LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 1/15 lup. 14
  • ‘Nnaasobola Ntya Okubuulira?’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Nnaasobola Ntya Okubuulira?’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 1/15 lup. 14

‘Nnaasobola Ntya Okubuulira?’

Okwetooloola ensi yonna, waliwo baganda baffe ne bannyinnaffe abataddewo ekyokulabirako ekirungi nga beeyongera okubuulira wadde nga balina obulwadde obw’amaanyi. Lowooza ku mwannyinaffe Dalia abeera mu Vilnius, ekibuga ekikulu ekya Lithuania.

Dalia ali mu myaka 30. Yazaalibwa ng’alina obulwadde ku bwongo. Obulwadde obwo bwamusannyalaza era n’aba nga tasobola kwogera bulungi. Bwe kityo, ab’omu maka ge be bokka abasobola okutegeera obulungi by’ayogera. Dalia abeera ne maama we, Galina. Wadde nga Dalia afunye ebizibu bingi mu bulamu, alina endowooza ennuŋŋamu. Kiki ekimuyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu?

Galina agamba nti: “Mu 1999, kizibwe wange Apolonija yatukyalira. Twakiraba nti Apolonija, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yali amanyi bulungi Bayibuli, era Dalia yatandika okumubuuza ebibuuzo bingi. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Apolonija yatandika okuyigiriza Dalia Bayibuli. Ebiseera ebimu nnabeegattangako nga basoma nsobole okunnyonnyola Apolonija ebyo Dalia bye yabanga ayogera. Naye nnakiraba nti ebintu Dalia bye yali ayiga byali bimuganyula. Nange nnasaba okuyigirizibwa Bayibuli.”

Dalia bwe yeeyongera okuyiga Bayibuli, waliwo ekintu ekyatandika okumubobbya omutwe. Bw’atyo yasalawo okubuuza Apolonija nti: “Omuntu alinga nze​—eyasannyalala​—asobola atya okubuulira?” (Mat. 28:19, 20) Apolonija yazzaamu Dalia amaanyi ng’amugamba nti: “Ekyo tekisaanidde kukweraliikiriza. Yakuwa ajja kukuyamba.” Era mu butuufu, Yakuwa amuyambye.

Kati olwo, Dalia asobola atya okubuulira? Kino akikola mu ngeri ezitali zimu. Bannyinnaffe mu kibiina kye bamuyamba okuwandiika amabaluwa agalimu obubaka bwa Bayibuli. Dalia asooka n’ababuulira ebyo by’aba ayagala bateeke mu bbaluwa. Oluvannyuma bagiwandiika nga bataddemu ebyo by’aba abagambye. Dalia era awa obujulirwa ng’akozesa essimu ye okusindikira abantu obubaka bwa Bayibuli. Era obudde bwe buba obulungi, ab’oluganda bamufulumyako ebweru ne bamutwala mu bifo awali abantu abangi asobole okubabuulirako ku mawulire amalungi.

Dalia ne maama we beeyongedde okukulaakulana mu by’omwoyo. Bombi beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa mu Noovemba 2004. Mu Ssebutemba 2008, waliwo ekibiina ekyogera olulimi Olupolisi ekyatandiikibwawo mu Vilnius. Okuva bwe kiri nti mu kibiina ekyo mwalimu obwetaavu bw’amaanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka, Dalia ne maama we baasalawo okukyegattako. Dalia agamba nti: “Ebiseera ebimu mba mweraliikirivu nga ndaba omwezi gunaatera okuggwaako kyokka nga sinnaba kugendako kubuulira. Naye bwe mmala okutegeeza Yakuwa ekineeraliikiriza, ŋŋenda okulaba nga wabaawo ow’oluganda akola enteekateeka okuntwala mu buweereza bw’ennimiro.” Mwannyinaffe oyo omwagalwa Dalia atunuulira atya embeera gy’alimu? Agamba nti: “Obulwadde bwasannyalaza omubiri gwange, naye tebwasannyalaza bwongo bwange. Ndi musanyufu nnyo olw’okuba nsobola okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa!”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share