Ddala Ibulayimu Yalina Eŋŋamira?
BAYIBULI eraga nti eŋŋamira bye bimu ku bisolo Falaawo bye yawa Ibulayimu. (Lub. 12:16) Omuweereza wa Ibulayimu bwe yali agenda ku lugendo oluwanvu e Mesopotamiya, ‘yatwala eŋŋamira kkumi ez’omu ŋŋamira za mukama we.’ Bwe kityo Bayibuli ekiraga bulungi nti Ibulayimu yalina eŋŋamira, awo nga mu 2000 E.E.T.—Lub. 24:10.
Naye kino abamu tebakikkiriza. Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa New International Version Archaeological Study Bible egamba nti: “Abeekenneenya Bayibuli [abamu] bagamba nti ebyawandiikibwa bino ebyogera ku ŋŋamira si bituufu olw’okuba abasinga obungi ku bo balowooza nti tekyabanga kya bulijjo kusanga bisolo bino mu maka g’abantu okutuukira ddala awo nga mu 1200 E.E.T., ekiseera nga ne Ibulayimu yamala dda okufa.” Bwe kityo bagamba nti ebyawandiikibwa byonna ebyogera ku ŋŋamira ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, si bituufu.
Kyokka abeekenneenya Bayibuli abalala bagamba nti wadde ng’abantu baatandika okukiraba nti beetaaga okuba n’eŋŋamira awo nga mu mwaka gwa 1000 E.E.T., ekyo tekitegeeza nti abantu tebaalina ŋŋamira ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka. Ekitabo ekiyitibwa Civilizations of the Ancient Near East kigamba nti: “Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti abantu b’omu bukiika ddyo bwa Buwalabu baatandika okulunda eŋŋamira emyaka egisukka mu 4000 emabega. Oboolyawo mu kusooka baazirundanga okusobola okuzikamamu amata, okuziggyako ebyoya n’amaliba, n’okuzirya, naye oluvannyuma lw’ekiseera abantu baakiraba nti baali basobola okuzikozesa okwetikka emigugu.” Amagumba n’ebintu ebirala abo abayiikuula eby’omu ttaka bye baazuula nabyo biraga bulungi nti abantu baalundanga eŋŋamira nga ne Ibulayimu tannabawo.
Waliwo n’ebiwandiiko ebikakasa ensonga eno. Ekitabo ekyo era kigamba nti: “Ebiwandiiko ebimu eby’omu Mesopotamiya byogera ku kisolo kino [eŋŋamira] era n’ebifaananyi bingi eby’edda biraga ekisolo kino, ekiraga nti ekisolo kino kiyinza okuba nga kyali kitandise okulundibwa mu Mesopotamiya awo nga mu 2000 E.E.T.,” kwe kugamba, mu kiseera Ibulayimu we yabeererawo.
Abeekenneenya Bayibuli abamu bagamba nti abasuubuzi b’obubaane okuva mu bukiika ddyo bwa Buwalabu be baatwala eŋŋamira mu Mesopotamiya okuva bwe kiri nti baakozesanga eŋŋamira okwetikka eby’amaguzi byabwe okubitwala mu bitundu by’e Misiri ne Busuuli. Omwaka gwa 2000 E.E.T. we gwatuukira abantu bangi baali basuubula obubaane. Ne mu Olubereberye 37:25-28 tusoma ku basuubuzi Abaisimaeri abaakozesa eŋŋamira okutwala obubaane e Misiri, ng’olwo wayise emyaka nga kikumi bukya Ibulayimu afa.
Kirabika omwaka gwa 2,000 E.E.T. we gwatuukira, abantu batono nnyo be baalina eŋŋamira mu nsi za Buwalabu, naye ekyo tekitegeeza nti eŋŋamira tezaaliyo. N’olwekyo, ekitabo ekiyitibwa International Standard Bible Encyclopedia kigamba nti: “Tekiba kituufu kugamba nti ebyawandiikibwa ebyogera ku ŋŋamira mu biseera abasajja ab’edda we baabeererawo bikyamu, okuva bwe kiri nti waliwo obujulizi obw’enkukunala obulaga nti abantu baalundanga eŋŋamira mu biseera ebyo.”