo etunudde ebukiikakkono.” 14 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti:
“Akabi kaliva ebukiikakkono
Ne katuuka ku bantu bonna ab’omu nsi eno.+
15 ‘Nkoowoola ebika byonna eby’obwakabaka obw’ebukiikakkono,’ Yakuwa bw’agamba,+
‘Era birijja; bakabaka baliteeka entebe zaabwe ez’obwakabaka
Ku miryango gya Yerusaalemi,+
Ne ku bbugwe waakyo okukyetooloola
Ne ku bibuga byonna ebya Yuda.+
16 Era nja kulangirira emisango gye mbasalidde olw’ebintu ebibi byonna bye bakola,
Kubanga banvuddeko,+
Era banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala+
Era bavunnamira ebyo bye baakola n’emikono gyabwe.’+
17 Naye weeteeketeeke,*
Era yimuka obagambe byonna bye nkulagira.
Tobatya,+
Nneme kukuleetera ntiisa mu maaso gaabwe.