LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 12/15 lup. 31
  • Okyajjukira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Yakuwa Gwe Mugabo Gwange
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Bayibuli Eyogera ki ku Kuggyamu Embuto?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 12/15 lup. 31

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

• Katonda yali ategeeza ki bwe yagamba Abaleevi nti: “Nze mugabo gwo”?

Ebika bya Isiraeri ebirala byonna byaweebwa obusika mu nsi, naye Abaleevi bo baalina Yakuwa ‘ng’omugabo’ gwabwe. (Kubal. 18:20) Tebaalina busika mu nsi, naye baaweebwa enkizo ey’enjawulo ey’obuweereza. Wadde kyali kityo, Yakuwa yakolanga ku byetaago byabwe eby’omubiri. Leero, abo abakulembeza Obwakabaka basobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byabwe eby’omubiri.​—9/15, 7-8, 13.

• Ani asaanidde okuyigiriza abaana ebikwata ku Katonda?

Wadde ng’abalala basobola okuyambako taata ne maama, okusingira ddala abazadde be bavunaanyizibwa okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda n’engeri Katonda gy’ayagala amaka gaddukanyizibwemu.​—10/1, olupapula 7.

• Lwaki osaanidde okuwa munno mu bufumbo ekitiibwa?

Okuwaŋŋana ekitiibwa kye kimu ku bintu ebisobozesa obufumbo okuwangaala n’okubaamu essanyu. Okuwaŋŋana ekitiibwa kireetera abafumbo okuba abamativu era n’okwesigaŋŋana. Kikulu nnyo abafumbo okuwaŋŋana ekitiibwa.​—10/1, olupapula 12.

• Tuteekeddwa okusasula emisolo?

Bwe yabuuzibwa obanga kyali kituufu mu maaso ga Katonda okusasula emisolo eri gavumenti ya Rooma, Yesu yaddamu nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.” (Mak. 12:13-17) Gavumenti, ezikiikirirwa “Kayisaali,” zikuba ssente era ne zigereka omuwendo gwazo. Zirina n’ebintu ebirala bingi bye zikolera abantu. N’olwekyo, okusinziira ku ndaba ya Katonda, zirina obuyinza okusaba abantu okusasula emisolo.​—10/1, olupapula 14, 15.

• Oyinza otya okutegeera eddiini ey’amazima?

Abakristaayo ab’amazima batwala Bayibuli ng’Ekigambo kya Katonda. Bassa ekitiibwa mu linnya lya Katonda, Yakuwa, era babuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Si ba nsi eno embi, era balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala.​—10/1, olupapula 16, 17.

• Katonda atwala eggwanga erimu okuba nga lye lisinga amalala?

Nedda. Bayibuli ekyoleka kaati nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”​—Bik. 10:34, 35.​—10/1, olupapula 26.

• Abakristaayo bayinza batya okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye balonda bya muganyulo?

Okusobola okumanya obanga eby’okwesanyusaamu bye twagala okulonda binaatuganyula era nti binaasiimibwa mu maaso ga Katonda, kiba kikulu okwebuuza: Biki ebirimu? Ebiseera byenkana wa bye nnaamala? Baani be nnaaba nabo?​—10/15, olupapula 9-12.

• Ebyo ebiri mu Engero 7:6-23 biyinza bitya okutuyamba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu?

Ennyiriri ezo zoogera ku muvubuka eyasalawo okuyita okumpi ne malaaya we yali abeera. Malaaya yamusendasenda. Kiba kya magezi okwewala emikutu gya Intaneeti okuli ebifaananyi eby’obugwenyufu, era kiba kikulu okusaba Katonda ng’ekirowoozo ky’okulaba ebifaananyi ebyo kyakakugira.​—11/15, olupapula 9-10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share