Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ddi lwe kiyinza okwetaagisa omuntu okuddamu okubatizibwa?
Oluusi omuntu eyabatizibwa ayinza okuwulira nti yandyagadde okuddamu okubatizibwa. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera we yabatirizibwa, omuntu oyo ayinza okuba nga yali alina ekibi eky’amaanyi ky’akola mu nkukutu ekyali kiyinza okumuviirako okugobebwa mu kibiina singa yali mubatize. Kyali kisaana omuntu oyo okwewaayo eri Katonda ng’ali mu mbeera ng’eyo? Okwewaayo kw’omuntu oyo tekusobola kuba nga kwali kwa nnamaddala okuva bwe kiri nti yali tasoose kuleka mize gye emibi. N’olwekyo, omuntu eyabatizibwa ng’alina ekibi eky’amaanyi ky’akola asaanidde okulowooza ku ky’okuddamu okubatizibwa.
Ate kiri kitya ku muntu ayinza okuba nga mu kiseera we yabatirizibwa yali talina kibi kya maanyi ky’akola naye ate oluvannyuma lw’okubatizibwa n’akola ekibi eky’amaanyi ekyetaagisa akakiiko k’abakadde okumukangavvula? Kiri kitya singa agamba nti mu kiseera we yabatirizibwa yali tamanyi bulungi ky’akola, era nti okubatizibwa kwe tekwali kwa nnamaddala. Abakadde bwe batuula okuwulira ensonga ze, tebasaanidde kukitwala nti yali tamanyi ky’akola era tebasaanidde kumubuuza obanga alowooza nti okwewaayo kwe n’okubatizibwa byali bya nnamaddala. Kuba ekituufu kiri nti yawuliriza emboozi eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa eyalaga obukulu bw’okubatizibwa. Yaddamu ebibuuzo ebikwata ku kwewaayo n’okubatizibwa, era oluvannyuma yakyusa engoye ze n’abatizibwa. N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti omuntu oyo yali ategeera bulungi ekyo kye yali akola. Bwe kityo, abakadde basaanidde okumutwala ng’omuntu omubatize.
Singa omuntu oyo aba alowooza nti kimwetaagisa okuddamu okubatizibwa, abakadde bayinza okumukubiriza okusoma Watchtower eya Maaki 1, 1960, olupapula 159 ne 160, n’eya Febwali 15, 1964, olupapula 123-126, ensonga y’okuddamu okubatizibwa mw’ennyonnyolerwa mu bulambulukufu. Mu mbeera ezimu, omuntu okuddamu okubatizibwa (gamba ng’awulira nti mu kiseera we yabatirizibwa yali tannategeera bulungi misingi gya Baibuli) y’aba alina okukyesalirawo.
Bintu ki Omukristaayo by’asaanidde okulowoozaako ng’alina abantu b’ayagala okubeera nabo mu nnyumba?
Buli muntu yeetaaga ekifo aw’okubeera. Kyokka, leero abantu bangi tebalina maka gaabwe ku bwabwe. Eby’enfuna, obulwadde, oba embeera endala, biyinza okuleetera ab’eŋŋanda abawerako okubeera mu nju emu. Mu nsi ezimu, ab’eŋŋanda bangi bayinza okuba nga basula mu kisenge kimu.
Ekibiina kya Yakuwa tekisobola kussaawo lukalala lw’amateeka agakwata ku ngeri abaweereza ba Katonda bonna mu nsi gye basaanidde okusulamu. Abakristaayo bakubirizibwa okulowooza ku misingi egiri mu Byawandiikibwa okusobola okumanya obanga engeri gye basulamu eweesa Katonda ekitiibwa. Egimu ku misingi gino gye giruwa?
Okusookera ddala, tulina okulowooza ku ngeri okubeera n’abantu abalala gye kinaatukwatako ffe awamu n’embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Bantu ba ngeri ki be ŋŋenda okubeera nabo? Basinza Yakuwa? Bakolera ku misingi gya Baibuli? Omutume Pawulo yawandiika nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”—1 Kol. 15:33.
Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa akyawa obukaba n’obwenzi. (Beb. 13:4) N’olwekyo, kiba kikyamu nnyo mu maaso ga Katonda abantu abatafaananya kikula okusula awamu ng’omwami n’omukyala ng’ate si bafumbo. Omukristaayo teyandikkirizza kubeera wamu na bantu abatalaba kabi kali mu bikolwa eby’obugwenyufu.
Ate era Baibuli ekubiriza abo bonna abaagala okusiimibwa Katonda ‘okuddukanga obwenzi.’ (1 Kol. 6:18) N’olwekyo, Abakristaayo basaanidde okwewala embeera yonna eyinza okubaleetera okugwa mu bwenzi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera ng’Abakristaayo abawerako basula mu nnyumba emu. Okusula mu nnyumba emu tekiibaleetere ebikemo? Watya ng’abantu babiri abatali bafumbo beesanze nga basigadde bokka mu nnyumba ng’abalala be babeera nabo bavuddewo okumala akaseera? Era kiba kya kabi abantu ababiri abaagalana kyokka nga tebannafumbiriganwa okusula bokka mu nju emu. Kiba kya magezi okwewala embeera ng’ezo.
Ate era tekiba kya magezi abo abaagattululwa mu bufumbo okusigala nga basula mu nju emu. Olw’okuba baalina enkolagana ey’oku lusegere kiyinza okubaleetera okugwa mu bukaba.—Nge. 22:3.
N’ekirala naye nga nakyo kikulu nnyo, kwe kulowooza ku ngeri abalala gye bakitunuuliramu. Wadde ng’Omukristaayo ayinza obutalaba kabi akali mu kubeera mu nnyumba emu n’abalala, asaanidde okubaako ky’akolawo singa ekyo kiba kireetera abalala okwesittala. Tetwandyagadde nneeyisa yaffe kuvumisa linnya lya Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Temwesittazanga Bayudaaya, wadde Abayonaani, wadde ekibiina kya Katonda, nga nange bwe nsanyusa abantu bonna mu bintu byonna, nga seenoonyeza bigasa nze wabula ebigasa abangi, basobole okulokolebwa.”—1 Kol. 10:32, 33.
Abo abaagala okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu bayinza okuzibuwalirwa okufuna aw’okubeera awasaana. Kyokka, Abakristaayo bateekwa “okumanya ekyo ekikkirizibwa Mukama waffe.” Balina okukakasa nti mu maka gaabwe temubaamu kintu kyonna kitasaana. (Bef. 5:5, 10) Abakristaayo basaanidde okusaba Katonda abawe amagezi bakole kyonna ekisoboka okufaayo ku byetaago by’abalala eby’omubiri n’okukuuma empisa ennungi baleme okuvumisa erinnya lya Yakuwa.