Isaaya
4 Ku lunaku olwo, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu+ ne bagamba nti:
“Emmere gye tunaalya ejja kuba yaffe
N’engoye ze tunaayambala zijja kuba zaffe;
Kye tukusaba kiri kimu, kuyitibwa linnya lyo
2 Mu kiseera ekyo Yakuwa ky’alimeza kiriba kirungi era kya kitiibwa, era Abayisirayiri abaliba bawonyeewo balyenyumiririza mu bibala by’ensi, era biriba birungi gye bali.+ 3 Buli alisigala mu Sayuuni era alirekebwa mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, abo bonna abaliba bawandiikiddwa okubeera mu Yerusaalemi.+
4 Yakuwa bw’alinaazaako bawala ba Sayuuni obucaafu,*+ n’aggyawo okuyiwa omusaayi mu Yerusaalemi ng’akisalira omusango era ng’akibuubuukizaako obusungu bwe,+ 5 Yakuwa era aliteeka ekire n’omukka, emisana, waggulu w’Olusozi Sayuuni lwonna ne waggulu w’ekifo kyalwo ekikuŋŋaanirwamu, ate ekiro, aliteekayo omuliro ogwaka ennyo era ogubumbujja;+ kubanga ebintu byonna eby’ekitiibwa biribaako ekibibisseeko. 6 Era walibaawo ensiisira ey’okwewogomamu omusana,+ ate era ey’okuddukiramu n’okwekwekamu ng’eriyo kibuyaga n’enkuba.+