Ebbaluwa Eyava e Nicaragua
“Bw’Otuuka ku Mugga Coco, Weta Odde ku Ddyo”
“KIJJA kukwetaagisa okugendera mu mmotoka esikira emabega ne mu maaso, eriko olujegere olugisika ng’etubidde, n’ebidomola by’amafuta. Beera mwetegefu okuyita mu bisooto ebingi, nga n’emipiira gya mmotoka gibuliramu. Bw’otuuka ku mugga Coco, weta odde ku ddyo.”
Ebigambo ebyo muminsani munnange bye yaŋŋamba byandeetera okutya. Wadde kyali kityo, lumu ku Lwokubiri ku makya nnasimbula okugenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Ekikristaayo olwali mu kabuga Wamblán akasangibwa mu bukiika kkono bwa Nicaragua.
Nnasimbula ku makya nnyo ne nkwata oluguudo oluyitibwa Pan-American Highway nga ndi mu mmotoka yange eyali enkadde, kyokka nga ŋŋumu ddala. Bwe nnatuuka mu kibuga Jinotega ne nkwata oluguudo olw’ettaka ab’omu kitundu ekyo lwe bayita feo, amakulu nti lubi. Nga sinnava mu kibuga ekyo, nnalaba amaduuka abiri, ng’erimu liyitibwa Miracle of God, ate eddala The Resurrection.
Oluguudo olwo lwalimu amakoona mangi, obuserengeto era n’obusozi. Nnali nvuga mpola nnyo olw’ebisirikko ebingi. Nnayita ku nnyanja eri mu kiwonvu ekiri waggulu ku lusozi olwetooloddwa ebire. Bwe nnayisa amaaso mu lufu, nnalengera emiti egyalandirako ebimera ebiriko ebimuli ebirungi.
Bwe nnali mpeta ekkoona erimu ebbi, kaabula kata nnyingirire bbaasi eyali eva gye ndaga. Yali evaamu ekikka kya maanyi era ng’emipiira gyayo gigenda gisiikuula amayinja. Wano mu Nicaragua, ku ndabirwamu za bbaasi kuwandiikibwako amannya gamba nga Conqueror, Scorpion, Python, oba Hunter, abasajja abo abavuga obubi ge beetuuma.
Essaawa we zaawerera omukaaga nnali mpita mu kitundu eky’omuseetwe ennyo ekiyitibwa Plain of Pantasma. Nnalabamu ennyumba eyali ey’embaawo nga n’oluggya lwayo lwere bulungi. Nnalinga alaba ekifaananyi ekiri mu kitabo ekikadde ennyo: Waaliwo omusajja omukadde ng’atudde ku katebe, embwa yali yeebase wansi w’omuti, era waaliwo n’ente bbiri eziri mu kikoligo nga zisibiddwako ekigaali eky’embaawo. Mu kabuga akamu, nnasanga abaana abaali abangi ennyo nga bava ku ssomero. Baali mu yunifoomu za bbululu, nga babunye oluguudo lwonna nga balinga ejjengo erituuse ku lubalama lwe nnyanja.
Mu kasana akayitirivu, nnalengera omugga Coco nga nnyingira ekibuga Wiwilí. Omugga guno omunene ennyo guyita mu kibuga kino. Nnajjukira kye baali bandagiridde ne mpeta ku ddyo, ne nkwata oluguudo luli olubi ennyo olwa mayiro 23 olugenda e Wamblán.
Oluguudo luno emmotoka zaali zaalusimasima, lwalimu agayinja, obugulumugulumu, era nnayita mu myala munaana oba mwenda. Emmotoka yafuumula enfuufu empitirivu bwe nnagezaako okwebalama enkonko ezaali mu luguudo. Mu butuufu, “nalya enfuufu,” ng’ab’omu kitundu ekyo bwe bagamba. Kya ddaaki, nnatuuka e Wamblán gye nnali ndaga, akabuga akali mu kiwonvu omuli emiti emingi.
Essaawa zaagenda okuwera ekkumi n’ekitundu ez’oku makya nga kirabika buli muntu azuukuse. Enkoko ezikookolima olutata zanzuukusa ne ŋŋenda ntambulatambulako mu kabuga ako. Akawoowo k’emigaati egyali gifumbibwa kaali buli wamu.
Ku bisenge ebimu kwaliko ebifaananyi ebisiige ebirabika obulungi ennyo. Ku maduuka agayitibwa pulperías kwaliko ebipande ebiranga ebika bya sooda ebitali bimu. Awalala waaliwo ebipande abantu kwe bajjuukiriranga ebyabasuubizibwa abakulembeze ba gavumenti essatu ezaali zivuddeko. Bukabuyonjo obwazimbibwa n’amabaati bwali buli wamu.
Nnagendanga mbuuza abantu nti Adiós, nga bwe babuuza mu ggwanga eryo erya Nicaragua. Abantu baanzirangamu bulungi nga bataddeko n’akamwenyumwenyu. Twali twogerera waggulu olw’emisinde gy’embalaasi n’endogoyi ezaali zeetawula.
Bugenda okuwungeera ku Lwokutaano, nga bangi batuuse basobole okubaawo ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri. Bajjira ku bigere, ku mbalaasi, n’abalala ku mmotoka ezisomba eby’amaguzi. Abaana abato abamu baali batambuzza bigere okumala ssaawa mukaaga nga bali mu sapatu. Beewaayo okusala emigga omutera okutegebwa bbomu n’okuyita mu mazzi omwali ebinoso. Abamu abaava mu bitundu eby’ewala bajja n’emmere ntonotono—omuceere ogulimu amasavu g’embizzi. Kiki ekyali kireese abantu bano bonna?
Baali bazze bongere okunyweza essuubi lyabwe ery’ebiseera eby’omu maaso. Baali bazze beeyongere okuyiga ebikwata ku Baibuli. Baali bazze basanyuse Katonda.
Olw’omukaaga lwalwa ddaaki ne lutuuka. Abantu abasukka mu 300 baakuŋŋaanira mu kizimbe eky’amabaati ne baatuula ku foomu ne ku butebe obwa pulasitiika. Abakyala baali bayonsa abaana bwabwe. Mu faamu erinaanyewo, embizzi n’enkoko byali bikaaba.
Akasana kaali keememula era ebbugumu lyali lingi nnyo. Naye abantu bassaayo omwoyo ku byonna ebyayigirizibwa. Baabikkulanga Baibuli zaabwe ne bagoberera ng’omwogezi asoma Ebyawandiikibwa. Baayimbira wamu ennyimba ezeesigamiziddwa ku Baibuli, era essaala zonna ezaasabibwa baaziwuliriza n’obuwombeefu.
Mu biseera eby’okuwummulamu, nnanyumyako n’abantu abalala era ne nzanya n’abaana. Bwe twamala ekyo twatuula ne tuyita mu ebyo abaana bye baali bawandiise mu lukuŋŋaana. Nnabalaga ebifaananyi by’emmunyeenye ebyali ku kompyuta yange. Kino kyasanyusa nnyo abaana abo wamu ne bazadde baabwe.
Mu kaseera buseera olukuŋŋaana olunene lwali luwedde, era buli omu yakwata eryamuleeta. Nze nnaddayo nkeera ku makya, nga nzenna mbugaanye essanyu olw’emikwano emipya gye nnali nfunye. Ndi mumalirivu okukoppa ekyokulabirako ky’abantu abo eky’okuba abamativu mu bulamu bwabwe n’okwesiga Katonda.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Abantu batambula olugendo luwanvu okugenda ku lukuŋŋaana olunene e Wamblán