LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 3/15 lup. 30-31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Engeri Gye Tuyinza Okwekuumamu Ogumu ku Mitego gya Sitaani
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Nnina Omuze ogw’Okulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
    Abavubuka Babuuza
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 3/15 lup. 30-31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omuze gw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu guyinza okuviirako Omukristaayo okugobebwa mu kibiina?

▪ Yee, gusobola. Eyo ye nsonga lwaki tulina okwewalira ddala ebintu byonna eby’obugwenyufu, ka bibe mu buwandiike oba mu bifaananyi. Ebintu ebyo biyinza okuba mu bitabo, firimu, vidiyo, oba ku Intaneeti.

Ebifaananyi eby’obugwenyufu bicaase nnyo leero. Omuwendo gw’abantu abalaba ebifaananyi eby’obugwenyufu gweyongedde nnyo okuva bwe kiri nti kati bangi babirabira ku Intaneeti. Abantu abamu, abato n’abakulu, beesanga balabye ebifaananyi eby’obugwenyufu ku Intaneeti mu butali bugenderevu. Ate abalala basalawo okugenda ku mikutu egiriko ebifaananyi eby’obugwenyufu mu bugenderevu. Ekyo tebakirabamu buzibu olw’okuba baba mu maka gaabwe oba mu ofiisi zaabwe nga tewali muntu yenna abalaba. Lwaki okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu kya kabi nnyo eri Abakristaayo?

Yesu yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Mat. 5:28) Kya lwatu nti si kikyamu omwami okwegatta ne mukyala we mu mukwano era ekyo kisobola okubaleetera essanyu. (Nge. 5:15-19; 1 Kol. 7:2-5) Naye ebifaananyi eby’obugwenyufu byoleka okwegatta okutasaana era bireetera omuntu okufuna ebirowoozo ebibi Yesu bye yatugamba okwewala. Okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu oba okusoma ebintu eby’obugwenyufu ebiri mu buwandiike kikontana n’ekiragiro kya Katonda kino: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bwenzi, obutali bulongoofu, okwegomba okw’ensonyi, okuyaayaanira ebintu ebibi, n’okwegomba okubi, nga kwe kusinza ebifaananyi.”​—Bak. 3:5.

Watya singa Omukristaayo alaba ebifaananyi eby’obugwenyufu omulundi nga gumu oba ebiri? Embeera gy’aba alimu eyinza okugeraageranyizibwa ku eyo omuwandiisi wa Zabbuli Asafu gye yalimu, bwe yagamba nti: “Naye nze, ebigere byange byali kumpi n’okugwa; okutambula kwange kwabulako katono [o]kuseerera.” Singa Omukristaayo alaba ebifaananyi eby’abantu abali obwereere oba eby’omusajja n’omukazi nga beegatta, ekyo kisobola okwonoona omuntu we ow’omunda awamu n’enkolagana ye ne Katonda. Ayinza okuwulira nga Asafu, eyagamba nti: “N[n]abonyaabonyezebwa okuzibya obudde, ne nkangavvulwa buli nkya.”​—Zab. 73:2, 14.

Omukristaayo aba alabye ebifaananyi eby’obugwenyufu alina okukimanya nti yeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo. Abakadde mu kibiina basobola okumuyamba. Bayibuli egamba nti: “Omuntu bw’akwata ekkubo ekkyamu naye nga tannamanya, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza, naye nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu, nga nammwe mwekuuma.” (Bag. 6:1) Omukadde omu oba babiri basobola okumuwa obuyambi obwetaagisa. Basobola okumusabira nga balina okukkiriza nti Yakuwa ajja kumuyamba era nti ajja kumusonyiwa. (Yak. 5:13-15) Nga Asafu bwe yakitegeera nti kirungi okusemberera Katonda, abo abanoonyezza obuyambi ne balekera awo okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu nabo baganyuddwa nnyo.​—Zab. 73:28.

Omutume Pawulo yagamba nti abantu abamu abaaliwo mu kiseera kye baayonoona naye ne bagaana okwenenya “obutali bulongoofu bwabwe, obwenzi, n’obugwenyufu.”a (2 Kol. 12:21) Ng’ayogera ku kigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa mu lunyiriri olwo era ekyavvuunulwa nga “obutali bulongoofu,” Profesa Marvin R. Vincent yagamba nti ekigambo ekyo kitegeeza ekintu ekikyafu oba eky’obugwagwa. Kya nnaku nti leero waliwo ebifaananyi eby’obugwenyufu ebibi ennyo n’okusinga ebyo ebiraga abantu abali obwereere oba omusajja n’omukazi nga beegatta. Ebifaananyi ng’ebyo eby’obuseegu biraga ng’abantu balya ebisiyaga, ng’abantu beegatta kirindi, ng’abantu beegatta n’ensolo, ng’abaana bali bukunya, ng’abasajja bakwata abakazi, oba ng’abakazi bakolebwako ebikolwa ebirala eby’obukambwe era eby’ekivve. Pawulo yagamba nti abantu abamu abaaliwo mu kiseera kye baali “mu kizikiza mu magezi gaabwe,” nga “tebakyalina nsonyi, [era nga] beewaayo mu bugwenyufu nga balulunkanira okwenyigira mu butali bulongoofu obwa buli ngeri.”​—Bef. 4:18, 19.

Pawulo era yayogera ku ‘butali bulongoofu’ mu Abaggalatiya 5:19. Omwekenneenya omu Omungereza yagamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa mu lunyiriri olwo kiyinza okutegeeza “okwegomba okw’okwegatta okutali kwa mu butonde.” Kya lwatu nti okulaba ebifaananyi ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu bye tulabye waggulu kireetera omuntu okufuna okwegomba okw’okwegatta okutali kwa mu butonde. Mu Abaggalatiya 5:19-21 Pawulo yalaga nti abantu “abakola ebintu” ng’ebyo ebitali birongoofu, “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” N’olwekyo, singa omuntu aba n’omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ebibi ennyo, oboolyawo okumala ebbanga ddene, era n’agaana okwenenya n’okuguleka, aba alina okugobebwa mu kibiina. Ekyo kikolebwa okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo n’okukuuma omwoyo gwakyo omulungi.​—1 Kol. 5:5, 11.

Kitusanyusa okukimanya nti abamu ku abo abaalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu baafuna obuyambi okuva eri abakadde era ne balekayo omuze ogwo. Yesu yagamba Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Saadi nti: “Tunula, era onyweze ebintu ebisigadde ebyali bigenda okufa, . . . weeyongere okulowooza ku ekyo kye wafuna ne kye wawulira, okikuumenga era weenenye. Mazima ddala bw’otazuukuka . . . , tojja kumanya kiseera kye nnajjiramu gy’oli.” (Kub. 3:2, 3) Omuntu yenna alina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu asobola okwenenya era n’awona akabi akali mu muze ogwo.​—Yud. 22, 23.

Nga kiba kya magezi buli omu ku ffe obutagezanako kutandika kulaba bifaananyi eby’obugwenyufu. Ka tube bamalirivu okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ebya buli ngeri.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya enjawulo eri wakati ‘w’obutali bulongoofu, obwenzi, n’obugwenyufu,’ laba Watchtower eya Jjulaayi 15, 2006, olupapula 29-31.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]

Omukristaayo aba alabye ebifaananyi eby’obugwenyufu alina okukimanya nti yeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share