LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl lup. 3
  • Ennyanjula

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl lup. 3

Ennyanjula

Omusomi Waffe Omwagalwa:

Owulira ng’olina enkolagana ennungi ne Katonda? Bangi balowooza nti ekyo tekisoboka. Abamu balowooza nti Katonda tatuukirikika; abalala balowooza nti tebasaanira mu maaso ge. Kyokka Bayibuli etukubiriza nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Era Katonda agamba abaweereza be nti: “Nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’”—Isaaya 41:13.

Tuyinza tutya okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, nga bwe kiragibwa ku ddiba ly’akatabo kano? Omukwano gwonna gwe tukola n’omuntu, gwesigama ku kumanya omuntu oyo n’okusiima engeri ze ennungi. N’olwekyo, kitwetaagisa okuyiga engeri za Katonda n’amakubo ge ebisangibwa mu Bayibuli. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ze, okwetegereza engeri Yesu Kristo gye yazikoppamu obulungi ennyo, era n’okumanya engeri naffe gye tuyinza okuzikoppamu kijja kutusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Era tujja kukiraba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, era nti ye Kitaffe ffenna gwe twetaaga. Wa maanyi, mwenkanya, wa magezi, wa kwagala, era tayinza kwabulira baana be abeesigwa.

Akatabo kano ka kakuyambe okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, okukola omukwano omunywevu naye osobole okumutendereza emirembe gyonna.

Abaakuba Akatabo Kano

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share