Ekizibu Baakisalira Amagezi
ABAVUBUKA basatu mu Africa ow’Amassekati baali baagala okugenda mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali lugenda okuba mu kifo ekiri ewala. Bandisobodde batya okutuukayo? Olugendo lwali lwa mayiro kumpi 60, ng’oluguudo lubi era nga lwa nfuufu, ate nga tebalina na ntambula. Baayagala okweyazika eggaali ssatu, naye nga zonna ze bafuna si nnamu bulungi.
Omukadde omu mu kibiina bwe yategeera ekizibu kyabwe, yabaazika eggaali ye—yali nkadde naye nga nnamu bulungi. Yababuulira ye n’abalala kye baakolanga okusobola okugenda mu nkuŋŋaana ennene. Yabawa amagezi bakozese eggaali emu bonsatule. Ago gaali magezi malungi, naye kyali kyetaagisa okutetenkanya. Abantu abasatu bandisobodde batya okukozesa eggaali emu?
Okusobola okwewala omusana, abavubuka abo Abakristaayo baakeera nnyo ne basiba ebintu byabwe ku ggaali. Omu ku bo yavuga eggaali n’agenda, ababiri ne bamuvaako emabega ku bigere. Oluvannyuma lw’okuvuga kumpi kitundu kya kiromita, yayimirira n’awumuza eggaali ku muti. Yagireka mu kifo banne we bagirengerera waleme kubaawo “agyeyazika,” ye ne yeeyongerayo ku bigere.
Bali ababiri bwe baatuuka awali eggaali, omu ku bo n’agivuga, omulala ne yeeyongera okutambula kumpi kitundu kya kiromita, olwo naye n’avuga eggaali. Olw’okuba baali bamalirivu era nga batetenkanya, mu kifo kya mayiro 60, buli omu yatambula mayiro 40. Okufuba kwabwe tekwali kwa bwereere kubanga baasobola okukuŋŋaana wamu ne baganda baabwe Abakristaayo era baanyumirwa nnyo olukuŋŋaana olwo. (Ma. 31:12) Onookola kyonna ekisoboka okubeerawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka guno?