LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 2 lup. 12-13
  • Ka Tugendeko e Sipeyini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ka Tugendeko e Sipeyini
  • Zuukuka!—2017
Zuukuka!—2017
g17 Na. 2 lup. 12-13
Toledo, ekibuga kya Sipeyini ekyettanirwa ennyo abalambuzi

Ekibuga Toledo kirimu ebintu eby’ebyafaayo n’eby’obuwangwa bingi. Mu 1986 ekibuga ekyo kyatongozebwa okuba ekifo eky’obulambuzi era abalambuzi bangi bagendayo

ENSI N’ABANTU | SIPEYINI

Ka Tugendeko e SIPEYINI

Sipeyini ng’eragiddwa ku mmaapu

SIPEYINI erimu ebintu bingi eby’enjawulo era n’abantu ab’enjawulo. Abantu mu Sipeyini balima nnyo eŋŋaano, emizabbibu, n’emizeyituuni. Okuva ebukiikaddyo bwa Sipeyini okutuuka ku lukalu lwa Afirika waliwo mayiro mwenda zokka.

Edda ennyo, waaliwo abantu bangi, omwali Abafoyiniikiya, Abayonaani, n’abalala, baasengukira mu nsi eyo esangibwa mu bukiikaddyo bwa Bulaaya. Abaruumi bwe baatuuka mu nsi eyo mu kyasa eky’okusatu E.E.T., baagituuma Hispania. Oluvannyuma Abavisigoosi n’Abamowa nabo bajja ne batandika okubeera mu nsi eyo era ne baleeta empisa n’obuwangwa bwabwe mu nsi eyo.

Emabegako awo, abalambuzi ng’obukadde 68 baakyala mu Sipeyini mu bbanga lya mwaka gumu gwokka. Abantu abasinga obungi abagenda okukyalako mu Sipeyini baba bagenze kwota kasana, kuwummulirako ku lubalama lw’ennyanja, kulambula bifo ebirabika obulungi, n’ebifo eby’ebyafaayo. Abalambuzi bangi baagala nnyo emmere y’omu Sipeyini. Mu mmere eyo mwe muli eby’omu nnyanja, ennyama y’embizzi, enva ez’ebika eby’enjawulo, saladi, enva endiirwa ze bateekako buto ow’emizeyituuni, amagi ge bagattamu ebintu ebirala, omuceere gwe bagattamu ebintu eby’enjawulo, n’obumpwankimpwanki obutali bumu.

Mariscada, emu ku mmere y’omu sipeyini eggibwa mu nnyanja

Emmere eggibwa mu nnyanja gye bayita Mariscada

Abakazi babiri nga bazina amazina ag’omu Sipeyini agayitibwa flamenco

Amazina agayitibwa flamenco

Abantu b’omu Sipeyini bafaayo nnyo ku balala. Abasinga obungi Bakatuliki naye batono nnyo abagenda mu masinzizo. Mu myaka egiyise abantu okuva mu Afirika, Asiya, ne mu bukiikaddyo bwa ssemazinga w’Amerika basengukidde mu Sipeyini. Bangi ku bo baagala nnyo okwogera ku ddiini n’obuwangwa bwabwe. Abajulirwa ba Yakuwa babuulira abantu abo era bayambye bangi okuyiga amazima agali mu Bayibuli.

Mu 2015, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 10,500 beewaayo kyeyagalire okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka 70 mu Sipeyini. Ab’obuyinza mu bitundu ebimu baawa Abajulirwa ba Yakuwa ettaka okuzimbako ebizimbe byabwe. Okusobola okuyamba abagwira abali mu Sipeyini, Abajulirwa ba Yakuwa mu Sipeyini baba n’enkuŋŋaana mu nnimi engwira ezisukka mu 30. Mu 2016, abantu abasukka mu 186,000 be baaliwo ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu mu Bizimbe by’Obwakabaka eby’Abajulirwa ba Yakuwa.

OBADDE OKIMANYI?

Sipeyini y’ensi esinga okukola butto omungi okuva mu mizeyituuni mu nsi yonna.

Olusozi Teide lwe lusozi olusingawo obuwanvu mu Sipeyini era lulina obuwanvu bwa ffuuti 12,198. Era mu nsi yonna lukwata kya kusatu mu buwanvu mu nsozi eziwandula omuliro.

  • ENNIMI ENKULU: OLUSIPEYINI, OLUBASIKI, OLUKATALANI, OLUGALISIYA, N’OLUVALENSIYA

  • ABANTU: 46,439,000

  • EKIBUGA EKIKULU: MADRID

  • EMBEERA Y’OBUDDE: EMYEZI EGIMU GIBA GYA BBUGUMU ATE EMIRALA GIBA GYA BUTITI

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share