Ennyanjula
Abantu bangi balina endowooza za njawulo ku ngeri obwengula, ensi, n’ebintu ebiramu ebigiriko gye byajjawo. Magazini eno eya Zuukuka! egenda kukuyamba okulaba obukakafu obukwata ku nsonga eyo, ggwe kennyini weesalirewo. Ensi n’obwengula byajjawo byokka, oba waliwo eyabitonda? Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoomanya eky’okuddamu.