Okozesa Buli Kakisa Okubuulira Abalala ku Nzikiriza Yo?
“AMAZIMA gennyini gye gali?” Ogwo gwe gwali omutwe gw’empaka z’eggwanga ez’okuwandiika emboozi mu Poland. Obulagirizi obukwata ku ngeri y’okuwandiika emboozi eyo bwali nti: “Tetwetaaga mazima gennyini. Tewali ageetaaga. N’okubaayo tegaliiyo.” Agata, ow’emyaka 15 omuyizi ali mu siniya era ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yasalawo okukozesa akakisa kano okubuulirako abalala ku nzikiriza ye.
Nga yeeteekerateekera okuwandiika emboozi eyo, Agata yasooka kusaba Yakuwa amuwe obulagirizi era oluvannyuma n’atandika okunoonyereza ku mutwe ogwo. Yazuula ebisobola okumuyamba mu Watchtower eya Jjulaayi 1, 1995. Yajuliza ekibuuzo Pontiyo Piraato kye yabuuza Yesu nti: “Amazima kye ki?” (Yokaana 18:38) Yagamba nti ekibuuzo ekyo mu ngeri endala kyali ng’ekigamba nti: ‘Amazima? Kye ki ekyo? Tewali kintu ng’ekyo!’ Agata yawandiika nti “ekibuuzo kya Piraato kinzijukiza ebyo ebiri mu bulagirizi obukwata ku ngeri y’okuwandiika emboozi eyo.”
Olwamala, n’alyoka awandiika ku ndowooza egamba nti ekituufu kiba kituufu okusinziira ku ndaba ya buli omu—ekituufu eri omuntu omu kiyinza obutaba kituufu eri omulala naye nga bombi bayinza okuba nga “batuufu.” Yabuuza ebibuuzo, gamba nga, “Ani ku ffe eyandimaze galinnya nnyonyi nga takakasa nti ddala amateeka kw’esinziira okubuuka matuufu?” Awo we yayogerera ku Baibuli n’agamba nti: “Ekigambo kya Katonda kyesigika kubanga kyesigamiziddwa ku mazima agasobola okukakasibwa.” Yagamba nti alina essuubi nti abo abaagala okumanya amazima gennyini bajja kugafuna singa baganoonya n’obugumiikiriza.
Agata yaweebwa dipuloma ey’enjawulo era yafuna akakisa okwogerako eri ekibiina mwe yali asomera. Abamu ku bayizi banne bakkiriza okutandika okuyiga Baibuli naye. Agata musanyufu nti yakozesa akakisa kano okubuulirako abalala ku nzikiriza ye. Yee, bw’okozesa buli kakisa okwogera ku nzikiriza yo n’abalala kiyinza okuvaamu ebirungi. Mikisa ki gy’oyinza okukozesa okwogera n’abalala ku nzikiriza yo?