LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 20 lup. 54-lup. 55 kat. 8
  • Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Akola Ekyamagero Ekisooka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Masiya Yatuukiriza Obunnabbi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • “Ekiseera Kye Kyali nga Tekinnaba Kutuuka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yesu Akiraga nti Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 20 lup. 54-lup. 55 kat. 8
Omukungu wa gavumenti omunakuwavu nga yeegayirira Yesu okugenda okuwonya mutabani we

ESSUULA 20

Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana

MAKKO 1:14, 15 LUKKA 4:14, 15 YOKAANA 4:43-54

  • YESU ABUULIRA NTI “OBWAKABAKA BWA KATONDA BUSEMBEDDE”

  • AWONYA OMULENZI NG’ALI WALA

Oluvannyuma lw’okumala ennaku nga bbiri e Samaliya, Yesu addayo ewaabwe e Ggaliraaya. Wadde ng’abuulidde nnyo mu Buyudaaya, ewaabwe taddayo kuwummula. Mu kifo ky’ekyo, atandika kaweefube ow’okubuulira mu Ggaliraaya. Ayinza okuba nga tasuubira bantu ba mu kitundu ekyo kumuwuliriza kubanga ye kennyini yagamba nti “nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi ye.” (Yokaana 4:44) Mu kifo ky’okweyongera okumugoberera, abayigirizwa be baddayo ewaabwe ne ku mirimu gyabwe.

Bubaka ki Yesu bw’atandika okubuulira? Abuulira abantu nti: “Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye era mukkirize amawulire amalungi.” (Makko 1:15) Abantu b’omu Ggaliraaya batwala batya obubaka bwe? Mu butuufu, bangi bawuliriza Yesu era bamussaamu ekitiibwa. Ekyo tebakikola lwa bubaka bw’abuulira bwokka, naye n’olw’ebyamagero abamu ku bo abaali ku Mbaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi bye baalaba, emyezi mitono emabega.​—Yokaana 2:23.

Yesu atandikira wa obuweereza bwe obw’omu Ggaliraaya? Kirabika atandikira Kaana, gye yakolera ekyamagero eky’okufuula amazzi omwenge ku mbaga ey’obugole. Ng’azzeeyo e Kaana, Yesu akitegeerako nti waliwo omulenzi omulwadde omuyi. Omulenzi oyo mwana wa mukungu omu owa Kerode Antipasi, era ng’oluvannyuma kabaka oyo ye yalagira batemeko omutwe gwa Yokaana omubatiza. Omukungu oyo akiwulirako nti Yesu avudde e Buyudaaya era ali Kaana. Bw’atyo ava ewuwe e Kaperunawumu n’ajja eri Yesu, e Kaana. Nga munakuwavu nnyo, agamba Yesu nti: “Mukama wange, jjangu ng’omwana wange tannafa.”​—Yokaana 4:49.

Yesu amuddamu mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Amugamba nti: “Genda, omwana wo awonye.” (Yokaana 4:50) Omukungu wa Kerode akkiriza Yesu ky’amugambye era akwata eridda ewuwe. Aba akyali mu kkubo, n’asisinkana abaddu be abazze okumubuulira amawulire amalungi. Bamugamba nti omwana we awonye! Ababuuza essaawa omwana gye yawoneddeko.

Bamuddamu nti: “Omusujja gwamuvuddeko jjo ku ssaawa musanvu.” ​—Yokaana 4:52.

Omukungu asisinkana omuddu we era addayo eka nga Yesu awonyezza mutabini we

Omukungu ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini Yesu gye yamugambiddeko nti, “Omwana wo awonye.” Oluvannyuma lw’ekyo omusajja ono omugagga, alina n’abaddu, awamu n’ab’omu maka ge bonna bafuuka bayigirizwa ba Kristo.

Mu Kaana Yesu yaakakolerayo ebyamagero bibiri, yafuula amazzi omwenge, ate kati awonyezza omwana ali ewala, mayiro nga 16. Kyo kituufu nti bino si bye byamagero byokka bye yaakakola. Naye ekyamagero kino kikulu nnyo kubanga ky’asoose okukola ng’akomyewo e Ggaliraaya. Kyeyoleka kaati nti ono ye nnabbi Katonda gw’alonze, naye abantu ‘b’omu nsi ye’ banaamuwa ekitiibwa kumala bbanga ki?

Ekyo kijja kweyoleka nga Yesu azzeeyo e Nazaaleesi. Abantu banaamuyisa batya?

  • Yesu bw’addayo e Ggaliraaya, atandika kubuulira bubaka ki, era abantu babutwala batya?

  • Kyamagero ki Yesu ky’akola ng’akomyewo e Kaana, era biki ebivaamu?

  • Lwaki engeri Yesu gy’awonyaamu omulenzi ow’e Kaperunawumu yeewuunyisa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share