Zabbuli 113:1
- Research Guide - Omunaala gw’Omukuumi, - 8/1/1993, lup. 3-4 
Zabbuli 113:2
- Research Guide - Omunaala gw’Omukuumi, - 8/1/1993, lup. 3-4 
Zabbuli 113:4
- Research Guide - Omunaala gw’Omukuumi, - 8/1/1993, lup. 4 
Zabbuli 113:8
- Research Guide - Omunaala gw’Omukuumi, - 8/1/1993, lup. 4 
Zabbuli 113:9
- Research Guide - Omunaala gw’Omukuumi, - 8/1/1993, lup. 4 
 
	113 Mutendereze Ya!
Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze,
Mutendereze erinnya lya Yakuwa.
 2 Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe
Okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.+
 3 Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe+
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.
 4 Yakuwa ali waggulu okusinga amawanga gonna;+
Ekitiibwa kye kiri waggulu okusinga eggulu.+
 5 Ani alinga Yakuwa Katonda waffe,+
Abeera waggulu?
 6 Akutama n’atunuulira eggulu n’ensi,+
 7 N’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu.
Ayimusa omwavu n’amuggya mu ntuumu y’evvu,+
 8 Okumutuuza n’ab’ebitiibwa,
N’ab’ebitiibwa mu bantu be.
 9 Awa omukazi omugumba amaka,
N’afuna abaana n’aba musanyufu.+
Mutendereze Ya!