LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 4 lup. 12-13
  • Ka Tugendeko e Kyrgyzstan

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ka Tugendeko e Kyrgyzstan
  • Zuukuka!—2016
Zuukuka!—2016
g16 Na. 4 lup. 12-13
Obuyumba obusangibwa mu kiwonvu ekiyitibwa Tash Rabat mu Kyrgyzstan

Obuyumba obusangibwa mu kiwonvu ekiyitibwa Tash Rabat

ENSI N’ABANTU

Ka Tugendeko e Kyrgyzstan

Mmaapu ya Kyrgyzstan

ENSI ya Kyrgyzstan esangibwa mu massekati ga Asiya era yeetooloddwa ensozi empanvu ennyo eziriko omuzira. Ate era yeetooloddwa ensi omuli Kazakhstan, Uzbekistan, Tajikistan, ne China. Kumpi ebitundu 90 ku buli kikumi ebya Kyrgyzstan nsozi. Olusozi olusingayo obuwanvu mu nsozi eziyitibwa Tian Shan lusangibwa mu Kyrgyzstan era lulina obuwanvu bwa ffuuti 24,406. Ebitundu 4 ku buli kikumi eby’ensi eyo bibira. N’olwekyo tekyewuunyisa nti ekimu ku bibira ebisingayo obunene mu nsi yonna eby’emiti gy’ebinyeebwa kisangibwa mu Kyrgyzstan.

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’asomesa omukazi Bayibuli mu Kyrgyzstan

Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu bangi Bayibuli mu Kyrgyzstan

Abantu b’omu Kyrgyzstan baaniriza nnyo abagenyi era bassaamu abantu ekitiibwa. Mu nsi eyo kya bulijjo okulaba omuntu mu ntambula eya lukale ng’ava mu kifo kye n’akirekera omuntu amusingako obukulu, era abantu abakulu batera okuweebwa ebifo ebisingayo okuba eby’ekitiibwa ku kijjulo.

Abantu b’omu Kyrgyzstan batera okuzaala abaana basatu oba okusingawo. Omwana ow’obulenzi asembayo obuto atera okusigala ne bazadde be n’oluvannyuma lw’okuwasa asobole okubalabirira nga bakaddiye.

Okuviira ddala mu buto, abawala bayigirizibwa emirimu egibayamba okufuuka abakyala ab’obuvunaanyizibwa. We batuukira mu myaka egy’obuvubuka, baba basobola bulungi okuddukanya emirimu gy’awaka. Omuwala bw’aba agenda okufumbirwa, ab’ewaabwe babaako ebirabo bye bawa omusajja agenda okumuwasa. Muno muzingiramu bulangiti, amasuuka, engoye, n’ekiwempe ekirukiddwa n’engalo. Omusajja ye aba alina okuwa ab’ewaabwe w’omuwala ssente n’ebisolo.

Ku mikolo gyonna, nga mw’otwalidde n’egy’okuziika, endiga oba embalaasi ettibwa. Esalibwasalibwamu ebitundutundu era buli kitundu kibaako nnyinikyo gwe kirina okuweebwa. Babigaba nga basinziira ku myaka oba ekifo omugenyi ky’alina. Ne mu kalombolombo kano, ensonga y’okuwa abalala ekitiibwa egobererwa. Oluvannyuma emmere enkulu mu nsi eyo eyitibwa beshbarmak, egabulwa. Bagiriisa ngalo.

Omusajja ng’akuba ekivuga ekiyitibwa komuz

Komuz kye kivuga ekisinga okukozesebwa

MANYA NA BINO

Akatabo Kiki Ddala Bayibuli ky’Eyigiriza? kakubibwa mu lulimi oluyitibwa Kirghiz era kali ne ku www.pr418.com

  • Abantu: 5,776,000

  • Ekibuga ekikulu: Bishkek

  • Ennimi: Kirghiz, Olulasa

  • Eby’amaguzi: Pamba, ebyoya by’endiga, zzaabu, mercury, uranium

  • Eddiini: Obusiraamu (abantu 80 ku buli kikumi)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share